Entuuko za Tom ne Gera.
Omuwala (Gera) n’omulenzi (Tom) baali ba mukwano nnyo. Basisinkana ku sosomediya (facebook) ne bagalana nnyo nga buli lunaku balina okunyumya. Omukwano bwe gwagenda ewala, bawanyisiganya enamba z’essimu basobole okuwanyisiganya obubaka obw’amaloboozi awamu n’okukuba amasimu aga ddala.
Teri lunaku lwakya ne luziba nga tebanyumiza. Babeera nga ku ssimu paka matumbi budde nga teri alowooza ku bya kwebaka. Gera yagwa mu mukwano ne Tom bwatyo. Obulamu bwalabika nga bunyuvvu ku luuyi lwa Gera, kumbe nga ne ku luuyi lwa Tom bwegwaali.
Olunaku lumu, Gera yasindikira Tom obubaka obuwandiike mu biseera eby’okumakya naye nebutaddibwamu. Gera yalowooza nti oba olyawo Tom yalina bingi ku meeza ye eby’okukwasaganya. Obudde bwatambula, Gera teyalaba bubaka bwonna wadde obw’amaloboozi. Gera yasoberwa, buli kimu kyatandika okukyuka mu mbeera za Gera ng’ayeralikiridde nti oba olyawo waliwo obuzibu obw’amaanyi obwaali butuuse ku Tom.
Obudde bwaziba nga Tom tasindise bubaka bwonna wadde okumubuuza nti “owaaye?” Gera yayingira obuliri yebake alinde enkeera. Otulo twamubula, Gera yasalawo akubire Tom essimu mu matumbi g’obudde nga yeralikiridde nnyo. Essimu yavvuga okutuusa ng’ekutuseko nga Tom tagikwata. Yaddamu nakuba emirundi emirala 4 nga tewali agikwata.
Enaku zatambula nga Gera talaba ku bubaka bwonna okuvva ewa Tom. ezaali enaku zafuuka wiiki… Tom teyakuba ku ssimu wadde okusindika obubaka bwonna okumala enaku 21. Gera yatya, Gera yatandika okukoga nga talya mere nga n’otulo tatufuna mu biseera by’okwebaka. Gera yasulanga akulungatana mu bikuunta nga n’olumu akaaba awatali kutegeeza ku muntu yenna.
Enaku nga ziyisewo 21, Tom yakuba essimu ng’akozesa namba ndala nnyo. Gera yasanyuka nnyo okuwulira eddoboozi lya Tom.
Tom: Hullo!
Gera: Hullo Tom, ndimusanyufu nnyo okuwuliza, ki ekyabaawo munange?
Tom: Mbadde nina bye nkwasaganya.
[Gera yawuliriza eddoboozi lya Tom lye yayogeza nga teririmu mukwano nga bwegwabanga. Gera yakitegeera nti waliwo ekyatukawo__ naye teyabuuza.]
[Akasirikiriro]
Tom: Naye omanyi, kino tukikomye. Eby’okunyumya nange byerabire.
Gera: [yassa ekikkowe] Ekiki? Naye nga lwaki?
Tom: Nsonyiwa. Weraba.
[Tom yagyako essimu. Gera teyakikiriza, ekitundutundu ku mubiri gwe kyalinga ekimugyiddwako.]
Gera yatandika okujjukira byonna bye banyumyanga. Yajjukira eddoboozi lya Tom ng’amusibula awatali kunyonyola kwonna. Okwenyamira kwabutikira Gera, amaziga gakuluta okuvva mu maaso ge. Gera yawogana ng’ayita erinnya Tom… Naye Tom yali wala ddala nga nga byonna akola bya bwerere.
Gera yasirikirira mu birowoozo, namalirira okukomyawo Tom mu bulamu bwe.
[Yakuba essimu ya Tom]
Gera: Hullo!
Tom: Onkubira ongamba ki?
Gera : Ninna kyenjagala okukugamba.
Tom: Yogera mpulira.
Gera: Mbadde ninna kyenjagala okukugamba munange.
[Eddoboozi lye lyawulikika nga lijjudde okutya okw’amaanyi. “Takyafaayo jendi” Gera ng’alowooza.]
Tom: Kyogere kyoyagala okungamba kuba sirina budde bwa kwonoona.
Gera: Oli bulungi?
[Akasirikiriro nate]
Amaziga amayitirivvu nga gajjudde amaaso ga Gera. Essimu ya Gera yagwako omuliro ku lyanda. Gera yadduka mu kisenge mwasula… Yateeka essimu ku masanyalaze afune omuliro. Essimu olwagendako akati k’omuliro, Gera yasalawo kuddamu akubire Tom ng’eri mu masanyalaze. Bweyali akyakuba, essimu neyitamu amasanyalaze negamukuba.
[Obudde bwagenda, esssaawa zayitawo. Maama wa Gera yakuba ku ssimu Tom]
Maama: Hullo Tom, Gera afunye akabenje k’amasanyalaze bwabadde agezako okukubira. Tuli mu ddwaliro bamuwadde ekitanda ng’ayisiddwa bubi nnyo.
Tom: Eehhhh!
[Maama yagyako essimu]
Tom yaddamu nakuba amangu ddala nga maama agyeko essimu.
Tom: Hullo Maama, munange nsaba kunsonyiwa, singa si nze Gera teyandikubiddwa masanyalaze. Nsaba kwogerako ne Gera.
Wadde Gera yali mu mbeera mbi naye yali ategeera bulungi ng’asobola okwogera.
[maama yakwasa Gera essimu]
Tom: Bambi nsaba onsonyiwe, mu linnya lya kitafe mu gulu nsaba oterere mangu bulungi.
Gera: Ki ekyatuuka wakati waffe?
Tom: Ninna obulwadde bw’omutima ng’enaku nsigaziza ntono ddala ku nsi… Nali sagala weralikirire ku lwange.
[Gera teyaddamu kigambo, essimu negwa eri, ebibye byakoma awo, Gera teyazukuka.]
Maama wa Gera yakuba omulanga nti “asse omwana wange! Maama yakaaba, yalekaana nga Tom ali ku ssimu.
Tom teyakiriza kyaali kituuse ku Gera naye yategeera nti yali afudde.
Oluvvanyuma lw’eddakiika nga 23, Tom yatandika okussa obubi, Tom yakutuka omutima, Tom yafa.
Bawumula!