• November 21, 2024

Omusajja gwenali ntidde okugoberera.

 Omusajja gwenali ntidde okugoberera.

Ekitundu ekyokusatu.

Nga tuli munda ne Erick, ebintu bingi byenalowoozako ebiyinza okuddirira. Enyumba yange yali bisenge bibiri; ekimu nga ddiiro ate ng’ekirala wewaali obuliri. Mu kisenge nalinamu ekinaabiro ate nga mu ddiiro ninamu akafumbiro akatono.

Wakati mu kulowooza ekiddako nabuuza Erick “nkutabulireyo ku ccaayi?” Yakiriza era nansaba okulambula mu nyumba munda. Yatandika okutambula mu ddiiro nga bwayisa amaaso okwetegereza ebisenge by’enyumba yange awamu n’ebifaananyi byenali ntimbye. Nga ndi mu kafumbiro ntabula chai, nagobereza Erick amaaso nga mu butuufu Erick musajja mukwata mpola nnnyo- eyegenedereza mu buli kyakola. Mu kaseera ako, nali ntandise okufuna obugumu mu mutima nga nkiraba nti Erick ayinza obutaba kika kya musajja akaka omukyala okukola kyatetegekedde. Erick yaggula oluggi lw’ekisenge kyange nateekako etaala era neyetegereza.

Nze bwenayingira mu ddiiro n’ebikopo bya ccaayi bibiri, nasanga Erick ayimiridde era ng’amaaso agantunuliza. Namumwenyeza era ne mpumuza ccaayi ku meeza. “Otyo! Okusinziira bwolabye enyumba yange, ofunyemu kifaananyi ki?”

Erick yasitula ekikopo kya ccaayi nanywako , namala nakiwumuza ku meeza neyesigama mu ntebe mweyali atudde. “kale, katulabe. Oli muwala muyonjo, onyumirwa okuwandiika, ofuna sente ntono ng’omusaala, amatooke gatekeddwa okuba nga ye mere yo, toliko agamba. Mpozzi n’ekirala sewunyiza nnyo, kubanga era bwembadde nkusuubira.”

“Ki kyotegeeza?” olwo mbuuza.

“Getu tolina musajja akuvvunanyizibwako. Wakulira Masaka, nosomera e Masaka, Kampala omuyingidde onoonya mulimu. Mu kyensinze okwagala, tonayingira bya bufumbo wadde okuzaala omwana.”

Kino kyandetera okuseka ennyo. “Hahaha… Olabika oli musawo wa bwongo. Naye njagala okukugambayo ekintu kimu, kyonna kyendi sitoma era manyi nti ng’omuwala omuto siteekeddwa kupakuka na byansi. Eby’okulaba nina bingi mu biseera by’omumaaso. Eky’omukisa gyendi, nina abazadde abanfaako, ate nina ne baganda bange betwagalana okuzaama. Eby’omusajja seralikirira, omutuufu alijja wonna mukama walimuletera.”

Erick yaseka nnyo nawumuza n’ekikopo wansi ku meeza. Kyavva asitula amaaso ge nantunulira. “Okakasa oli mumativvu n’obulamu buno? Oba akuwasa yatanaleeta kusaba kwe?”

Nasitula ekikopo kyange ekya ccaayi nenywako nga bwendowooza ekituufu ekyokumuddamu. “Kirabika byombi bituufu. Kyengamba, sirina muntu essaawa zino, ate kyandiba nga n’obudde bukyaali nze okulowooza ku by’okufuna omuasajja. Ajja yajja.”

Nali simanyi Erick kyagenda kulowooza okusinziira ku byenamuddamu, naye ekigambo kyeyazako, nakimanya nti yali antegedde bulungi era nga enkolagana yange ne Tonny yali agimanyiko.

“Kati ate Tonny?”

Namutunulira. Yalina enkola y’okubuuza ebibuuzo ebimalako omuntu emirembe, ebibuuzo ebinkaka okusooka okulowooza, okusooka okufumitiriza ku kyengenda okuddamu. “Tonny mukwano gwange nnyo. Mukwano gwange nfa nfe. Mulowooleza nsi na gulu.”

“Oli mu mukwano naye?”

Namwenyamu katono. “Nange simanyi.”

Yantunulira mu ngeri ey’okwewunya, “tomanyi?”

Nasitula ekikopo kyange nenywako. Nawulira nga sikyawera bulungi. “Mulinako omukwano. Naye bwetuba twogera ku mukwano ogw’oluberera, awo sikakasa nti ngukiririzaamu. Nzikiriza nti omukwano gujja negugenda.” Nayanguwa okumubuuza “ye lwaki twogera ku Tonny?”

“Nedda nnyabo, tetwogera ku Tonny. Twogera ku gwe.” Erick bweyanziramu.

“Oh.” nga nsitula ekikopo kyange .

Amaaso ge gasisinkana agange. Yanemezako amaaso nentunula wansi. Yawumuza wansi ekikopo kya ccaayi nga ssi ku meeza. Eddoboozi lye lyaali mu ngeri yakwemulugunya. “Zino entebe zo zinyiiza. Njagala kukwatako, wakiri obeereko mu mikono gyange , naye baaba zino enetebe zo oba ng’atudde mu kibbo.”

Namusekerera, naye mu maaso ge mwalimu eky’enjawulo. Nawulira ng’omutima gwange gukubira kumukumu. Namutunulira ng’asituka mu ntebe, nasembera mpola wenali, nankwata omukono okunyambako nange nsituke.

Yanyweeza mu kifuba kye, mpola mpola emimwa gya Erick gyaali ku gyange. Nawulira obuwojjolo mu lubuto lwange, ate nebulemeramu obutavaamu. Mpola twagwa mu ntebe empaanvu. Yansiisitira mu mikono gye, ng’eno bwanywegera obwenyi bwange, amatu n’obulago nzenna. Yantunuulira mu maaso, nendaba okuyaayana okwamanyi mu maaso ge. Nazibiriza amaaso gange, Erick yaddamu nankwata ku kalevu, era nanywegera emimwa gyange ng’eno bwampeweeta ku mubiri gwonna. Mu butuufu kyansukako nali siwulirangako bwentyo. Wakati mu kutendewalirwa, nayita erinnya nti “Erick”

Yanesikako mpola nayimirira, eddoboozi lye lyaali sakaavvu, “Nkwetaaga, Getu. Mpulira nkwagala munange. Naye kisingako nokola okusalawo ku nsonga zo ne Tonny nga tetunaba kugenda wala.”

Okusinziira ku mbeera gyetwalimu ne Erick, nakitegeera bulungi nti si buli musajja nti tasobola kwefuga. Erick yafuga okuyaayana kw’omubiri gwe, mu butuufu kino kyayongera okunjagaza Erick. Mu kaseera ako, nali mwetaaga okusinga bwenali netaaze ekitonde ekisajja kyonna. Namuyita, “Erick….”

Yantunulira mu ngeri ey’okusoberwa, “Getu ngenda kuba nindiridde kusalawo kwo. Tewerabira nti nkwagala okusinga kyosuubira.”

Yatunula mu ddirisa wadde ng’obudde bwaali kiro, “Getu kanzire ewange, sula bulungi. nsuubira okulabako enkya ku yafeesi nga ndeese obutabo.”

Namuwerekera okutuuka ku mulyango nemuwa ka hug nanywegera mu kyenyi. Nga Erick amaze okusimbula emotoka, nadda mu nyumba naye, nga buli wamu mulabawo. Naggala oluggi, nengenda mu kinaabiro okunaabako. Nayimirira mu kasonda k’ekinaabiro ne ndowooza Erick. Yandetera okumwagala n’okumusubwa ennyo; kino yakikola mu ngeri ya bwetoowaze n’amagezi amangi ennyo. Ng’ojjeko ekyo, yali musajja wanjawulo ku balala nga Tonny. Yansanyusa, yasindika ebiwojjolo mu lubuto lwange, yandaga nti aninamu esuubi ddene. Mu butuufu nagwa mu mukwano naye ogwa ddala. Yandetera okuwulira ekintu eky’omuwendo mu bulamu bwange, era muli ne negamba nti guno bweguba nga ssi gwemukwano ogwaddala, kyempulira kibeera tekirina linnya.

Nga maliriza okunaaba, nesiimula nenkala, ne ndowooza ku Tonny omusajja eyasooka mu bulamu bwange. Yali musajja mulungi ate ng’ayagala okusaaga ebyanyumiranga. Naye mu kaseera ako kenyini nali si kyasobola kufumitiriza ku bulamu bwange nga ndi naye, Erick yali amaze okuntwala omwoyo. Nagyako etaala nenyingiri obuliri bwange. Nafuna akamwenyumwenyu nga ndowooza ku bukwata mpola bwa Erick, okumpa omukisa ogusalawo ku ki kyenjagala. Nalowooza ku butya bwekiyinza okuba nga ndi n’omusajja omukwata mpola mu buliri nga twebise bulangiti emu; nga tuli mwaami na mukyala.

Ku mulimo nga bulijjo nze ne Tonny twaali tetutijja nnyo mu bakozi bannafe. Emirimu gyasigala gitambula bulungi naye emboozi n’okulabagana byakenderera ddala. Era omulundi gwenaddamu okusemeberera Tonny, twaali ku beach ng’abakozi fenna. Mbeera ntudde wansi nga neyawudde ku balala nsobole okuwuliza Erick, ngenda okuwulira omuntu atuula okumpi nange, Tonny yali atudde ku mabbali gange, ng’atunudde mu nnyanja. Omutima gwankuba naye yanyanguyiza ebintu.

Yayogera nga atunudde mu nnyanja, “muli ndowooza nti olina kyoteekeddwa okungamba.”

Nasimba engalo zange mu musenyu. “Kyenjagala okugamba kiri nti oli musajja mulungi nnyo, omusajja gwenasooka okwagala mu bulamu bwange, omusajja ambereddewo.”

“Naye……?”

Wano nassa ekikkowe ekyamaanyi. “Nze ne Erick tulina wetutuuse.”

“Yakusabye obufumbo?” Mu ddoboozi ekakamu.

“Nsuubira alinda nze negyeko abalebeesi.” Bwenamuddamu mu ngeri y’okusaagirira nga bulijjo.

“Era nze mulebeesi.”

Namumwenyeza. “Wandiba nga ye gwe era. Wafuna ekitundu kyange ku mutima naye tolina kyewakolawo okuleka ebiseera okutambula nga tolina kyogatako. Erick andetedde okukiraba nti ngwaana ekisinga ku kwegatta obwegassi. Anyambyeko okukola okusalawo ku bintu ebinene mu bulamu bwange.”

Yasesetula galubindi ze okusobola okundabisa amaaso ge. “Byoyogedde tebiwulikika nga bigambo bya Getu.”

“Nange nkimanyi. Erick anfudde omuntu omupya.” Namuddamu nga bwenjoola omusenyu bwengukasuka mu nnyanja.

Tonny: “Kale Getu, nze nakwagala nga bwewali. Kansubire onyumirwa omuntu omupya gwoli kati.”

“Tonny teweralikira. Ndi mukakafu nti Erick ye musajja eyantonderwa. Mu butuufu andetedde okukula mu birowoozo n’okulowooza ku biseera byomumaaso.”

“Akuletedde okukula mu birowoozo? Kirabike alina ebigimusa.”Tonny ng’asaagirira.

Fembi twaseka, “nkwagaliza kisinga Getu.”

Wayitawo enaku bbiri (2), kaali kawungezi ka lwakutaano nga maliriza egyange ku yafeesi. Erick yajja nannona nga nyinyuse nantwala tunywe ka ccaayi k’olwegulo mu kifo ekimu. Olw’okuba nalina amawulire amalungi gyaali, salinda kutuuka gyetwaali tulaga. “Nze ne Tonny twayogedde era ne tukomya byonna byetubadde tulina.” Erick yasanyuka era nanywegera mu kyenyi wadde nga yali avvuga.

Nga tumaze okunywa chai, yansaba tugende babiri ewuwe. Ekintu kyesagaana. Nga tutuuse ewuwe, nakitegeera nti Erick yali afuna omusaala omusava okusinziira ku nyumba ye n’ebintu ebyaalimu. Enyumba yaali ya bisenge bisatu. Eddiiro, ekisenge mwasula, ne ky’abagenyi. Mwalimu efumbiro nga ddeneko, nga mulimu ekinaabiro nga nakyo kigazi. Ebintu ng’entebe, Tv, ebiwempe bya wansi, n’ebifaananyi byo ku bisenge, mu butuufu byonna byaali bya mulembe. Yaleeta ka wine akawunya akaloosa ak’omulembe, netutula mu ntebe enenne nga mpaanvu netukkalira.

Twakonaganya amagiraasi ng’akabonero k’okwagalana. Twanyumya ebintu bingi; byetwakolanga mu buto, emizannyo gyetwanyumirwanga, eddalu lyetwakola ku somero, nanyumiza n’engeri gyebatambuzamu obulamu mu Kenya. Yanyumiza ku bazadde be, bato be, mikwano gye, ebintu byanyumirwa mu bulamu, n’emizannyo egimunyumira.

Erick yali afaayo ku buli kigambo kyenafulumyanga mu kamwa, gyobeera nti byonna byaali bya mugaso. Oba oli awo byaalina kyebitegeeza kinene gyaali, kubanga oluvvanyuma lw’akaseera yankwata ku mukono nagunyweeza.

“Oli muwala musuffu.” Yamwenya. “Getu, osukka kw’ekyo kyenali noonya mu muwala ow’okumala naye obulamu bwange obusigadde. Oli muwala ayanguwa okusalawo ku kyayagala. Kale nkwagala nnyo muntu wange,”

Namutunulira nemwenya ate oluvvanyuma nenziza amaaso gange wansi. “Entunulayo njagala.” Ng’ebigambo noonya binoonye, “bwemba nawe mpulira ninga omwana omuto ebiseera ebimu……”

“Ekyo kyekimu kubikufuula ow’enjawulo nekikunjagaza ebimenya amateeka…. Getu kikuume.”

“Njagala kubeera mukazi wo; mukwano gwo.”

“Toli mukazi wange kyokka, oli mukyala wange; mukwano gwange.” Bino byonna yabyogera atadde omukono gwe ku kibegabega kyange. Yayongera okusembera okumpi nange. Yasitula amaaso ge, “Getu, nsuubiza nti tewali kigenda kutwawula. Nsuubiza nti ogenda kubeera nange ebbanga lyonna wadde nga twawula amawanga. Getu…..”

Nagezako okumuddamu naye ng’olulimi lwesibye. Mu butuufu nali mpulira nga mwetaaga; nga mwetaaga okusinga bwasuubira. “Nja nja ….” Nali nkyalwanagana n’olulimi lwange, Erick nanywegera nga bwangamba mu kaama, “wesirikire. Oli wange. Njakubeera musajja mulungi gyooli. Nze nawe tugenda kuzimba olubiri .”

Okwenyegera kwagenda mu maaso. Emikono gyatambula. Nawulira nga mbulidde mu bwagazi obw’ekika ekya wagulu, ne Erick bwatyo kubanga nali mpulira enzisa ye. Erick yasituka, yankwata ku mukono, yaggula oluggi lw’ekisenge, ……

Ebyaddirira, birinde mu kitundu ekyokuna.

Digiqole ad

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *