• November 21, 2024

Enjawulo wakati w’okwagala omuntu n’okubeera mu mukwano n’omuntu.

 Enjawulo wakati w’okwagala omuntu n’okubeera mu mukwano n’omuntu.

Mu bulamu bwo ogenda kwagala abantu bangi __ ab’enganda zo, mikwano gyo, bokola nabo, oluusi n’ebintu obuntu gamba ng’enkuba, enjuba ng’egoloba n’ebirala bingi. Naye, abantu abasinga obungi tubeera mu mukwano n’omuntu omu mu kaseera kamu. Ono ye muntu gw’otasobola kulekayo kumulowooza. Omuntu ono akubeera mu birowoozo kubanga ategeeza kinene gyoli. Ofaayo nnyo ku ssanyu lye, era nga kyosinga okwagala mu bulamu, kwe kubeera naye.

Njagala kukuwa enjawulo wakati w’okwagala omuntu n’okubeera mu mukwano n’omuntu _ mu njogera endala, okwagala omuntu akuwuliza ebiwojjolo mu lubuto n’omuntu gwoyagalira ddala okuvva ku mutima nga tolina birala bye wenooyeza.

Okuwulira emirembe nga muli mwembi.

Bwoba oyagala omuntu, akuleeta ebiwojjolo mu lubuto.

  • Katugeze ng’olina wooli gamba nga ku mukolo, bwomulengera ng’ayingira muli owulira obuwojjolo mu lubuto, olutiko ne lukuyiwa omubiri gwonna.
  • Obeera musanyufu nnyo eby’ensusso naye nga toyagala kulaga balala nti osanyuse nnyo… Otandika okuwulira nga ne w’otudde wakwookya toteredde.

Bwobeera mu mukwano n’omuntu, owulira mirembe myerere nga tolina kupakunkana mutima wadde alina wakusanze nga tomusuubirawo.

  • Okubeera okumpi naye kikuleetera okuwulira ng’olina obukuumi obumala singa wabawo ekibadde.
  • Muli owulira ng’osobola okumwesiga n’ebyaama byo awatali kutya.
  • Osobola okumubulira kyonna ekikuli ku mutima nga tolimu kulowooza nti watya nga andabye bulala!
  • Toteekeddwa kwefuula kyotali mu maaso ge. Nti kubanga gundi aze, nina okubako kye nkola ampite omugezi. Akwagala olw’ekyo kyakulabamu ate nga talimala gakyuusa mpulira ye gyooli.

Onyumirwa okubeera n’omuntu oyo wadde nga muli mu kaseera kazibu.

Bwoba oyagala omuntu, oyagala kukola bimusanyusa byokka.

  • Buli ssaawa obeera oyagala kubeera mu ssanyu lyokka nga muli mwembi, toyagala bya naku wakati wamwe.
  • Oyagala buli kaseera kemumala mwembi kajjukirwe nnyo olw’essanyu lyemugabana ng’ababiri.
  • Buli kaseera obeera olowooza ku biki ebiyinza okuzaala essanyu wakati wamwe nga toyagala kabi konna kubatuukako.

Bwoba oli mu mukwano n’omuntu, tofaayo ku ki ekiyinza okuddirira wakati wamwe.

  • Omuntu oyo omwagala nga tofuddeyo ku bi ki byeyakola mu biseera eby’emabega. Oba yali mubbi nga bayinza okudda nga bamunoonya, obeera mwetegefu okwanganga obuzibu obubeera bubalusewo.
  • Ng’oli mu mukwano n’omuntu, obeera musanyufu okuyimirirawo ku lulwe singa yesanga mu mitawana.
  • Tosobola kudduka ku muntu gw’oli naye mu mukwano olw’okuba afunye akabenje ne bamutemako amagulu gombi.
  • Bizibu bitono nnyo ebisobola okukujja waali nti odduke.

Omuntu oyo abeera yakuyingira nnyo wadde ng’omukwano gwamwe gubeera gukaddiye.

Ebiseera ebimu tugenda ne tulowooza nti tuli mu mukwano n’omuntu, kumbe nga kuyagayaga kwa mibiri gyaffe nga twakalaba omuntu oyo. Akaseera wayitawo katono nga buli kyewali olaba okinoonya tokyakiraba…… Kino kitera kubeerawo ng’omuntu wamwagala bwagazi naye nga tewali mu mukwano naye.

Omukwano ogwa ddala, kuba kwegomba, kukiriza na kutegeera buli kimu ekifa ku muntu oyo era n’omwagalirayo nga bwaali, awatali kugezako kumukyuusa kukola byatasobola. Sigaanye osobola okukyuusa omuntu wo nakola byoyagala naye, asobola okulemwa okukyuusa enneyise ye, ate n’osigala ng’omwagala. Ekyo kyebayita okubeera mu mukwano n’omuntu.

Ng’oyagala okukakasa kyenjogera; gwe yagala muntu wo, mwewase, olinde kabugole aggweewo, ojja kukyezuulira nti ddala wali mu mukwano n’omuntu oyo, oba wali omwagala bwagazi.

Obeera oyagala okumanya buli kimu ekikwata ku muntu oyo.

Bwoba oyagala omuntu, obeera oyagala okumusemberera buli kadde.

  • Oyagala mutambule mu kubo nga mwekute.
  • Mubeere mu buliri nga mwenywezeza.
  • Mu butuufu obeera omunyumirwa mu kadde ako nga toyagala kumanya ku jenvudde we.

Okubeera mu mukwano n’omuntu, kissuka ku kyemuwulira nga muli mwembi.

  • Newankubadde nawe obeera toyagala kuta mukono gwe, naye okozesa buli kakisa kofuna okusobola okumumanya ennyo.
  • Obeera wegomba okuwulira ku byayita bye n’ekimufuula ekyo kyaali okuba ng’omwagala nnyo.
  • Ebirowoozo bye n’engeri jalaba ensi biba bikulu gyooli.
  • Obeera oyagala okumanya emizannyo egimunyumira, ennyimba zasinga okunyumirwa, ne filimu ezimukolera.
  • Buli lw’ofuna amawulire amalungi oba amabi, ye muntu gwoyagala okusooka okugagamba.

Obeera oyagala kubeera naye. Ye yekka.

Bwoba oyagala omuntu, obeera onyumirwa okufuna obubaka obuvva gyaali n’okubeera naye ne munyumirwa akaseera kenyini.

  • Newankubadde obeera onyumirwa okubeera naye, tokirinamu buzibu kumala biro nga tomuwuliza.
  • Olw’okuba nti talina nnyo ky’amakulu kyategeeza mu bulamu bwo nga wadde omwagala, onyumirwa akasirikiriro wakati wamwe.
  • Toyagala nnyo kumubeerako.
  • Toyagala nnyo kuyita wewandikomye.
  • Oyagala nnyo okumuwa eddembe okulowooza ku balala nga nawe bw’olowooza ku balala.

Naye, ng’oli mu mukwano n’omuntu, akubeera mu birowoozo buli kadde.

  • Wadde mwawukanye akusigala mu birowoozo nga tosobola kumala gafuna muntu mulala.
  • Oluusi oyagala akaseera ak’obwomu, naye era wesanga nga tosobola kwebeera kya kumusindikira bubaka.
  • Nga mubadde temubeera wamu, obeera mu kubala naku zisigaddeyo nate mulabagane kubanga ly’esuubi ly’obulamu bwo.
  • Wadde mumala ebiseera ebisinga obungi nga muli mwembi, naye era tekimala, era nga tofaayo oba akimanyi.
  • Ng’oli mu mukwano n’omuntu, osobola okuyimirira mu nkuyaanja y’abantu noyatula nti “gundi mwagala.”

Obeera wesunga biseera bya mumaaso nga muli mwembi.

Bwoba oyagala omuntu, onyumirwa akadde kemumala mwembi.

  • Onyumirwa kaseera ako kenyini nga mwagalana era nga toyagala kakome.
  • Toyagala kulowooza ku kusomoozebwa kwemuyinza okusisinkana ng’abagalana.

Ng’oli mu mukwano n’omuntu, onyumirwa akaseera kemumala mwembi, naye ate era otandika okutegeka ebiseera byomumaaso ng’ababiri.

  • Obeera mu kwesunga na kutebereza bulamu bwa mu maaso ng’oli n’omuntu oyo.
  • Okutandika okulowooza ku ngeri gyemuyinza okutambuzamu obulamu.
  • Nti kiriba kitya nga “nze mukyala gundi oba omwaami wa gundi.”
  • Ndiraba ntya nga tuzadde omwana; ng’amusitudde amuyonsa ku bbere.
  • Bintu bingi byobeera wesunga okukola nga muli naye.

Omukolera ebintu ebiraga nti oli wakubeera naye nga si bya kaseera buseera.

Bwoba oyagala omuntu, osobola okumwanjula mu mikwano gyo.

  • Onyumirwa okutambula naye ku mikolo nga bakuyise.
  • Osobola okumutimba ku facebook, era n’omuteekako obubaka obuwooma ennyo.

Naye, bwobeera mu mukwano n’omuntu, ojja kumutwala mu kyaalo ewamwe era omwanjuleyo ng’omuntu kwosibidde olukoba.

  • Buli mukolo ogunabeera ewamwe, tojja kumuleka mabega.
  • Ojja kufuba okulaba nti ab’ewamwe bamutegeera nga bw’omutegeera. Kubanga omukwano gwamwe si gwa kaseera buseera.
  • Ojja kukola kyonna ekisoboka okulaba nti ebintu bitambula bulungi wakati wamwe awatali kulemererwa.
  • Ojja kutondawo essanyu eritaliko bukwakulizo wakati wamwe.

Obeera mwetegefu okukolera awamu n’omuntu oyo musobole okuwangaala.

Wandiba ng’oyagala omuntu akuyimiridde mu maaso go essaawa eno. Omuntu nga bwomulabye bwomwagala awatali kulowooza ku ki kyeyali oba kyayinza okufuuka mu biseera byomumaaso.

Naye bwoba oli mu mukwano n’omuntu, ogenda kugezako okulaba ng’omusisinkana mu mbeera ze zonna.

  • Ojja kukula naye, mutobe mwembi, n’oluvvanyuma muwangule mwembi.
  • Ojja kumuwagira mu nteekateeka ze zonna zalina ate muziganyulwe babiri.
  • Tojja kumusuubira kusigala ng’alinga bwewamusanga okumala obulamu bwe bwonna.
  • Ojja kumuteekamu amaanyi okusobola okufuuka ekyo kyeyegomba oba okutuuka ku birubirirwa bye.

Obeera mwetegefu okuteeka amaanyi mu mukwano gwamwe gukule.

Osobola okutandika okwagala omuntu nga tomanyi nakumanya nti omwagala. Kijja kyokka awatali kukakibwa. Toteekeddwa na kukirowoozako.

Naye, okusigala mu mukwano ogwaddala kuba kusalawo kwo.

  • Mu mukwano omutuufu, oteekeddwa okusalawo nti ojja kubeererawo munno ng’ayita mu biseera ebizibu, newankubadde ng’okifunamu obuzibu.
  • Oteekeddwa okusalawo okusigala n’omuntu wo nga mufunye obutakaanya, newankubadde nga kyandikuberedde kyangu gwe okukwatamu ebibyo omuviire.
  • Oteekeddwa okufuba okulaba ng’omukwano gwamwe tegusatulukuka, kubanga okimanyi bulungi nti omuntu ono asukka ku ky’okubeera muganzi wo.
  • Mukwano gwo nnyo era ng’okimanyi nti toteekeddwa kumufiirwa.

Ofuba okukyuusa empisa zo embi obeere mulungi eri omuntu wo.

Bwoba oyagala omuntu, obeera okimanyi nti naye akawagala nnyo.

  • Tewefiirayo ku mpisa zo embi_ anti yanjagala nga bwendi.
  • Okulimba tokulinamu buzibu nga mutandika, ate oluvvanyuma nojjayo empisa zo embi kubanga gwe osuubira takyalina kyayinza kukolawo.

Naye, bwobeera mu mukwano n’omuntu, oteekamu amaanyi okulaba nti obeera omuntu ow’omulembe gyaali oba munno gwayayaanira.

  • Oyagala nnyo munno afune ekitundutundu ekisinga obulungi ku bulamu bwo.
  • Tonyumirwa bya kumuzanyira ku bwongo nga wefuula kyotali.
  • Nebwekiba nga kikwetagisa kufuna buyambi ku ngeri gyoyinza okuleka emize gyo, okikola awatali kukakibwa, anti ng’oyagala kubeera muntu mutuufu eri munno.
  • Ate era naye abeera ajja kukola atyo ku mbeera ze zalaba nti tezibasobozesa`kubeera mu mukwano munyuvvu. Okubeera mu mukwano n’omuntu, kikutuma bingi naye nga byonna birungi eri omukwano gwamwe.

Obeera mukakafu nti buli kimu kibeera bulungi nga muli mwembi.

Bwoba oyagala omuntu, osobola okubeera mu kweralikirira nti oba alowooza ki jendi!

  • Obeera mu mbeera ya kunoonya biyinza kumusanyusa buli ssaawa.

Naye bwobeera mu mukwano n’omuntu, obeera omwesiga nti kyowulira naye kyawulira.

  • Tekikwetaagisa kuwulira buwojjolo okusobola okumanya nti omwagala.
  • Togenda kubeera mu kutya nti essaawa yonna baalindekawo.
  • Kyemulina wakati wamwe kizitowa n’okusinga erinnya lyonna lyewandikiwadde.

Bwobeera n’omuntu ow’enjawulo mu mukwano, obwesigwa bukula buli lunaku olukya.

Omukwano gwamwe tegubeeramu kubuusabuusa, anti nga mukimanyi nti gwabuwangaazi. Omukwano gwamwe guba gwa luberera. Mugumu okusinga n’olwazi. Tewali kiyinza ku gunyeenya.

Enjawulo esinga okuba ey’amaanyi wakati w’okwagala omuntu n’okubeera mu mukwano n’omuntu, gy’emirembe jemuwulira nga muli mwembi. Kyemuwulira mwembi tekisobola kuvvaawo wadde ng’ebiseera bitambudde nga muli babiri. Mukula mwembi mu mukwano. Tekirina buzibu omu okugamba munne nti “gwe aliba Namwandu wange oba Ssemwandu wange.” Nebwemusisinkana obuzibu wakati mu lugendo lw’omukwano gwamwe, era mu bugonjoola babiri. Buli kimu mukolera wamu nga tiimu, abagalana, so si omulabe n’omulabe.

Digiqole ad

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *