Omuwuulu ku Valentine!
Valentine lunaku lw’abagalana. Wakiri ekyo kyetwesibako awatali kugenda buziba nga tunoonyereza ensibuko y’olunaku luno. Valentine ebeerawo ng’enaku z’omwezi kumi na nnya mu mwezi ogwokubiri buli mwaka (14/02/ buli mwaka).
Valentine buli omu agitegeera mu ngeri yiye, era nagikozesa okulaga okwagala kwe eri abo bafaako ennyo mu bulamu bwe, gamba ng’abazadde, abaana, emikwano, bakola nabo, naye ekituufu kiri nti olunaku luno lusinga kwekubira mu bagalana ababiri (omwami n’omukyala.) wakiri ekyo ensi kyetwala!
Kyensinga okumanya ku lunaku luno nga lunatera okutuuka, abantu bangi nnyo bapaala nga bakwata eno n’eri. Abawala lwebatandika okweyisa mu ngeri ennungi eri abalenzi baabwe batere babagulireyo ku birabo. Oluusi nosanga ng’abalenzi baddidde abaali abaninkini baabwe olw’okuba babeera tebanazzaawo bantu batuufu.
Enaku enkulu nyingi ezibeerawo buli mwaka gamba nga Ssekukkulu, Paska, olusooka mwaka, nendala nnyingi, naye valentine, lwe lunaku omuwuulu ow’omwooyo omutono lwatunula ebikalu. Era nga bwengambye nti ow’omwoyo omutono, sisuubira nti olunaku luno lweluteekeddwa okujjukiza omuntu nti muwuulu.
Mikwano gyaffe abawuulu bangi batandika okweralikirira ng’omwezi gwokubiri gwakatandika, oli neyerayirira okufa n’obutanyagwa nti wakiri okuyoola yenna gw’asaanze naye nga tagenda kubeera bwoomu ku Valentine!!
Abantu bangi bakola ensobi ez’amaanyi ku lunaku luno. Bwekituuka ku baddigize abalyi ba sente oluusi nga n’omwenge anywaamu gujjabagira, anti mu biddongo mwebabeera oli afuna muntu gwasaanze obusaanzi ng’atwala ewaka oba mu lodge. Kino akikola olw’okuba abeera tayagala kuyitibwako lunaku nga teyetabye mu bikolwa bya kwegata. Wano nno wewavva endwadde ezitaliiko ddagala, n’embuto ezitetegekeddwa.
Kale katugeze nti Valentine y’abagalana kweraga mukwano nga ne katonda agimanyiko ng’abamu bwemuwanuuza, ddala omuntu gwosaanze obusaanzi abeera mwagalwa wo? Ssi bwenzi obuwedde emirimu?
Nina omuwala gwemanyi eno ewaffe gyempangaalira, yazaala omwana ataliiko kitaawe naye nga byonna byavva ku lunaku luno mbu yali agenze kukyakala ku beach, ate ebyaddirira ng’akomyewo n’ettu! Ekirungi nti ewaka tebagezaako kugyamu lubuto, era omuzukulu akulidde ddala kati.
Ki kyoteekeddwa okukola ng’oli muwuulu ku lw’abagalana.
Obadde muwuulu okumala akaseera, oluusi oyinza n’okusanga nga valentine eyaggwa yakuleka nga bwooli kati. N’eyomwaka guno etuuse, buli wotunula olaba bagalana, ku facebook mikwano gyo gitiimba bagalwa, ku Tv abantu bagula birabo nakuwereza bubaka eri bebagala, ku Radio buyimba bwa mukwano bwebukubwa… Kati muli owulira ng’atawera bulungi!? Nedda mukwano lowooza ku bino wamanga.
- Lowooza ku sente zoterese oba ebintu eby’omuwendo byosobodde okukola mu buwuulu bwo. Ekituufu tofunye kimuli wadde akalabo konna! Iyeee, naye ate osobola okulya obulungi okumala omwezi mulamba nga tolina gwotataganyiza nti mpolayo etaano nfune eky’emisana!
- Tomanyi Valentine gyeyavva ogoberera bugoberezi nga kyaana kya tuleera nti kanagweeramu eyo. Singa ogezaako okusoma ku byafaayo by’olunaku luno, wandyesanga osekerera abo abalowooza mbu bali mu kumansa mukwano nga balowooza nti kikolwa kya bwa katonda! Tonfuna bubi mukwano, era sagala ogambe nti Praxy avvumirira Valentine! Nedda. Ng’omuntu sirulinako buzibu, lwakuba nina enzikiriza eyange nti omukwano gusobola okumansibwa ku lunaku lwonna.
- Okubeera omuwuulu si kya bulabe ng’olunaku lw’abagalana bwelukuleetera okuwulira. Buli wotunula olaba bagalana abeyisa ng’owakagato akamu, bimuli, bubaka bususuuta bagalwa ku sosomediya, kati mbu ki? Abo abantu bolaba basanyufu, nga nawe bwosobola okusanyuka wadde ng’oli bwoomu. Okubeera mu mukwano tekitegeeza kubeera musanyufu, nga n’okubeera omuwuulu bwekitategeeza kubeera munakuwavvu. Nsonyiwa okukugamba kino, naye obadde muwuulu nga valentine eno tenatuuka era ng’okimanyi bulungi nti abantu basula babiri mu buliri, naye nga bulijjo tokosebwa? Nzikiriza nti ne kulunaku luno osobola okuluyitamu bulungi awatali nkenyera, wadde nga buli wamu abantu bali mu kumansa lwaavu.
Mpunzika nkugamba, nti bwoba owulira ng’atayagalwa, nkukakasa nti nze nkwagala ebitagambika nga nawe bwonjagala__ singa obadde tonjagala, tewandituuse eno gyebisembera ng’osoma! Kati leka tweyagale! Haha.
2 Comments
Interesting though I’m not good at reading long luganda stories
Naye okujjako obwononefu gwe ongamba otya nti love muno ogimuwa ku lunaku lumu lwokka mu mwaka… Uhmm nze nda the other gender nga bambi bonna bawedemu essubi nembasasira tebebalira nti after that they can suffer more than they enjoyed.. Eno ensi telina kwemazamu bantu 😎