• November 22, 2024

Pulezidenti Gaddafi teyali mubi nnyo nga bwekigambibwa.

 Pulezidenti Gaddafi teyali mubi nnyo nga bwekigambibwa.

Libya nga ekyali mu mikono gya Muammar Muhammad Abu Minyar al-Gaddafi, abangi gwe mwali mumanyi nga Colonel Gaddafi, embeera teyali mbi nnyo nga ensi bwebityebeka. Gaddafi yali takiririza mu kuwa banansi be eddembe ery’okulonda omukulembeze gwebagala, naye ate yafuba okubagondeza obulamu. kino yakikola nga ayita mu bintu ebingi byeyakolera banansi be. Libya ffena tukimanyi nti nsi ya ddungu, naye obulamu bwali tebukaluba naddala mu nsonga ezikwatagana n’amazzi. Gaddafi yerayirira okuwereza bannansi be n’omutima gumu kasita, tebakwata ku ntebe ye. Gaddafi yatwala entebe ey’obukulembeze bwa libya, okuva nga 1/9/1969 okutusiza ddala nga 20/10/2011 lweyatibwa. Gaddafi obukulembeze yabuwamba ku Kabaka Idris 1. Gaddafi bweyamala okufuna obukulembeze bwa Libya, nawera obufuzi obw’ensikirano. Gaddafi yafuga bannansi ba Libya nga teri agamba. Naye abantu batandika okumukubamu ebituli olwengeri gye yali abafuga nga tabawa ddembe lya kulonda. Okwemulugunya kw’abantu kweyongerera ddala, newatondebwawo obubiina bw’abayekeera Gaddafi bweyalowoza nti tebuyina mulamwa. Ebikolwa bya Gaddafi byaletera ensi endala okulowoza nti oba olyawo, yali afunye obuzibu ku mutwe. Enkolegana ya Libya n’ensi z’abazungu zeyongera okwononeka nga ne court y;ensi yonna yali emaze okulagira nti Gaddafi akwatibwe.

2011 ng’atandika, munda mu gwanga lya Libya, wabalukawo obwegugungo era ebintu nebyeyongera okwononeka eri musajja mukulu Gaddafi n’abantu be. Waliwo akabiina k’abayekeera nga kano keyongera okufuna amaanyi. Nga 21/3/2011, aba NATO begata ku bayekeera, wamma gwe ebya Gaddfi nebisakaala nnyo. Mu mwezi ogw’omukaaga nga 27, 2011, aba ICC basindika ekiwandiiko ki bakuntumye eri Gaddafi. Nga 20/8/2011, ekibuga Tripoli kyawambibwa abayekeera nga bali nab’omukago gwa NATO. Gaddafi yasigala akyali Pulezidenti okumala emyezi emirala 2, olwo yali addukidde mu kabuga ka Sirte, nga 1/9/2011, Gaddafi yalangirira Sirte nga ekibuga ekikulu ekya Libya. Nga bulijjo ekumi terikyawa omu, wadde abantu bali bamaze okumunaabiira mu maaso, Gaddafi yali akyayinawo obubuga obutonotono mweyali akyayagalwa. Nga 20/10/2011, Musajja mukulu ebintu byazibuwalira ddala, nga n’ebibuga byeyali asigazizayo, byawambibwa. Sirte gyeyali asibuka era nga gyeyali yekukumye, kyawambibwa, Gaddafi yakwatibwa era yattibwa. Era okuttibwa kwe kwafundikira obufuzi bwa mu Libya. Gaddafi yattibwa ne batabani be basatu newankubadde tebafiira kumu. Olunaddako njakubawa ku byafaayo by’abaana ba Gaddafi, abaffa, abaliwo era na ki kyebaliko.

Colonel Gaddafi

Wadde Gaddafi yattibwa mu bukambwe mbu yali tateeka kitiibwa mu ddembe ly’obuntu, Gaddafi alina ebirungi bingi byeyakolera abantu be. Ebintu kumi wammanga Gaddafi byeyakolera ensi ye n’abantu be okutwaliza awamu.

  • EBY’OKUSOMA N’OBUJANJABI MU LIBYA BYALI BWERERE.

Mu biseera Gaddafi weyaberera omukulembeze, banansi ba Libya bali bafuna okusoma n’obujjanjabi ku bwerere. Obuwereza bwa gavumenti okwetoloola ensi yonna, tebutera kubulamu birumira. Bwegutyo ne ku Libya bwegwali. Bannansi abamu balinga bemulugunya nti obuwereza si bulungi era nga bwali tebutukana na mutindo. kituufu, naye ate tetugaana kwogera nti bwo obuwereza bwaliwo. Abaana abalinga bavva mu maka gewandiyise ag’abanaku, bali nga basobola okusoma. Era n’obujjanjabi bwaliwo ku muntu atandikirwako, muyite atesobola. Mu bufunze obulamu mu Libya bwali bwangu mu biseera bya Gaddafi.

  • ABAGOLE BAFUNANGA $50,000. (Emitwalo etaano egya dola)

Gaddafi yali musajja mubi nga bwemugamba, naye ate yali alowoza ku bantu be. Gavumenti ya Gaddafi yatekawo enkola nga buli mugogo gw’abagole, gwali gutekeddwa okufuna emitwalo etaano (50,000) egya dola. Kino kyalinga kityo, okusobola okuyambako abagole okutandika amaka awamu n’okwezimba. Ate singa otunula mu nkola eno, ojja kulaba nti yali nkizo yamanyi mu kusikiriza abavvubuka okuwasa n’okufumbirwa anti amaka gegakola eggwanga erigumidde. Amateeka, enkola n’obukwakulizo byali bigobererwa, era bangi bekwasa nti emisoso gyali mingi nnyo, omuntu okusobola okufuna obuwereza buno. Eri abo abatukirizanga byonna ebyali bigobererwa bafunanga obuwereza buno.

  • GADDAFI YATONDAWO ENNIMA EY’OMUTINDO.

Nga ffena bwetumanyi nti Libya nsi ya ddungu, Gaddafi yakakasa nti ssente ennyingi ennyo ezavvanga mu mafuta, bannansi balina okuziganyulwamu nga abawamu. Gaddafi yasimisa omuga ogusinga obunene mu nsi yonna nga gusimiddwa busimwa. Kino kyayamba nnyo bannansi okufuna amazzi agamala. Abalimi baganyulwa mu nkola eno, anti nga basobola okulima mu ngeri ey’okufukirira.

  • LIBYA TEYALINA BBANJA LYONNA.

Gaddafi yali musajja mugezigezi era nga kino kyeyolekera mu ngeri gyeyali akwatamu ssente ennyingi ezavvanga mu mafuta. Wadde kyali kituufu nti yali yeyisa mu ngeri ey’okwejalabya ennyo ye ne batabani be, Gaddafi teyaleka bbanja lyonna nga libanjibwa Libya. Ate ogya kulaba nga Gaddafi yalina ebintu bingi byeyakolera ensi zeyali akolegana nazo. Okugeza nga ffe wano e Uganda, yatuzimbira omuzikiti gwebayita Gaddafi mosque, e Tanzania nayo yabazimbira, nawalala, yakola atyo. Bwenjogera ku kya Gddafi obutaleka bbanja lyonna libanjibwa ggwanga lye, amazima Gaddafi yali aterese omusimbi mungi nnyo $150 billions ku lwa Libya. Amawanga mangi nnyo okwetoloola ensi yonna gatubidde mu mabanja nga n,ensi ezimu ezetwala okubeera ez’ekitalo ziri mu mabanja amayitirivvu. Okugeza nga Amerika erina ebbanja lya $18 Trillions. Gaddafi nga mukulembeze, Libya teyewolako.

  • AMAFUTA GAALI KUMPI GA BWERERE.

Gaddafi nga akyali pulezidenti, bannansi ba Libya amafuta bali bafuna kumpi ga bwerere. Anti lita yali $0.14. Kati buli kimu kyakyankalana era nga kati banansi lwebalaba ebirungi bya Gaddafi.

  • DDEMBE LYA BULI MUNTU OKUBEERA N’ENYUMBA.

Mu bintu ebimu Gaddafi byeyali asaako essira, ye buli munnansi okuberako newayita awaka gamba enyumba. Mu katabo akamu kayite akakiragala (the green book), Gaddafi yakirambika bulungi nti enyumba kyekimu kwebyo omuntu byatekeddwa okubeera nabyo. Yerayirira nti buli munansi alina okubeera n’enyumba.

  • BULI MUNTU OKUBEERA N’EDDEMBE.

Abakazi balina eddembe okukola era nga basobola okwambala buli omu ekimuwa eddembe. Era kino kyamwogezako nnyo nga bweyali atyobola eddiini y’ekiyisiramu. Libya okubeera ensi mu buwarabbu, Gaddafi ekyo teyakifuula nsonga. Yali akiriza nti buli muntu ayina eddembe okwambala ekyo ekimuwa emirembe.

  • OKUKULAKULANA KWA BULI MUNTU.

Gaddafi yali tasa kitiibwa mu ddembe ly’obuntu, naye yali alumirirwa abantu be. Mu butuufu singa tekyali kyakulemera ntebe, Gaddafi yali mukulembeze afaayo eri abantu be. Yali anyumirwa nnyo okulaba abantu be nga bakulakulana. Kino tolemwa kukirabira ku ngeri gyeyali ateeka omusimbi omungi mu bintu ebiganyulwa abantu awamu… gamba nga okusoma, obujjanjabi n’enyingiza ya buli muntu sekinomu.

  • BANNANSI BA LIBYA BAYINA EMMERE EMALA.

Ekibiina ekyikwasaganya eby’endya n’enima mu nsi yonna (FAO) kyakola okunonyereza ku by’endya n’embeera z’abantu era nekizuula nti abantu bali bulungi mu bigambo ebikwatagana n’okulya. Era nga abantu okukozimba omuwendo gwali wansi nnyo bwogerageranya n’ensi endala mu buwarabbu. Okunonyereza kuno kwakwolebwa nga Gaddafi akyali pulezidenti wa Libya.

  • AMAFUTA GAALI MU MIKONO GYA BANNANSI

Gaddafi nga akyali pulezidenti yatondawo enkola nga erambika bulungi engeri munnansi wa Libya gyalina okuba nga yenanyini mafuta asokerwako. Buli munnansi yali abaliriddwako omuwendo gwa ssente $21,000 nga zino zikola omuwendo gwa $32 billions nga za kukola ku by’okusoma, obujjanjabi, okumalawo obuli bw’enguzi n’obubbi bw’amafuta.

Gaddafi yali nakyemalira? Iyee. Yali atyobola eddembe ly’obuntu? iyee. Yali katwewungu? oba olyawo. Ekituufu kiri nti, wano ku nsi tekuli muntu atukiridde. Bwegutyo ne Gddafi yasobyanga awamu, naye yali alumirirwa abantu be. Teri kinyiiza nti ensi etudde ku mazima gemanyidde ddala nti Gaddafi teyali mubi nga bwebakimutekako.

All of the great prophets of modern times come from the desert; Mohammed, Jesus,and myself.

Muammar al-Gaddafi

I’m a Bedouin warrior who brought glory to Libya and will die a martyr.

Muammar al-Gaddafi
Omuzikiti gwa Gaddafi.

Okusinziira ku neyisa ya Gaddafi, kituufu yali akimanyi bulungi nti alifa nasigala nga ajukirwa eri ensi yonna. Emyaka gigenderedde bukya attibwa, naye Libya tetebenkeranga. Bannansi bangi basigala tebalina webegamya luba, nga nabamu bafuuka banonyi ba bubuddamo mu nsi yabwe. Okusika omuguwa kwasigala kwa maanyi eri abegwaniza entebe. Aba NATO kasita bamala ogwabwe nebasibula Libya.

Ngansinziira ku birungi byeyakolera Libya, Gaddafi ye mututumufu wange owa sabbiti eno.

Digiqole ad

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *