Abasajja teberyamu nkwe.
Mpulira mbu edda, abantu balina omukwano ogwa namaddala. Nga mwami gundi bwagamba nti mukulu gundi mukwano gwange, amazima oyo mune bwooya. Sigamba nti bonna bali batukirivvu, nedda nfuna bulungi. Naye ennaku zino, kisuse bususi. Ate bwegutuse mu bakazi, ne kiyitirira.
olaba, wadde ensi yajjula enkwe, ettima, n’obutayagaliza, abasajja basigadde bali wakiri ko. Batera nnyo okwebikirira naddala nga omu agudde mu nsobi. Naye ate banaffe bano abakyala, mune bwafuna obuzibu , olwo ye lwasanyuka nga ayita mukwefuula afaayo.
Kankuweyo eby’okulabirako.
Abasajja abo wagulu obalaba? Awatali kubusabusa batekeddwa okuba nga bagalana ebyaddala era nga basobola okwebererawo.
Anti olutuuka nga omu ku bo katumuyite Emma, banne ababiri nga ye Steve ne Albert. Emma musajja mufumbo era nga ayina amaka ge omuli omukyala n’abaana. Emma bwagira nga afuuna omuwala ebbali w’obufumbobwe. Lumu Emma avva awaka we, agenda asula ew’omuwala oli gwayagalira ebbali. Mukyala we asula teyebase nga akuba amasimu, naye Emma agaanye okugaddamu. Mukyala Emma bimusobera, asalawo okukubira ku mikwano gya Emma alabe oba kuliko amanyi Emma gyeyasuze. Afuna essimu ye akubira Albert. Hello, Jebaleko mwami Albert, muli mutya eyo? Anti munange Emma teyakomyewo ekiro ate mukubira amassimuu okuvva ekiro, ansobedde takwata, Mubutuufu neralikiridde.
Kati wulira Albert nga omugezi bwakola nga tayagala bufumbo bwa mukwano gwe bufe. “Ohh, mukyala waffe bambi nga olabye okusula nga weralikidde. Emma ali bulungi. Tuyina mukwano gwaffe omu yafiriddwa taata we wano e mulago, kati fffena twasuze wano nga tetubitegeera anti ono abadde Taata wa munaffe nnyo. Essimu ya Emma yaweddeko omuliro netubako wetujiteka efune ku muliro. Bambi agenda kuba akutukako mangu ddala oluvva wano.”
Albert oluvva ku ssimu ne mukyala wa Emma, nga akubira Emma mukwano gwe. “Gwe kino ki Emma, ye wasuze wa banange? Omukazi ali eyo akunnonya, akuba amassimu togakwata. Nze nkulimbiddewo kino na kino, wandiyanguye okudda ewaka.” Ko Emma, “banange Albert muganda wange ontaasiza nnyo, webale. Knabe nziruke mangu nnyo.”
Emma akomawo e waka nga talina buzibu bwonna kunonya byakulimba, anti Albert nga yamaze okukimupangira. Olabye emikwano gy’abasajja bwegyetaasa? Kati kankulage ne ku gya’abakazi otye ensi!
Nga mpita mu buwufu bwebumu nga omukyala afunye omuntu omulala yenna, ngezesa bugezesa tonfuna bubi. Abakazi babo bali bana. Katubatume mannya agaffe, Natasha, Praxy, Nancy, ne Bettis. Bakazi bambi bamukwano nnyo era bonna balina abagalwa. Kati Natasha nga akeera afunayo omulenzi omulala katumuyite Timothy. Omwami wa Natasha e waka ye Richard. Natasha asalawo okugendaa asule e wa Timothy, avva e waka nga agenze ku by’emirimu era asulirayo ddala. Richard yakowa embeera z’omulimu gwa mukyala we. Asalawo okukubira omu ku mikwano gya Natasha, “Hello Nancy, oli otya? Munange mbadde nkubuuza oba oli ne Natasha, kubanga teyakomyewo eggulo. Wulira Nancy!!!!
“Naye banange omwana oyo era yamaze nasula ew’omusajja oyo? Kyoka mulabudde ebbanga eriwera nti alituletera ebizibu, kati wulira wulira!!! Munange wamma mwami Richard nsaba otusonyiwe nnyo. Natasha ayina ekisajja eyo ekimulimbalimba, ate nga tekilina yadde akaggaali. Nze wamma sibirimu era bwakomawo tomugamba nti nze akugambye, nkwegayiridde tonzita, naye Natasha asuse okukumanyira.”
Kati ndowoza olabye amaka ga Natasha bwegafudde olwa Nancy gwayita mukwano gwe nfa nfe! Nva wagulu nga ngamba nti emikwano gy’abasjja tegimala geryamu nkwe. Naye abakazi, mukama yabakola bali kumpi nnyo ne sitaani.