• July 3, 2025

Omusajja gwe nasooka okusanga mu kubo.

 Omusajja gwe nasooka okusanga mu kubo.

Omanyi nasoma nemaliriza nga sirina musajja yenna gwengamba nti “wuuyo gwenjagala.” Oba lwakuba nali kataala ng’enjogera y’enaku zino, amazima ebintu ebyo nali ntya okubyesembereza.

Munange, nga maze okusoma waliwo omuvvuibuka eyali agambye nti alininda okutuusa nga maze okusoma. Kati bweyafuna amawulire nti Getu amaliriza emisomo, yamanya nti talinakulinda okuleka okwanja ensonga.

Yagya ewaka nankyalira nga ne maama wali. Twanyumya bingi nga naye ebisinga byetoloolera ku kusoma nga bwekubadde. Bwenali mulinyira mu kigere, weyansabira nfuneko olunaku lumu ngende mukyalire ewuwe ewaka. Namuwa lunaku lwa sande nti lwendigendayo okumulaba.

Samutuusa wala nze nenkomawo ewaka. Natandika okulowooza ku mulenzi ono na biki byetuyinza okukola singa mbeera ngenze ewuwe nga tuliyo babiri fekka. Enaku ezaddirira nga mu butuufu newaddeyo ekiba kibe, anti nali mpulira nkuze nga nsobola kyonna ekyandivvudde mu biki byetwandikoze.

Olunaku terwalwawo nerutuuka. Nakola emirimu jange mu bwangu ne nimba Maama nti ngenda kulaba Namazzi mukwano gwange gwenasoma naye mu siniya eyokuna. Ekirungi nti maama yali amanyi bulungi mukwano gwange ono Namazzi. Ate nolw’okuba nti yali anzikiririrzaamu, safuna buzibu kumulimba. Naye amazima nali ngenda wa mukwano gwange eyaninda okuvva edda.

Nga maliriza emirimu, nanaabako bulungi, nenesiga ebizigo awamu ne ka Eldena kange, wama gwe nenyuma anti kuvva dda ng’akasusu kange si kakwegayirira. Nayambala akateteyi kange akamyufu nga kampi naye si nnyo. Mu butuufu nali ndabika bulungi nnyo. Ate bwenagatako akagato kange akakakondo, wama gwe nenyuma okuzaama.

Nga bwomanyi nti nali mu kyaalo, ate nga newa mukwano gwange si wala nnyo. Natambula mpolampola anti bagamba “atambula sserebu ng’eyakwana ogw’okumpi.” Amakubo gaffe gayita mu bitooke-nsuku, oluusi n’ebibira.

Kati munage mba ntambulidde akabanga, kyenva nsisinkana emotoka entono nga mulimu omwaami. Omwaami olwanengera kyavva akendeeza ku ntambula y’emotoka. Nze nalowooza nti oba olyawo yali akoma mu bitundu awo. Mba mpisa emotoka ye kyavva ampita; “owange nnyabo agenda yimirira nkubuuzeko.”

Kuvva buto nga mpuliriza nnyo abantu abalala. Ne ku luno nalowooza nti oba olyawo yali abuze ng’ambuuza kubo mulagirire. Kyenva nyimirira nasembera kumpi wenali nyimiridde. “Olyotya nnyabo? Olabika bulungi, obeera kuno?” Ko nze nti “Iyeee, mbeera kuno.”

Natunulira omusajja ono, yali muwanvu, nga muddugavvu, alina ebirevvu. Yalina amaaso amalungi, yali ayambadde engoye nga tezirabika kuba za bbeyi naye ate nga zitukula bulungi. Yali asibye essaawa ku mukono, ng’ayambadde engato ezirabika obulugi era. Mu butuufu yali asanyusa amaaso. Eddoboozi lyali ddene nga gerebevvu, yali ayogeza egonjenwa.

Yayogera ebigambo bingi naye ng’akulembeza kya kubeera mukyala we, agye ewaka alabe abakadde ku lunaku lwonna lwendiba nzikiriza. Nawuliriza ebigambo bye nga siwulirangako muntu yenna abingamba. Samumatira lwa motoka gyeyali avvuga, nayagala muntu eyamuli munda. Namusiima mu mutima nensigaza kyakukasa bigambo bye.

Yandekera enamba y’essimu ye. Yadda mu motoka ye neyeyongerayo gyeyali alaga. Mpozzi mbadde nerabiddemu katono, yambuuza amannya gange nengamubulir, naye nambulira agage. Tetwalina kitulobera kwagalana kubanga emiziro gyaali janjawulo.

Ng’amaze okusimbula emotoka ye, nasigala ntambula mpolampola nga bwenebuuza eky’okukola. Ngantambuddeko ebigere nga bibyo, nakola okusalawo nensazaamu olugendo lwange. Nakyuuka nenkwata eridda ewak. Era maama yanengerera eri nambuuza nti “iyii, gwe eyakagenda!” ko nze “bangambye nti taliyo.”

Munange, nga nyingira nyumba, nga nzijjamu engoye nga nzira mu zisiibwamu. Nalowooza omwaami gwe nsoose okusisinkana mu kubo nga mu butuufu ninga gwemanyidde ebbanga eddene. Bwenalaba binsuseko, kyenva mbinyumiza ku maama nga nebuuza eky’okukola si kitegeera. Maama yangamba nti nkuze, mbu era ngoberere omutima gwange nkole kyegungamba. Naye yankutira obutaleka bwongo mabega singa mba nkola okusalawo okwenkomeredde.

Olunaku olwaddirira, nakuba ku ssimu y’omwaami gwenasanga mu kubo, era nangamba nti bulijjo alindirira ssimu yange. Namutegeeza nga bwenali nzikiriza byonna byeyangamba.

Ekyaddirira kwali kugya waka, nalaba Taata n’abantu abakulu abalala Taata beyali ayise babeewo, nabasaba bamukirize antwaale mbeere mukyala we. Nga bamaze okukiriziganya, ekyaddirira kwaali kukyala, ate n’oluvvanyuma nampasa embaga eyasigala enyumizibwako ku kyaalo.

Oli munange eyali anindiridde okumala ebbanga eddene nga nsoma, yavviramu awo. Omusajja gwenasooka okusisinkana mu kubo, yankyuusa endowooza olw’enjogera ye ennungi.

Digiqole ad

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *