• July 4, 2025

Osobola okuzuula omukwano omutuufu mu nsi embi bweti?

 Osobola okuzuula omukwano omutuufu mu nsi embi bweti?

Omukyala ng’asaba.

Wano wansi w’enjuba tekuli kintu kitakuza bantu mitwe ng’omukwano. Buli kintu ekiri ku nsi kuno kirina entandikwa n’enkomerero yakyo, era abantu babaddewo emabega wonna nga basobola okuvvunula okusomoozebwa omuntu kwasisinkana mu bulamu, naye omukwano ky’ekintu ekitalina kibalo oba kipimo nti kikino kituufu.

Abakola sayansi buli omu anyonyola bubwe ekigambo “omukwano.” Abakola okubala nabo tebasobola kutubuulira nti tukozesa kabonero ka kugatta oba kwawula nga tunoonya omukwano omutuufu. Abawandiisi abatutumufu bawandiise naye era tebanaba kutuuka ku kinyuzi ekijjayo obulungi amakulu g’ekigambo omukwano. Buli omu akoonako bukoonyi naleka awo.

Omukwano omutuufu guli wala wabuli muntu naye tusigala tulina esuubi ery’okugusisinkana ku lussozi olulala. Ffenna tulina esuubi erizuula omukwano omutuufu wadde ng’abamu batuuka okunnyuka obulamu bw’ensi nga tebagufunye oba okugulengera nti guguli wali.

Ekintu ekisinga okwenyamiza mu mukwano, kwekuba nga tetulina maanyi gakuuma mukwano mutuufu waddde nga tumaze okuguzuula. Olaba nga bwokwata omusenyu mu ngalo nogunyweza obutakuyiikako, n’omukwano bwegutyo bweguli. Buli lwogezaako okunyweeza oyo gwoyita omutuufu, nga naye ayongera kukuyita mu myaganya gyengalo.

Kyandibadde kisufu nnyo singa omukwano kyaali nga kusogola mwenge nonywa; kutindika mabidde, kufuna ssubi nga gengedde, nogakamula ofune omubisi , ate n’oluvvanyuma gufuuke omwenge. Naye omukwano si bwe guli; nebwobeera n’omuntu nti wuno gwenjagala, akulema okujjamu omukwano gwoyayaanira mu mutima.

Nga bwenkugambye nti waliwo esuubi omuntu lyasigaza nti luliba olwo nensisinkana omutuufu mu maaso gange, waliwo ebintu byoteekeddwa okukuumira mu bwongo, naddala ng’okiririza mu Bbaibbuli. Omutuufu ojja kumusanga singa okola n’okugoberera ebintu bino wammanga.

1.Bwofuna omuntu gwosuubira okuba omutuufu, kikwetaagisa okumweyabiza mu buli kimu.

Tukozesa ekigambo omukwano okunyonyola ebintu ebiwerako. Twagala emmere. Twagala ennyimba. Twagala okusaaga era twagala okufuna akaseera akasufu. Okukozesa ekigambo kwagala nga twogera ku bintu ng’ebyo, kifuula ekigambo ekyo ng’ekyangu ennyo. Kyangu kuba tekubeerako bukwakulizo bwonna. Essowaani y’emmere nga bagikuwadde tesobola kukugaana nti tojja kundya. Oluyimba obuyimba okuvva ew’omuyimbi gwosinga okwagala, terusobola kukuleka kuwulira ng’atayagalibwa. Naye bwetusalawo okugabana obulamu bwaffe n’abantu abalala, kitegeeza nti tusazewo okwewaayo bulambirira eri abantu abo. Eky’omukisa omubi, nti gyetukoma okwewaayo obulambirira gyetukoma okulumizibwa oluvvanyuma lwa byonna.

Ffenna tumanyi butya bwekiwulikika; ng’ogaaniddwa, ng’oswaaziddwa, ng’olekeddwaawo. Okubikula omutima gwo eri omuntu omulala nakugaana, kyekimu ku bintu ebisinga okuluma mu nsi eno. Kiruma okusinga n’obulumi bwetufuna ku mibiri kubanga kiyuuza entegeera zaffe, esuubi lyaffe, n’ebirooto byaffe. Omukwano gutulinnyisa entiko y’olussozi, naye bwebigaana, negutuzza nga kaguddeyo paka mu kiwonvu ekisinga obunnene. Tubeera tetusobola kweyamba okuleka okuwulira nga tetukyalina mugaso ku nsi. Obulumi bubeera bw’amaanyi nnyo.

2. Okuzuula omukwano omutuufu kisobola okubeera ekizibu.

Nga nkozesa ekyawandiikibwa ekiri mu baibbuli okunyonyola ensonga eno, waliwo olugero olukwata ku mukyala Leah eyakizuula nti okufuna omukwano omutuufu ssi kyangu. Olugero luno luli mu kitabo ekikadde. Leah yali muwala wa musajja omugagga Laban. Leah yalina muto we ayitibwa Rachel, ono yali agambibwa okubeera omuwala asinga obulungi mu kitundu mwebaali nekumiriraano. So nga ate Leah yayogerwangako ng’omuwala asinga obunafu mu maaso. Simanyi kituufu kyebaali bategeeza okugamba nti “Leah yali munafu mu maaso.” Naye kyangu okutebereza. Leah yali mubi mu bya ddala.

Olunaku lumu, Rachel yali alunda ndiga za kitaawe omuvvubuka ayitibwa Yakobo najja ku luzzi kweyali. Yakobo yali anoonya mukyala wa kuwasa, Era Yakobo yakizuula mangu nti omuwala Rachel yali mubalagavvu nnyo mu bulungi. Yayanguwa najjawo ejjinja eryaali ku luzzi era endiga nezifuna amazzi. Rachel ng’amaze okukitegeera nti omuvvubuka ono yali mujjwa wa kitaawe, yadduka mangu abulire Laban amawulire. Yakobo yali amaze okugwa mu mukwano n’omuwala omuto Rachel; kiyite omukwano ogubalukirawo nga wakalaba omuntu. Yakobo yabeera ewa Laban, era bweyabuuzibwa ku ky’omusaala ogunamuweebwa, yasaba bamukirize awase Rachel ng’omusaala gwe. Laban yakiriza okusaba kwa Yakobo, namugamba nti “ojja kunkolera okumala emyaka musaanvu nga sikusasula, oluvvanyuma nkuwe muwala wange Rachel nga bwonsabye.”

Ekifuula omukwano okuba omukalubu, n’oluusi okulumya, kwekwewaayo omuntu kwakola eri omulala.

Kiwulikika ng’olugero lw’omukwano mu matu go? Iyeee, byaddala lugero olukwasa enaku mu by’omukwano! Yakobo yali mu mukwano n’omuwala era teyesikamu kukola ekyo Laban kyeyamusaba. Yakolera emyaka musaanvu nga tasasulwa naye ng’esuubi limuli ku kirabo ekimulinze oluvvanyuma. Yali akimayi bulungi nti ku nkomerero ya byonna, agenda kuwasa omuwala ow’ebirooto bye, Rachel. Baibbuli erambika bulungi olugero luno ng’engero endala ezirambikibwa abawandiisi abalungi ab’ebiseera bino. “Yakobo yakolera emyaka musaanvu ku lwa Rachel, era teyagirabamu muzibu bwonna nga wadde gyaali mingi nnyo.

Oluvvanyuma lw’emyaka musaanvu, embaga ey’amatendo yategekebwa. Embaga erabika yali ya maanyi nnyo, guba mulembe guno, yandibadde ng’ezo zetulaba ku zi telefayina. Obudde bwebwaziba, Yakobo n’omugole nga yebikiridde, bayingira akasisira kaabwe.

Enkeera w’omukolo Yakobo yazukuka, amazima mu nsisira yali yasuzemu ne Leah, omuwala gwatayagalangako. Laban yakyuusa abawala ku kiro ky’embaga nabuzabuza Yakobo okusobola okuwasa muwala we Leah. Lwaki Laban yakikola? Yali ayagala Yakobo addemu amukolere okumala emyaka emirala musaanvu, asobole okumuwa Rachel gweyali ayagala. Olw’okuba Yakobo yali mu mukwano n’omuwala Rachel, yakiriza okuddamu okukola okumala emyaka emirala musanvu.

Nyumirwa ekikwola kya Yakobo ku lw’omukwano! Yali mweteefuteefu okukolera emyaka egisoba mu kumi okusobola okufuna omuwala gwayagala; olubirizi lwe. Nga abawandiisi abasinga obungi, ffenna tunoonya omukwano ng’ogwo. Twagala okumanya omuntu asobola okwewaayo ku lw’omukwano gwaffe. Ekika ky’omukwano ng’ogwo, buli omu ku nsi akiyaayanira mu mutima. Naye abantu abamu tulinga Leah, nga tetuli guzuula mu bantu abo betwesibako.

Ebbanga lyonna emabega Leah yali awo bwatyo nga talina suubi lya mukwano. Ebintu byayongera okukaluba ku luuyi lwa Leah bweyafumbirwa omusajja atamwagala, omusajja eyabuzabuzibwa ku lw’okweyagaliza kwa Labani, Taata we. Leah yali tayagalibwa kitaawe, n’omusajja eyamuwasa nga tamwagala. Yakozesebwa bukozesebwa, ate bweyewaayo, era yagaanibwa ng’omukyala.

Ffenna twagala okwewaayo tubikule emitima gyaffe mu bwesimbu nga tusuubira okwagalibwa, naye bwebigaana nekitagenda nga bwetusuubira, olwo nga tufuna obulumi obutaliko ddagala.

Ki ekyaddako? Kino kituyamba okutegeera ebintu ebyezingiridde ku kwagalibwa n’okugaanibwa. Mu mulembe gwa Leah, abakazi balinga bafaayo ku kuzimba amaka, naddala nga bazaala abaana abalenzi nti basobole okwetika ekitiibwa n’erinnya ly’amaka. Omusajja yenna yasanyukanga nnyo nga bamuzaalidde omwana omulenzi asooka mu lujja lwe. Oluvvanyuma nga Yakobo amaze okuwasa, yali ayagala omwana omulenzi era Leah yakiraba ng’omukisa! Nti singa azaala omwana wa Yakobo asooka nga mulenzi, ajja kwagalibwa era asiimibwe. Leah ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo bweyategeera nti ali lubuto, era nga yasanyuka nnyo bweyazaala omwana omulenzi asooka, Raubeni.

Leah yalowooza nti katonda yamuwadde omukisa gw’okuzaala omwana omulenzi, era nga kijja kusanyusa bbaawe, Yakobo amwagale nnyo. Naye tewali kyakyuuka mu kwagala kwa Yakobo. Leah yaddamu nazaala omwana owokubiri nga naye mulenzi, namutuuma erinnya Simeo.

Nera yalowooza nti katonda alabye obutayagalibwa bwe, nga ku mulundi guno ajja kwagalibwa. Era tewali kyakyuuka. Leah yazaala omwana omulala ow’obulenzi, namutuuma erinnya Levi. Ne ku mulundi guno, Leah yali asuubira nti anayagalibwa, naye munange byonna tebyakola.

Olugero lwa Leah ne Yakobo lutusomesa nti omukwano omutuufu ssi mwangu gwakufuna. Nti era omukwano omutuufu gugendera ddala wala okusinga bino eby’okwegatta mu buliri n’okuzaala abaana, era ng’abantu bangi babeera mu bufumbo katonda mwabaweera abaana nga naye tebalifuna mukwano gwebayayaanira mu maka gaabwe. Newankubadde osobola okufuna buli kyewetaaga mu maka, gamba ng’ebintu byewetaaga mu bulamu obwa bulijjo, waliwo ekintu eky’omuwendo kyetuteekeddwa okunoonya mu bantu abo betusalawo okwagala.

3. Nga bwoyayaanira okufuna omuntu gwoyagala, era bwoyayaanira okufuna oyo akwagala.

Obulamu bwa Leah bwaliwo ku suubi nti olunaku lumu ali yagalibwa. Yagezaako nnyo nga bwasobola okutuuka omutima gwa bbaawe naye nebigaana. Okulumwa kwe n’okusigala ng’ayayaanira okwagalibwa, kitujjirayo amazima ku ngeri naffe gyetuyayaana omukwano omutuufu. Tufuna obulumi bwebumu ng’obwa Leah mu kugezaako okuzuula omukwano omutuufu.

Bakitunzi b’ebintu batusibako endowooza ezigamba nti singa “tubeera tulabika bulungi, nga tuli batonotono ne bu figa obusaamusaamu, nga twambala engoye eziri ku mulembe,” mbu twandifunye abantu abatuufu abatulabawo nga batwagala. Nedda munange. Omukwano tegugoberera ebyo, newankubadde nga byongerezaako. Wadde wasoma otya, ng’okola mu kitongole ekisinga obumanyifu mu nsi yonna, ng’oyambala nonyuma, amazima omuntu atalina kyaali asobola okukutagaza mu mukwano nga takulabawo. Omukwano ssi mwangu kumala gatebereza nti bwenkola kino na kiri, ngenda kugufuna.

Amazima gali nti, omukwano omutuufu tegwesigamye ku nsonga za buliri wadde ebiwojjolo byowulira ng’oliraanye omuntu oyo. Gwesigamye ku mazima na muwendo. Era gwesigamye ku kwewaayo n’okukiriza kwolina mu muntu oyo.

Gyetukomya okulemerako ku bantu betwagala, gyetukoma okulumwa nga tuyayaanira ebitalibeera. Tulemerako nnyo kw’abo betwagala, ate netumaliriza nga twejjusa. Tumaliriza ng’omukwano omutuufu tugulengera mu filimu, obutabo n’engero zetuwulira ouwulizi mu byayita. Okimanyi nti abantu abamu mu kunoonya omukwano ogwa ddala, balinga abayita mu ddungu Sahara nga banoonya awali otuuzzi otunyweebwa? Akaseera webalowooleza nti bagufunye, ate webakitegeerera nti bebaliko nabo banoonya bantu balala, abatalinga bbo!

Olugero lwa Leah lutuyamba okukitegeera nti kyetuyita omukwano n’okugunoonya, kubeera kuyagayaga nga twagala okukakasa nti twagalibwa mu ngeri esaana. Tubeera twagala okukakasa nti obulamu bwaffe bulina kyebutegeeza eri gwetwagala. Tuyagayaga nga twagala batulabewo, ssi ng’omubiri obubiri, naye omwoyo; nga twagalibwa kuvva munda. Twagala okwewaayo nga mukwewaayo kwaffe twagala batukirizze nga bwetuli. Tubeera twagala batwagale awatali kakwakulizo.

Wano wetusangira okusomoozebwa okw’amaanyi nga tunoonya omukwano omutuufu. Nnina akatabo akamu kenasomako ng’omuwandiisi agamba nti “Okwagalibwa notakimanya kinyuma, naye oluusi kireeta obulumi ng’okitegedde nti gundi yali akwagala naye natakugamba. Omuntu okukimanya nti omwagala naye natasobola kukwagala nga bw’omwagala, abasinga obungi kyetutera okutya!” Buli muntu ku nsi ayagala okubikula omutima gwe mu bwesimbu eri oyo gwayagala, ng’asuubira nti anayagalibwa awatali kugaanibwa.

Ffenna tumanyi obulumi obuvva mu kwaatula nebatakulabawo, era y’ensonga lwaki abamu bakyekuumira nga kyaama ku mutima okusobola okwewala obulumi obuyinza okuddirira nga bagaaniddwa. Okukankana n’okutya okwogera amazima kw’ekyo kyetuwulira, twekuumira mu mbeera ya “oba oli awo!” Naye nga byonna bya bwerere. Wadde tubeera tumanyi obulumi obuyinza okufubutuka mu kwewaayo nga twogera kyetuwulira, era abamu tumaliriza twogedde. Ye tuba tunakola ki? Bweguba muzannyo, tuba tulina okugukuuma nga gutambula paka ku nkomerero yagwo. Bwetubikula emitima gyaffe, tuba twewaddeyo okusisinkana byonna ebiyinza okuvvaamu nga bibi; okuyitibwa abasiru, okugaanibwa, era netusuulibwa mu kasero.

Okubuulira amazima, omukwano omutuufu tegubangako mwangu gwakufuna. Era omukwano omutuufu tegwesigamye ku biwojjolo bimeka byowulira mu lubuto ku lw’omuntu omu, oba byemukolera mu buliri. Omukwano omutuufu gwesigamye ku kwewaayo nakukiriza. Omukwano omutuufu kwekubeera ekyo kyooli ng’oli n’omuntu oyo, awamu n’okuzuula emirembe mu mutima gwo.

4. Omukwano omutuufu muzibu okufuna olw’ebyo byetubeera tweyagaliza ng’abantu ssekinnomu.

Kati nno kankubuulire ekyaama nga mu butuufu nawe obadde okimanyi wadde nga toyagala kukikiriza. Omukwano omutuufu, ogwo gwomaze ebbanga ng’onoonya mu bulamu, muzibu okufuna mu muntu gwewegomba kubanga buli omu ku ffenna yeyagaliza nnyo ekissusse. Emitima gyaffe tugikuumidde mu mbeera y’okweyagaliza n’okwekuuma ennyo.

Tuli mu nsi ng’omuntu abeera mu mukwano n’omuntu olw’okuba alina kyamufunamu. Omuntu yesiba ku munne kubanga amusuubira okufuuka ow’amaanyi mu biseera byomumaaso. Oli nakubuulira nga bwakwagala ennyo, ng’eno alinda alabe oba bwomala okusoma ogenda kufuna omulimu omusavva! Omuntu abeera mu bufumbo ng’alina kyabufunamu; ziyinza okubeera ssente, erinnya oba ekitiibwa. Obuwanguzi mu mukwano tubupimira kw’ebyo byetufunyemu, mu kifo ky’okunoonya omukwano omutuufu mu muntu gwetubeera tufunye.

Bwosoma ebyawandiikibwa mu Bbaibbuli, kiragibwa mu lwatu nti emitima gyaffe gyayonooneka olw’ekibi ky’okweyagaliza, ate nga sibwegwaali ng’omuntu atondebwa mu lubereberye. Adam ne Kaawa bebasooka okuloza ku mukwano ogwa ddala, nga gwaali gugendera ddala ebuziba era nga tosobola kugugerageranya n’ekyetuyita omukwano leero. Omukwano gwa Adam ne Kaawa gwaali guzimbiddwa bulungi nga katonda ye nkulungiriro yagwo, n’okweyagalira mu bitonde ebirala byonna ebyaali mu nnimiro. Tewaliwo bya kweyagaliza ng’omuntu ssekinnoomu. Obulamu bwaabwe bwaali buwuundiddwa mu ngeri ya buli omu okufa ku munne, okufaayo ku bibetoolodde, n’okuggulumiza omutonzi olw’omukwano gwebalina.

Adam ne Kaawa, tewaliwo yali alina kutya nti bayinza okumukyaawa, okumugaana, oba omukwano gwaabwe obutakola.

Tosobola kuzuula mukwano mutuufu mu nsi eno nga tolina bulagirizi bwa katonda.

Bwoba osoma ebyawandiikibwa mu Bbaibbuli, lowooza ku kibi ekyasooka n’engeri gyekyajjamu. Adam ne Kaawa bagaanibwa okulya ku kibala mu nnimiro ya Eden. Kaawa bweyali ayitayita mu nnimiro, omulyolyomi namukema nti “Kaawa, bwolya ku kibala kino ogenda kubeera nga katonda.” Kyewunyisa nti omulyolyomi teyakema Kaawa nakumulimba nti ekibala kiwooma nnyo. Ekikemo tekirina wekyaali kikwataganira nandabika ya kibala oba empooma yakyo. Wabula, Omulyolyomi yayongeramu ku kakoddyo okusobola okukwasa mu mutego gwe. Omulyolyomi yaletera Kaawa okwerowoozaako nga yebuuza nti “ki ekiri mu kibaala ku lwange?”

Akaseera k’okwerowoozaako kajja n’obuzibu obw’amaanyi. Kaawa yalya ekibala era natwalirako Adamu, bbaawe. Ekikolwa ky’obujjeemu, katonda yabaleetera okuwulira nga babadde bwerere okumala ebbanga lyebaali bamaze, nga babadde banyumirwa obulamu nabyonna ebyaali bibetoolodde, nga tebalinamu kirowoozo kyakwetunulirako ku bitundu bya wansi. Omulundi gwaabwe ogwasooka okuwulira ensonnyi, era nebekolera engoye okusobola okwebikka nga bawulira obuswaavvu.

Katonda yayogera nabo ku kikolwa kyaabwe eky’obujjemu kubanga yali akimanyi nti enkolagana yaabwe ennungi gyebalina, yali esaanyeewo olw’okweyagaliza. Kaawa yatandika okunnenya omulyolyomi olw’okumuliisa ekibala. Adam yannenya Kaawa okumuleetera ekibala, era nagenda mu maaso okunnenya omutonzi eyamuleetera Kaawa. Bonna baali tebagala kwetika buvvunanyizibwa olw’okweyagaliza. N’okutuusa olwaleero, buno bwe bulamu mwetutambulira!

Ensonga lwaki omuntu atuuka okufa ng’anoonya omukwano omutuufu, ndowooza ogirabye. Kya butonde mu ffe okunoonya oyo asobola okutwagala naffe netumwagala nga bwekigwaanidde. Emboozi eno yonna gyempandiise wano wewali ekinyusi ky’omulamwa. Tolisobola kufuna mukwano gwoyayaanira ku lulwo ng’omuntu. Ensi yonna yabutikirwa ekibi kya Adam ne Kaawa. Amawulire amalungi gali nti, waliwo omuntu omu nga ky’ekiddibwaamu ku mukwano omutuufu gw’onoonya mu nsi eno, era ng’osobola okubeera mu mukwano naye!

5. Waliwo ensulo emu ey’omukwano.

Tuddeyo ku lugero lwa Leah katono nnyo. Leah yesisinkana mu mbeera y’okulindirira omukwano gwa bbaawe naye nga tegutuuka. Yalina esuubi nti lumu Yakobo alitandika okumwagala era namusiima mu mukwano. Oluvvanyuma lw’abaana ab’obulenzi basatu, era Leah teyayagalwa.

Leah yaddamu nafuna olubuto nazaala omwana we owokuna namutuuma Yuda era nalangirira “Kati ngenda kutendereza katonda.” Erinnya Yuda nga litegeeza ekintu eky’enjawulo. Litegeeza okutendereza omutonzi oba okumusiima. Naye, ddala ddala Leah yali agenda kusiimira ki katonda, ng’ebibala byeyali ayagala okulaba mu mwami we byaali bigaanye.

Wadde Leah yazaala abaana bana, Yakobo talina lunaku n’olumu lweyakomawo ewaka n’ebirabo oba ebimuli ng’amwetondera olw’ebyo byeyali amuyisizaamu. Leah yali tayagalibwa naye yali mumativvu nti katonda amwagala era nga yalina okumusiima. Leah ng’amaze okuzaala omwana we Yuda, yakizuula nti bbaawe talimwagala nebwalikola ki, naye ate nga katonda yali mulungi mu bulamu bwe. Katonda yaliwo ng’alaba amaziga, obulumi, ennaku, okunyolwa, n’okugaanibwa Leah byeyayitangamu. Katonda yawa Leah emikisa gy’okuzaala abaana ab’obulenzi era ng’amwagala awatali kakwakulizo konna!

Nawe ng’oli eyo, oteekeddwa okuzuula eky’enjawulo mu mboozi yange. Wandiba wagaanibwa era ng’owulira ng’atalina mugaso, naye katonda akufaako era afaayo ku buli kimu kyoyitamu. Wandibadde tosoma bino byonna singa kyenjogerako ssi kituufu mu bamu bwo. Mu kaseera kano, katonda agezaako okulaga nti waliwo omukwano ogusinga ogwo gw’onoonya. Nti katonda ye kwagala, era ng’akwagala awatali kakwakulizo.

Leah teyasobola kukiraba mu kaseera ako, naye Leah, ne mutabani we Yuda, bebavvaamu omusajja ayitibwa Yesu. Ono ye Yesu ayogerwako abakrisitaayo bonna, Bbaibbuli yonna gweyali eyogerako ng’omwana wa katonda. Luno olugero lwemala bwemazi ku nkomerero kubanga tewali muntu agaba mukwano n’esuubi okusinga Yesu Kristu. Yesu agaba omukwano Leah gweyali akaabira, tolaba nga kya magero nnyo!?

Obadde okimanyi nti ne yesu amanyi obulumi bw’okugaaniwa omuntu gwoyagala? Mikwano gye bamugaana, ab’enganda ze bamugaana, nga ne ku nkomerero ya byonna, ensi yamugalulira ennyondo wadde nga yabalaga omukwano gwonna gweyalina.

Byonna byeyakola byamulabisa ng’omunafu, omumenyi w’amateeka era nebamusalira ogw’okufa. Bamukomerera era nafa, naye katonda ye teyamugaana kubanga singa kyaali kityo, teyandizuukidde!

Katonda yawa Leah okwagala wadde nga yali yefaako yekka okufuna okwagala okuvva ewa bbaawe. Nawe bwegutyo bweguli nti katonda takulinda kumuddukira. Asalawo okukolera wadde ng’okyabulidde mu kibi ky’okweyagaliza. Katonda yettika ebibi byaffe byonna nabittika omwana we omu yekka, Yesu. Omanyi lwaki yakikola? Kubanga yali atwagala nnyo.

Okuyagayaga mu mitima gyaffe nga tunoonya omukwano ogwa ddala kwekuba nga twagala abantu betwagala batumanye era batukkirizze. Bwowulira olunyiriri “Yesu akwagala,” eno ssi njogera y’abakristaayo kyokka, naye gemazima agakwata ku mukwano omutuufu. Yesu akumanyi n’okusinga bwewemanyi; obulungi bwo, n’obubi bwo. Amanyi obunafu bwo, ebyaama byo, obulumi bwo, ebibi byo, nabuli ekikuli ku mutima. Akumanyi kubanga yettika ebibi byo, era nasasula omutango gwewandisasudde olw’ebibi byo, era nga kino yakikola nga tonaba nakuwuliriza ky’akugamba.

Bino byonna bitegeeza ki? Omukwano gwa Yesu ssi ky’ekintu kyewali ogwaanira, naye wali okugukuwa ku bwerere awatali bukwakulizo. Ayagala nnyo okutambula nawe akuwe omukwano omutuufu, oba oli awo akuyambeko okufuna omuntu omutuufu gwoyayaanira.

Digiqole ad

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *