Omusajja gwenali ntidde okugoberera.
Ekitundu ekyokutaano.
Wakati nga nyimiridde mu kusoberwa, Erick nga munyikaavvu ebisembayo, navvaamu ebigambo bino.
“Kiringa nga gwe anefulidde.” Mu maziga amangi nga gayiika okuvva mu maaso, nagamba Erick “olinga bulijjo ansalira amagezi okumbuzabuza! Bulijjo nsuubira nti olina omulimu omulungi ogukumala okutandika obulamu obusufu wano mu Kampala. Bulijjo ndowooza nti Uganda ekusanyusa era ng’oli mwetegefu okutandika obulamu wano. Ofune omuwala omulungi, omwagale, omuwase, ate n’oluvvanyuma omuzaalemu abaana. Ebyo byonna mbadde manyi nti nze muwala oyo era nga ndimwetegefu! Kati ate mbu oyagala kunzijja wano ontwaale ewamwe kubanga jewafunye omulimu!? Mpulira ng’oli mu kundyamu lukwe! Bwentyo bwempulira.” Nakaaba. “Erick, mazima ddala nze atali mwenkanya mu bino byonna, oba gwe atali mwenkanya?”
“Nze nali simanyi nti gwe eky’okuvva mu Uganda muziro, Erick bweyanziramu ng’ankubye omugongo. Yakyuuka nantunulira, wandiba toli mwangu okusinga ne kyenasuubira! Kale nnyabo, oli wa ddembe okufuna omusajja omunna_Uganda mubeere wano bwekiba nga ky’ekintu kyokka kyosinga okufaako. Naye njakugamba ekintu kimu, Getu, netaaga omukyaala akola okusalawo ng’asinziira ku ki kyeyetaaga. Omukyaala akulembeza omukwano, omwaami, n’amaka ge, kati ebintu nga ensi mweyakulira, enganda n’emikwano nga bijja luvvanyuma. Mu butuufu negomba nti kale singa gwe mukazi oyo_Getu.”
Ebigambo bya Erick byansima munda ddala. Erick yakyuka natambula butambuzi nga tampadde kakisa kumuddamu. Nawulira bubi. Enaku enkulu tezanyumira yadde. Buli ssaawa nalinga ndowooza Erick. Ebiro nabimala nga nebuuza nti watya Erick nafuna omuwala omulala ewaabwe? Namaliriza munenya nti lwaki yajja mu bulamu bwange nga tasobola kumanya kyenjagala!?
Olunaku lumu akawungeezi, bwenali nkomawo okuvva okugula ebintu nasisinkana Tonny.
“Olyotya Getu?” Nga bulijjo yalina galubindi ku maaso, namwekanga kuba nali simusuubira mu katundu ako.
“Sikulaba nampeta, mbadde nsuubira nti mu kaseera kano oli mufumbo ewa Erick! Simanyi mwayawukanye?”
“Tetunafumbiriganwa.” bwentyo bwenamuddamu.
“Yalagawa Erick?
“Yaddayo mu Kenya okulya enaku enkulu ne bazadde be.”
Tonny yamwenyamu katono. “Lwaki teyakutwala?”
“Mpulira nkooye nokukoowa. Ki tetufuna wetunywa ka sooda?” Nga nsaba Tonny tufune kyetunywa.
“Oh mukama,” nabyogera nesigama ekisenge, anti byenali nsitudde byaali bizitoowa ate nga n’ebirowoozo nina bingi.
“Naye tewanzizemu kyenakubuuziza.”
“Yansaba tugende ffembi. Naye nze nali sagala kulira ssekukulu mu bantu besimanyi.” Tonny yanemezaako amaaso, nemaliriza nga munyonyodde byonna n’okutya kwange kwenalina mu by’okugenda ne Erick tubeere mu Kenya.
“Nze sigenda kugamba nti Kenya mbi oba nnungi, naye ekisinga obukulu, Erick yandibadde awulirirza ky’oyagala era nakola ekyo.”
Namutunulira enkaliriza. “Nsubira ekyo kyoyogedde kyembadde njagala okuwulira.”
“Getu.” yampita nga bwamwenya. “Kale singa wasigala nange, nandisigadde ndi ekyo kyewandabamu okusooka. Oli muwala mulungi nnyo mu be nali ndabye, ate ng’oli mugezi. Bulijjo nsuubira okuba ng’omanyi kyoyagala.”
“Era nkimanyi.”
“Nedda, wandiba ng’oli mugezi naye tonakola kusalawo kw’amagezi mu bulamu bwo. Oli mukazi kati okuze, wetaaga okumanya kyoyagala mu bulamu. Wetaaga okubeera n’omuntu gwoyagala, omuntu bwemunakola amaka. Getu olina okutandika amaka agago yonna obulamu gyebukutwala. Oyagala Uganda, naye omuntu gwoyagala tazaalibwa mu Uganda, kiriza ekyo era okyanirize n’emikono ebiri. Okufuna akwagala kya ssanyu, naye okufuna akwagala nga nawe omwagala kirabo okuvva eri katonda. Getu togenda kufuna muntu alinga Erick.”
Natunulira Tonny. Ebbanga lyetwamala ffembi samuwulirako ng’alina ekintu eky’amagezi kyampabula.
“Amagezi ng’olina mangi enaku zino, ogajja wa?”
“Kubanga nasigala nkwagala. Nange simanyi bigambo gyebivvudde.” ng’eno bwamwenya.
Naseka era naye yaseka. Kyaali kya ssanyu okuddamu okusisinkana Tonny. Oluvvanyuma nga twawukanye, nalowooza ku bigambo byeyali angambye. Tonny yali mutuufu mu byonna byeyangamba. Nali nteekeddwa okukulembeza kyenjagala nga nkola okusalawo okunene mu bulamu bwange. Erick yali ansingira Uganda; yali mugezi ate nga mukozi, yali ansanyusa ate nga n’omukwano gwange alina mungi.
Kyandikoze njawulo ki nze okusigala e Uganda nenfumbirwa omusajja gwesagala ku mutima. Okuvva e Uganda nengenda e Kenya kyaali tekinjawukanya ne baganda bange. Abantu besimanyi e Kenya bandifuuse mikwano gyange oluvvanyuma lw’okubamanyiira. Ate nga n’ekisinga obukulu, nandibadde n’omusajja gwensinga okwagala mu nsi yonna. Muli nakizuula nti omukwano omutuufu gusinga byonna- nga ndi wa mukisa okwagala Erick ate naye nanjagala. Mu butuufu nebuuza nti, lwaki naleka Erick okugenda yekka?
Nali nkimanyi nti Erick yalina okudda nga 28 okusobola okutereza byeyali tanaba kutereza ku mulimu. Lwali lwa sande ng’alina okukeera ku mulimu enkeera ku mande. Nasigala ewaka nga nsuubira nti oba olyawo anakuba ku ssimu yange. Amaaso nagasiibya ku ssimu, buli lweyavvuganga nga ndowooza nti yakubye. Erick teyakuba ku ssimu yange.
Natandika okulowooza ebintu nga bingi. Nalowooza nti oba yali amaze okunsiimuula mu bulamu bwe. Nendowooza nti oba olyawo yali andaba ng’akawala akato akalungi naye nga tekasobola kusalawo ku kyekagala. Obudde bwatambula nga ndi mu birowoozo ebiyitirivvu. Essaawa zawera kumi ez’akawungeezi, nali sikyasobola kugumikiriza. Nakwata essimu yange nemukubira era yagikwatira ku mulundi gwakuna ng’evvuga.
“Sisobola kulowooza ku kintu ky’amagezi kyenyiinza kukugamba.” Byebigambo byenasooka okufulumya mu kamwa kange. Omumwa gwange gwaali mukalu, nga nina okusooka okuguyisako olulimi. “Sigenda kubuuza nti oba wanyumiddwa enaku enkulu. Era sigenda kubuuza nti okomawo ddi oba otuuka ssawa meka. Nja… njagala kulabako, bwoba nawe okyayagala okundabako.”
Waliwo akasirikiriro okumala akabanga. Nawulira ng’omutima gwange nga gunkubira kumukumu. Oluvvanyuma yanziramu. “Ngenda kukutuukako mu ddakiika ntono ddala.”
Nga wakayitawo eddakiika ng’abiri, nawulira akoonkona ku luggi, era nenzigulawo mangu ddala. Yayimirira ku mulyango netugesiimba.
“Enaku enkulu tezanyumira, ng’ayogera antunulidde. “Ate gwe?”
“Nange byebimu.”
Twasigala twetunulidde okutuusa bwenamugamba nti “lwaki toyingira okusinga okubeera ku mulyango?”
Yayingira. Nga yakatuuka mu makati g’eddiiro, yakyuuka nantunulira. “Getu, omulimu gwange omupya ngwetaaga.”
“Ekyo sikusuubira kukikyuusa.”
“Kati olwo?”
“Anti kati …. Ebigambo byasooka kwesiba. “Nakoze okusalawo. Oli kya muwendo nnyo gyendi. Nkwagala okusinga ebintu ebirala byonna. Okubeera nawe tekigenda kunjawukanya n’abantu bange.”
“Oh?” Yasembera wendi nga bwalinda kyenyongerako.
“Nkimanyi nti olumu sisooka kufumitiriza ku kyenina kusalawo, era ng’oluusi njagala nnyo okukulembeza kyendowooza nti ky’ekituufu wadde nga kiba tekinyamba. Erick, nkwagala nnyo munange okusinga ne bwolowooza. Okitegeera? Kati sifaayo wa omulimu gyegukutwala_ Somalia, Namibia, Nigeria. Ngenda kubeera nawe. Bwemba nkyalina akakisa mu bulamu bwo.”
Yazitoya amaaso ge nanziramu nakamwenyumwenyu. “Getu oli mukazi wange.”
Mu kaseera katono ddala, nali ndi mu kifuba kye. Twenywegera nga bwantegeeza nga bwanjagala okukamala.
“Getu nkwagala nnyo okusinga nebwensobola okukugamba.” Yabyogera emimwa gye giri ku jange.
“Mbadde nteekeddwa okukula nsalewo kubingasa.” Bwenamugamba. “Eno Uganda nsi yange mwenazaalibwa, naye siteekeddwa kufiirwa muntu gwenjagala lwakubeera yo.”
Mu mwezi ogwaddako, nze ne Erick twafumbiriganwa mu bufumbo obutukuvvu. Oluvvanyuma twagenda e Kenya netubeera mu ba Erick. Bazadde be ne banyina baali bantu balamu bambi. Erick nga yakadda ku mulimu, twagula ennyumba mu kibuga Nairobi naye nga twesudde akabanga okuvva ku bazadde be.
Obulamu bwanyanguyira mu kibuga Nairobi. Erick yanjagala nnyo n’okusinga kyenali ngwanira. Nasubwa obulamu bwe Uganda, naye okubeera n’omusajja gwe njagala kyekyaali eky’omuwendo ennyo jendi. Amatooke e Kenya matono ddala, naye ekyo tekikyaali kizibu kyange. Buli mere empita mu maaso kati ngirya.
Emyezi etaano nga tumaze okufumbiriganwa, nafuna olubuto lw’omwana waffe asooka, Grace. Sisobola kwerabira ssanyu Erick lyeyandaga nga batugambye nti essaawa yonna tufuuka bazadde. Erick yampa eky’omuwendo ; okunzikiriza muzaalire omwana.
Eky’okubeera e Kenya tekyasazaamu nkolagana yange ne bazadde bange. Kumpi buli lunaku nsobola okuwuliziganya nabo. Emyezi ng’ebiri emabega, nakyaalako e Buddu era ne bansanyukira nnyo. Baganda bange bakula dda naye nga bakyasoma.
Mu butuufu ndi musanyufu nnyo n’okusalawo kwenakola. Nali manyi nti sisobola kusanyuka nga ndi mu nsi ndala etali Uganda. Nakitegeera nti essanyu ky’ekintu ekisobola okukugoberera buli wolaga.
Mwebale nnyo abagoberedde emboozi yange. Mwebalire ddala!