Bbanga lyonna ndibeerawo ku lulwo: Kino kitekeddwa kukoma ddi?
Okubeera ne gwoyagala kirungi, okubeera nakwagala kisufu, okubeera ne gwoyagala ng’akwagala kirabo ekitaliko ntandikwa na nkomerero. Okwagala omuntu kiyinza okuwulikika ng’ekyangu, ate nga kizibu ddala ku luuyi olulala. Naye ddala ddala oyinza otya okukitegeera nti ono mwagadde ekimala kankikomye wano?
Lowooza ku nsonga z’abantu ababiri nga bamanyikiddwa nnyo mu Uganda ya leero, bafuna obutakanya nga bamaze emyaka egiwera mu bufumbo. Ebintu byaabwe biwanvu nga nkakasa nti ozimanyiko. Si byebindeese okwogerako naye nze nina kyendaba ng’omuntu era nenebuuza ekibuuzo nti “lwaki omuntu takiriza nti omukwano gwafa tegulidda? Ye abffe, ddi lwoteekeddwa okukomya okwesiba ku muntu gwoyagala?
Abantu abamu balowooza nti okubeera mu mukwano kyangu nga kukyogera. Naye amazima si kyangu yadde akatono bwekati. Nze ng’omuntu ssekinoomu nesisinkaanye enfunda nyingi nga nebuuza nti ddala ani oyo gwenayagala ebyaddala? Ddala mulina?
Amazima gali nti, si gwe avvunaanibwa ku ani gwogwa naye mu mukwano. Olumu kiwulikika nga okwesiba ku muntu… Omuntu oyo ayinza obutaba mutuufu gyooli newankubadde ng’owulira omwagala nnyo. Era oyinza okukiwulira muli nti nebwonakola otya, tagenda kubeera wuwo nga wadde omwagala nnyo.
Kati nga nze, byaali bya njawulo. Nagwa mu mukwano n’omuntu omu emyaka nga 10 emabega_ twayagalana nnyo nga ffembi tuli bato mu myaka. Twesuubia ebintu bingi, nga kasita maliriza okusoma tulina okubeera ffembi, okusoma nakumala era nga tuli ku lugendo lwa kubeera ffembi. Kiwulikika nga abamaliriza obulungi, si kyo? Nedda mumwatu.
Buli omu yakwata lirye.
Oluvvanyuma lw’okumala okusoma, lumu tuba tunyumya nenkifuna okuvva gyaali nti ye teyalina ntegeka yonna yakuvva mu kyaalo wadde nga yali amaze okusoma. Byonna byeyalina mu ntegeka ze byaali byetololera ku kulima. Nze ku luuyi olulala, okubeera mu kyaalo kyaali kirooto kyange kyantiisa. Bweyangamba nti tujja kuzimba enyumba enenne okumpi ne bazadde be, sakayana naye nze nali maze okukitegeera nti nze naye tetulina gyetulaga.
Nawulira nga mufiirwa. Nali simanyi kyakuzaako, kyantwalira akabanga nga simugamba kyendowooza ku mutima. Ebbanga lyenamala nga ndowooza ku mbeera yonna; ayagala kuwangaalira mu kyaalo, nze sagala kubeera mu kyaalo, namaliriza nkoze okusalawo nti tutekeddwa kukwata makubo ga njawulo.
Osobola okukomya omukwano ogwo gwowulira.
Olumu oyinza okulowooza nti omutima gwo gwagala oyo gwegwagala era mbu tolina ngeri yonna jokomyamu kyowulira. Naye ekyo si kituufu munange. Wabeerawo akaseera oba ebiseera mu bulamu bwo nga kikwetaagisa okukola okusalawo okwenkomeredde_ wadde omuntu oyo alina buli kyewetaaga okugeza, ng’alina ebitundu 89% ku ebyo byoyagala mu muntu.
Ng’okyalemeddwa okukola okusalawo sooka olowooze ku bino wamanga.
#1. Omuntu oyo si mutuufu kimala gyooli. Olumu bibuzabuza ebintu by’omukwano naye nzikiriza nti omuntu akwagala ateekeddwa okuba ng’aleeta ddembe na ssanyu mu bulamu bwo; mu bwongo bwo, mu ntegeera yo, ne ku mubiri gwo. Ebintu ebyo bisatu bikulu nnyo okulowoozako bwoba okyebuuza nti ddala “nteekeddwa okulemerako?”
Omulemerako naye buli lunaku ayongera kumalamu maanyi nakukosa ntegeera yo, bwongo bwo, n’omubiri gwo. Muleke agende ojja kufuna omulala. Kyangu kwogera naye nga kizibu okukola, nkitegeera nange naye omuntu bwaba akuyuza buyuza munda ne kungulu, tolina kya kukola kirala okuleka okumwesonyiwa.
Tofaayo oba omwagala bitya, bwaba akulumya mu bugenderevvu ate ng’akimanyi nti omwagala, ke kaseera omuleke. Tandika okwerowoozako ng’omuntu, wewale ebiyinza okuddirira nga wesiba ku muntu anyumirwa okulaba ng’osebengerera kubanga omwagala nnyo.
#2. Ebiseera byaamwe eby’omumaaso buli omu abiraba bubwe. Lwaki wesiba ku muntu ng’okimanyidde ddala nti temukwatagana mu bye mwagala kukola mu biseera by’omumaaso? Muyinza mutya okuzimba obulamu obulungi nga byemwagala bya njawulo?
Nkimanyi bulungi nti temutekeddwa kukiriziganya ku buli kimu. Ekyokuba nti omu ayagala abaana bana ate ng’omulala ayagala basatu, tekitegeeza nti temusobola kukwasaganya bulamu. Kitegeeza nti bwemutandika okuzaala kyangu okusalawo ku baana bemusobola okulabirira.
Njogera ku butya bwemulaba obulamu bw’ensi eno, na butya bwemwagala okutambuzamu obulamu mu biseera byo mumaaso. Mukiriziganya ku ddi lwe mutandika okuzaala? Mugenda kuwangaalira wa? Bwekiba nga temukwatagana mu bintu ebikulu mu bulamu, lwaki wesiba ku muntu?
#3. Takwagaliza kirungi kyonna. Kino kisobola okubeerawo mu ngeri 2. Esooka, omuntu ayinza okugaana okusisinkana mikwano gyo kubanga ayagala okulaba ng’oli munyivvu buli kadde. Oba, nga ayagala kukulaga nti ebirubirirwa byo ne byoyagala tebirina makulu_ ng’ayagala omubere kumpi buli kaseera.
Eyokubiri, omuntu ayinza obutakwagaliza mu butanwa nga tagenderedde.
Katugeze nga gwe ekirooto kyo kyakubeera mu kayumba akatono ku lubalama lw’ennyanja, ng’olina enimiro yo entonotono omuli ebitooke bisatu, n’ente yo emu omuvva amata, mu butuufu ng’oyagala obulamu obutalimu kavvuyo wadde okukakalukana. Obuzibu nga ye akwagala kukola mu yafeesi enenne nga buli omu akutya mu kibuga.
Olw’okuba oyagala kutukana ne byayagala, wandisalawo okweresa byonna byoyagala. Naye ddala otekeddwa? Takwagaliza kubeera ekyo kyoyagala, si lwakuba nti akikola akigenderedde, naye akikola mu butamanya. Newankubadde omwagala nnyo, lwaki togenda nosisinkana bwe mulyagala ebifaanagana? Bwemunabeera ku nnyanja nga mwembi muli basanyufu.
#4. Nga nawe tomwagaliza. Kino kyandiwulikika ng’ekitaliyo, naye amzima osobola okwagala omuntu naye nga tomwagaliza. Nga bwenakugmbye nti obutayagaliza muntu gwoyagala kisoboka okubeerawo mu ngeri 2; obutamwagaliza mu bugenderevvu oba mu butali bugenderevvu. Kisoboka okwagala omuntu naye nga tomwagaliza?
Iyee. Tuli mu nsi ejjuddde okweyagaliza nga buli omu afaayo kwekyo ekimuyisaawo. Okimanyi nti kizibu omuntu okuleka gwayagala mbu kubanga akitegedde nti tamugwanira, oba nti amwagaliza kisinga? Eky’okulabirako; muno gwoyagala alina byayagala okukola nga bya maanyi mu biseera by’omumaaso. Kyoka omwesibyeko mbu afune wakunyiga mu mukwano, naye ng’okimanyidde ddala nti agenda kufiirwa ebirubirirwa bye.
Bwekiba bwekityo, bambi mulekere eddembe tomwesibako. Kyandiba ekizibu ekyokusalawo, naye ke kaseera werese byoyagala ku lulwe kubanga okimanyi bulungi nti tosobola kumutuusa kwebyo byalubirirwa okukola.
#5. Buli omu teyesiga mune. Kino kyangu kya kunyonyola. Kyandiba nti omukwano kikulu nnyo wakati w’ababiri, naye okwesigangana kikzimba nnyo amakati g’ababiri. Awatali kwesigangana, temulifuna bulamu bulungi. Bwoba toli musanyufu, ke kaseera ndowooza obeko by’okyuusa. Tosobola ku mwesiga? muleke agende osigaze emirembe naye asigaze emirembe.
Newankubadde kyowulira gyaali kinenne ddala, naye bwoba nga kikuberera kizibu okumwesiga, tandika okukitegeera nti teri kalungi kagenda kuvva mu mukwano gwamwe. Lowooza ku biseera byo eby’omumaaso n’okulumwa omutima olutatadde, muleke olifuna gwolisobola okwesiga.
#6. Tosobola kubeera ekyo kyooli nga oli naye. Okubeera n’omuntu gwoyagala kiteekeddwa okukuletera okuwulira ng’omuntu asingayo okuba okuba ow’omugaso gyaali. Oteekeddwa okubeera gwe kyooli awatali kweralikirira nti agenda kugerageranya.
Kale wadde ffenna tweyisa bulungi nga bwekisoboka mu ntandikwa, oteekeddwa okubeera mu mbeera ezitakuteeka ku bunkenke nga oli n’omuntu wo. Bwekiba tekisoboka, siraba lwaki tomya katemba gwe mulimu? Amazima tolinyumirwa bulamu bwa bunkenke. Taasa ebiseera byo eby’omumaaso oba olyawo omutuufu gyaali akulinze akutte n’akamuli.
#7. Takwagala. Kino okimanyi bya ddala nti takwagala. Olumu tugwa mu mukwano netugwerayo ddala obuterekeramu yadde. Olumu ne tumala ebbanga ddene nga twagala abantu abo. Kye nkakasa kimu, osobola okumanya omuntu alina kyawulira gyooli era nga kyangu okumanya enteekateeka z’omuntu gwoyagala.
Mu mboozi zange ze nzize ngabana nawe, nzikiriza nti kyangu okumanya akawagala. Nzikiriza nti kiruma okutegeera nti omuntu gwomaliddeko obudde n’ebirowoozo, takwagala era nga talikwagala…. Naye kati ki? Ekirungi okitegedde, kati siba omutima wesonyiwe omuntu oyo. Ojja kulumwa naye obulumi si bbanga lyonna.
Okwesonyiwa omuntu gwoyagala, kye kimu ku bintu ebisinga okuba ebizibu okukola mu bulamu bw’ensi. Naye okumanya ddi lwotekeddwa okukomya okwesiba ku muntu nowanika, kijja kuyamba mu kukendeeza obulumi ng’okola okusalawo okw’omugaso mu bulamu bwo.
Oyagadde byosomye? Tugoberera ku
Instagram: Praxy Ganyana
Twitter: Praxy Ganyana
Facebook: Ganyana Praxy
Tubeere ba mukwano mu kintu kino.