Ng’ojjeko endwadde, buzibu ki obulala obuli mu Kaddanyuma?
Akaddanyuma kanyumanga biro biri, nga mu nsi mulimu eddembe! Aka luno alikanganga, mu maaso ndabayo entaana ……
Herman Basudde.
Bwowulira ebigambo ebiri mu kayimba ka Basudde (akaddanyuma) tolema kutegeera mitawana gyaali gifundekedde mu kutawulula ebigere nti odde emabega. Luyimba lwa mabega ko ng’akawuka kakyegirisiza nnyo mu bantu, ate nga kaluma awatali ddagala. Jjukira nti mu biseera ebyo, ebyuuma ebikebera byaali bitono ddala, ng’omuntu azibuwalirwa okutereka omunyago gwe okutuusa lwebalyekebeza. Y’ensonga lwaki sirimu yabaluma nnyo mu ngeri yamuteego.
Olumu twawukana n’abantu betwagala olw’ensonga zetulaba ng’enene, ate oluvvanyuma netukizuula nga zaali nafu nnyo okutwawukanya. Era emirundi egisinga obungi, abantu abaddira bebayawukana nabo batera okubeera n’ebirowoozo nga bino wamanga;
- Nga nali musiru okuleka omukyala / omwami oyo okugenda!
- Watya nga y’emuntu mukama gweyali antegekedde!?
- Kirabike bwaali buto, kuba amazima tewaliwo nsonga y’amaanyi yansuuza mwana oyo!
- Nebwenafun a abalala, sigenda kufuna amwenkana.
- Byenali ndabanga ebizibu byaali byangu singa nali netegereza!
- Nsobola okutereza mw’ebyo ebyamunyiiza. N’ebintuntu ebirala ebifaananako bityo.
Kasita otandika okufuna endowooza ng’ezo wagulu, kiriza oba gaana nti emikisa giba mingi okuddira omuntu wo, naddala singa naye abeera alina gyaali nga tebitambula bulungi mu bantu baze asisinkana.
Ekibuuzo:
Abaffe, omuntu ayagala okuddira eyali omuntu we asuubire kusomooza ki mu mukwano gwayagala okuzukusa??
Webale nnyo ekirowoozo kyo!
4 Comments
Nze nga Nze omu, bino wamanga byebimu ku byensuubira omuntu oyo byajja okusanga.
1. Wandisanga nga munno yalwala
2.tebatera kuddamu kwewa kitiibwa nga bwegwali mu kusooka
2.Buli omu aba teyeguya munne, mu ddala oyo gwebaba basaba okuddinggana
Tugeze bombi balamu era bombi bagala okuddingana, buteguya na buteewa kitiiwa byebiyinza okuba obuzibu?
Kisinziira
Ensonga ezabaviirako okwawukana bweziba nga tezalimu ggumba, Musobola okuddingana oluusi twawukana olwamalala, obuteeguya, obutalowooza nga tetunasalawo, obutamanya, ko n’obuto
Kale nno bwekiba nga ensonga ezo waggulu z’ezimu ku zabaviirako okwawukana, mubyogerako nga mwe ababiri memubitereeza
Wabula ensonga bweziba zaali mpanvu omuli obwenzi nebilalaawo siwagira kuddingana na muntu Oyo, ssekawuka Kali kakulumye….. Bwokalaba okadduka
Ongeredde olugero olwo ate nenyumirwa “ssekawuka kaali kakulumye, …..” Abantu bawukana mu ngeri y’olusaagiriro ate nebejjusa nga bawoza singa namanya!