• February 7, 2026

Lwaki abantu abasinga obungi bakyaawa nnyo abo bebayagalako?

 Lwaki abantu abasinga obungi bakyaawa nnyo abo bebayagalako?

Omukazi ng’ayuza ekifaananyi ky’embaga yaabwe.

Ffenna tulina abantu betwayagalako, lwakuba abamu balina bangi. Oyinza okuba ng’olina omuntu gweyagala nga muli ku somero, ku mulimu, oba awantu awalala wonna. Abalala nga wabeera n’omuntu oyo ne muzaala omwana oba abaana, naye oluvvanyuma nebigaana nga mulina okwawukana.

Ekyabaleetera okwawukana eyinza okuba nga yali nsobi yo oba nga yali ya muntu wo ne mwawukana. Olw’omukwano omungi gwemwalina, bingi byakyuuka okutandikira mu birowoozo byo. Abamu oyinza okuba nga wakitegeera n’okyesonyiwa nokireka nekigenda. Ate abalala n’okutuusa olwaleero okyalina obulumi obwo nga na buli lwojjukira owulira nga ddala yakulyamu olukwe olw’ebyo byeyasuubiza natatukiriza.

Bwoba owalana eyali muganzi wo manya nti toli omu. Ndabye abantu bangi nga bogera ebikankana eri abo bebayagalako. Nenfuna muli ekibuuzo nti ddala ddala ki ekireeta obukyaayi obwenkanidde awo, ng’ate mu kaseera akamu gyetutaali wali toyagala muntu yenna kwogera ku muntu wo?

Ekibuuzo:

Ki ekireeta obukyaayi mu bantu abasinga obungi nga bamaze okwawukana ne baganzi baabwe?

Mu comment nange ngenda kukuwa endowooza eyange ku kyensubira ekivvaako obukyaayi obwenkanidde awo__ nga bweninda endowooza eyiyo.

Digiqole ad

Related post

7 Comments

  • Okwekuumira mu bukyaayi kikosa gwe mwenyini!
    Naye katulabe….. Wabeerawo ensonga lwaki mwayawukana, ate era tesobola kubeera nungamu. Olowooza ekyo tekimala kuleeta bukyaayi bwolina eri eyali omuntu wo???
    Bbanga ki eriyisewo nga mwawukanye? Wayisewo lunaku lumu, ebyadddala omulinako obukyaayi kubanga kikyali kipya.
    Wayisewo mwaka mulamba, okyalumwa kubanga n’okutuusa kati tolowooza nti gwe akosebwa mu butamusonyiwa.
    Tewali budde butuufu omuntu bwateekeddwa okusonyiwa Oyo eyali muganzi namuyiwa. Okumusonyiwa omuntu oyo kitwala okulowooza ennyo na ki kyoganyulwamu.

    Abantu balemwa okusonyiwa abo abali abagalwa baabwe kubanga, obulumi bwaali bungi era nga tebamanyi nti nabo bakosebwa mu kukuuma obukyaayi obungi ku mutima.

  • Walayi walayi

  • Busiru just.

  • Actually nze sifunangako bukyayi bwonna eri oyo gwetwali twagalanyeko naye…
    Naye nze ndowooza ensonga zibeera nyingi ezileta obukyayi… Ekisinga buba bwenzi gwe obadde okimanyi nti omusajja akyawa nnyo omukazi gwabadde ayagala singa abeera nga amukwatidde mubwenzi… Simanyi kino kwekiva omusajja nebwabeera nga mwenzi nnyo aba tayagalira ddala mukaziwe kwenda..olwensonga ezimu.

    Obutesigangana no butagumikiriza… By the way buno buba nga buntu butono nnyo ku side emu oba endala naye munange bukulu nnyo omuntu asoboleradda okukyawa olwokuba wabusubiza notatukiriza mubudde 🤣🤣 its somehow funny naye biri serious coz oyo nze namulina ko.
    Nebilala bingi…

    • Naye ku nsi tukimanyi nti tekuli malaika. Kati lwaki onyiiga okutuuka okukyaaomuntu gwewayagalako n’oyuuka okumwagaliza olumbe lumute, mbu kubanga yayenda? Ate munange nga bwogambye, abasajja banyiiga nnyo nebayitawo singa abeeran’obukakafu nti mukyala we abaliga. So nga ye ayenda ku buli kiramu.

      Bantu butabeera fair.

    • Sabula emboozi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *