• July 4, 2025

Ddala abagalana bateekeddwa okuwanyisiganya enamba ez’ekyaama eziggulawo essimu (password)?

 Ddala abagalana bateekeddwa okuwanyisiganya enamba ez’ekyaama eziggulawo essimu (password)?

Omu ku basomi baffe yampereza obubaka ku email ng’asaba kuyambibwa. Wamanga bwatyo bweyantegeezeza ku buzibu bwatubiddemu.

“Nkulamusiza nnyo Admin, nga bwowandiika ku nsonga z’omukwano, nsaba abasomi bampe ku magezi. Tubadde bulungi watu nze ne mukwano gwange (mukyala), ng’omukwano gwaffe gutusaza mu kabu. Mu butuufu tubadde n’essanyu lingi mu mukwano gwaffe nga tewali buzibu butulema kugonjoola ng’abagalana.

Okutuusa jjo lya balamu wano lwetwafunye obuttakanya obukyatulemye okugonjoola. Mukwano gwange ono yantadde ku bunkenke bweyansabye mubulire enamba zange ez’ekyaama eziggulawo essimu yange (password). Ekintu kino sikiriziganya nakyo, naye wenjogerera bino omukwano gwafudde. Mu nju tuyisinganya nga bakessi, tukoma ku kya kwebuuza ku makya n’olweggulo.

Eggulo mukwano gwange yannewunyisiza bweyansabye nagamba nti lwaki tetukita okusinga okubeera mu mbeera bweti?

Admin, nze siri mwetegefu kuwa muntu yenna password ya ssimu yange newankubadde ye yampa eyiye nga sigimusabye wadde okumuwaliriza. Yesalirawo yekka nagimpa, naye nze sagala kumuwa yange. Omukyala mwagala nnyo naye ekya password sagala kugimuwa. Wano wensabira amagezi ku ki kyenteekeddwa okukola kubanga ne mukwano gwange ono sagala kumufiirwa.”

Ekibuuzo:

Ddala abagalana balina okugabana enamba ez’ekyaama eziggulawo essimu (password), oba buli omu alina kukuuma yiye?

Kozesa akabangirizi akali wansi (comment section) tuyambe munaffe ono okusobola okuvvunuka obuzibu bwatubiddemu.

Webale!

Digiqole ad

Related post

2 Comments

  • Amazima gasigala Gali nti bwe muba nga mwagalana
    Nkakasa biba bitono byemulina okwekweka. Nsubira nti ekikyo kiba kyange ko ne kyange nekiba ekikyo.
    Bwoba tolina kyokweka muno ddala lwaki okukulira passiwadi ddala?!

    • Oli mutuufu nnyo sijja kuwakana. Naye tetwerabira nti buli muntu ateekeddwa okukola ekyo ekimuwa eddembe, lwaki omukaka okukuwa password ye nga tayagala? Nze nandirowoozeza nti kya buntu buli omu okusigaza ebyama bye singa abeera ayagala.
      Omuganda agamba nti bwolondoola enkoko byeridde, ____ hehe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *