• November 22, 2024

Weraba omwagalwa!

 Weraba omwagalwa!

Okusookera ddala kansuubire nti oli bulungi. Nkimanyi nti sasobola kunyonyola mbeera yonna nga bweyali. Naye wakiri okimanyi nti nagezaako lwakuba tewampuliriza.

Mbeera mulimba bwengamba nti sikusubwa! Akatundutundu k’obulumi bwenaziika mu mutima gwange, kagira nekazukuka naddala nga mpulidde oba okulaba ekikunzijjukiza. Nakwagala! Ekituufu kiri nti nekati nkyakwagala. Naye, ekyo tekitegeeza nti nkwetaaga tuddemu nga bwetwaali. Ekisesa okimanyi? Ku bintu byonna ebibi byewampisaamu n’obulumi bwewasiimba mu nnimiro y’omutima gwange, sisobola kukeera nenkwagaliza oloze ku bulumi obwo.

Oyinza obutayagala byonna byempandiise mu mboozi eno ng’obubaka, naye ate nteekeddwa okubiwandiika okusobola okuvva mu bulumi, enaku, obukyaayi, n’okuwulira nga gwegusiinga. Mpandiika ku lw’abantu abalinga nze, abayiwa omukwano gwaabwe ku bantu abalina emitima egiringa ekinnya ekiwaanvu ekitalina ntobo, nga tebasobola kwagala nga bwebagalwa.

“webale”

Nkimanyi nti kati webuuza lwaki mba nkwebaza oluvvanyuma lw’ebyo byenjogedde wagulu. Mwatu nkwebaza nnyo;

  • Webale kundaga busobozi buli mu mutima gwange bwekituuka ku kwagala omuntu, nebwekiba kitegeeza kwefiirwa nga nze.
  • Webale kundeetera kutegeera mitawana gyenesuulamu bwenakuwa omukwano gwange gwonna gwenalina obutasigaza, ate oluvvanyuma n’ondaga nti gwaali tegumala.
  • Webale, butalekayo kumpa nsonga lwaki nali nteekeddwa okweyongerayo n’obulamu bwange, wadde nga nali ngezaako okuzibiriza amaaso ku buli nsobi zewakolanga mu bugenderevvu.

Nzijjukira ebiseera ebyo, ebiseera ebyo, ebiseera ebyo!! Nga tuli mu kyenayitanga omukwano, nkwewunya nti gwe walinga onyumirwa bunyumirwa kunzisa wansi mu buli kintu kyonna. Wandaganga nti olina abawala abakumatira bangi era mbu nga nteekeddwa okukigumira. Eky’omukisa omubi ku ludda lwange, “ng’omuwala-eyali-akulaba-ng’ekyomuwendo-ekisiingayo”, nakwegayirira enfunda eziwera obutamenya mutima gwange nogenda n’omulala. Wagezaako okumpuliriza, naye era wamala n’ogenda. Muli ngamba nti kale wakiri singa nakimanyirawo mu ntandikwa nti tetulina lugendo, nenva mu by’alikyuuka naterera nakimanya nti mwagala nnyo! Kubanga ekyo ky’ekintu kyenegambanga buli, okutuusa lwenakitegeera obulungi nti tolikyuuka, kubanga wali toyagala kukyuuka.

Webale nnyo, olw’ebyo byonna byetwanyumirwanga awamu. Emboozi zetwanyumyanga ku ssimu, emiramwa gyetwakubaganyangako ebirowoozo netumaliriza nga tetukiriziganyiza, mu butuufu sisobola kwerabira biseera ebyo. Kibeera kya butumbaavvu mu nze obutakuwa kagoba wekigwaanira, webale akaseko kewakuumiranga ku face yange buli lwenawuliranga eddoboozi lyo, amazima wali onsanyusa. Webale okumpaana n’amalala gewandeetera mu mutima bwewampaananga amagezi n’obuyiiya, waddenga nkakasa kyaali tekivva ku mutima gwo… Nze nalinga mu kubuuka bubuusi olw’essanyu.

Webale kunjiwa n’ompa omukisa ogufuna omukwano gwengwanira okuvva mu muntu anatera okujja mu bulamu bwange.

“Tozzikawo! Nedda tekiri nga bwolowooza.”

Oli musajja musufu, naye ssi gwe asiingayo mu basufu. Oba leka nkitereeze bulungi osobole okuntegeera, tewali wa kitalo nnyo nga gwe bwewali olowooza. Nzikiriza nti oli musajja asanyusa amaaso, olabika bulungi, ate olina obwongo obuyiiya ebigambo ebiwoomerevvu mu matu g’omuwala yenna…. Naye omusajja omulungi assuka kw’ekyo kyokola abo abakwagala.

Nzijjukira ebiseera ebyo ng’onyumiza abawala abakukaabira, era mbu nze nali wa mukisa okubeera mu bulamu bwo! Sijjukira butya bwenatunula ng’ongamba ebigambo ebyo, kyenkakasa omutima gwasirira n’okwemanya kwonna okwandi mu mutima nekubengeya. Leero nkitegeera bulungi nti ku gwe lyaalinga ssanyu okuteeka abantu wansi w’ebigere byo.

Ojjukira ebiseera ebyo nga nkusaba twogere ku biki ebigaanye wakati waffe? Ekituufu nalinga sagala kufiirwa kyetwali tulina mu kadde ako. Naye oluvvanyuma lw’okugezaako twogere nga toyagala, nakiraba nti nali nsiwa nsaano ku mazzi. Amalala gaali gamamiidde omutima gwo. Ng’okukujjamu emboozi mala kuluma gwa wansi. Era olumu ng’ondeetera okuwulira ng’akumalako emirembe. Naye ssi bwegwaali mukwano gwange, nali njagala oddemu obeere omuntu oyo gwenayagala mu kusooka, omusajja gwenali njayaanira okutambula naye mu maaso g’abantu abangi nga tugenda ku alutaali okutugatta.

Amazima gali nti tozzikawo. Kubanga nange sagala kufuna muntu akufaanana wadde mu kantu akatono bwekati. Kyewankola kimala, nga setaaga kuddamu kukiyitamu mulundi mulala wadde okulaba omuntu omulala nga bakimukola.

Naye ate nina esuubi, nti njakubeera muntu “atazzikawo” mu bulamu bwo. Ssi ng’omuwala gwewazaannyira ku bwongo, naye omuwala eyakwagala natuuka okwerabira kyagwaanira mu bulamu bwe.

“Nsonyiwa”

  • Nsonyiwa bwemba sakola kimala mu bulamu bwo.
  • Nsonyiwa olw’ensobi zenakola nga tuli wamu.
  • Nsonyiwa olw’ebyo byenakola nga byakuleetera obulumi. Mbeera mubi nnyo bwengamba nti gwe wekka eyaleeta obulumi mu mukwano gwaffe, kubanga ffenna tulina wetunenyezebwa.
  • Nsonyiwa, bwemba nakulemerako nnyo mu biseera wenali nteekeddwa okukuleka ogende.
  • Nsonyiwa okusuubira ebyaali tebisoboka kuvva gyooli. Nali siteekeddwa kusuubira mukwano na kutegeera nga byenali nkuwa, kubanga okuvva muntandikwa nakiraba nga kiyinza obutasoboka… naye nali nsuubira nti osobola okukyuuka. Nandibadde nkitegeera nti olumu sikyangu kukyuusa muntu.
  • Nzijjukira bwewangambanga nti nze eyali omugumu mu mukwano gwaffe, era ng’onsaba nsigale nga mpanirira omukwano gwaffe mu kaseera nga gwe olabika ng’anafuye… mu butuufu nange nalemererwa nsonyiwa munange.
  • Nsonyiwa byenefuulanga omugumu mu maaso go, wadde nga nali nsensebuse munda paka mu busomyo. Oba oli awo singa nakulaga obunafu bwange, wandibadde ompanirira ng’onzizaamu amaanyi.
  • Era nsonyiwa ne ku mulundi guno nti nzikiriza nempanika nga nkuleka ogendere ddala obutadda.

“Weraba, weraba mukwano gwange.”

Nsuubire sikozeseza bigambo bibi nga nkusiibula. Mu kigambo “weraba” nkusuubira okulabamu amaanyi g’omukwano “weraba mukwano gwange.”

  • Njogera weraba eri obulumi bwetwasisinkana ng’ababiri, ne bwekiba kitegeeza kusiibula bijjukizo byaffe ebirungi.
  • Njogera weraba eri byonna byetwalina, nate tusobole okwaniriza ebirungi mukama byatutegekedde mu nsi y’abantu abalala. Oba oli awo, ebbanga lyonna mukama yali atugamba nti “abaaye, temupapa kumatira byemulabyeko, kubanga nina bingi byembategekedde mu maaso.”
  • Weraba eri ebiseera n’obudde bwetwamala mu ssanyu, mu bulumi, n’amaziga amangi naddala ku ludda lwange. Nkwagaliza kisinga mukwano gwange, era nsaba nti mu bawala abangi bofuna kumpi buli mwezi, ofunemu omuwala omugumu atalinga nze eyali yegumya obwegumya.

Nkwagaliza birungi byerere mu bulamu. Oyinza obutakiriza kino, naye amazima gali nti omutima gwange gulisigala gufaayo gyooli. Webale nnyo ku lwabuli kijjukizo kyetugabana ababiri; omukwano, obulumi, n’amaziga. Ebintu ebyo byonsatule byandeetera okukula mu birowoozo ng’omuntu, era mwatu nkusiima mu ngeri gyesisobola kukunyonyola. Oli musajja wakabi nzikiriza, naye amazima gali nti tokyalina maanyi gawamba mutima gwange n’ogukuumira mu busibe. Mu kaseera kano ndya butaala, emiguwa gyewali wasibisa omutima gwange, ndi musanyufu okukugamba nti gyamala negikutuka. Nsonyiwa, okuba nti nesumulula wewali onsibidde. Nsonyiwa okuba nti nasalawo okweyagala okusinga bwegwaali mu biseera by’emabega nga tuli ffembi. Nsonyiwa okumenya byenasuubiza nti sirikuleka.

Weraba, omwagalwa weraba!

Digiqole ad

Related post

4 Comments

  • Omutima bwegulwaaala okwagala nga gulumaaa🥺🥺🥺🥺😒🥺🥺🥺🥺
    Weebale kumusiibula nga omwagaliza kisinga
    Manyi naye gyali yonna akwagaliza kisinga era akusabira ofune omuntu Oyo gwonayagalira Ddala okuva kuntobo yomutima gwo nga Ssi bya bigambo naye n’ebikolwa…… Oba oli awo buli omu yali nsobi eri munne…….nga eyo yeeyali entuuko yamwe😔😔

    Regardless we move

    • Olumu tuteekeddwa okukiriza nti kino kigaanye. Ne mu mukwano bwegutyo, tetuteekeddwa kwesiba mu mbeera ya kulemera ku kyetulaba nti kigaanye.
      Lumu nawandiikako ku mulamwa nengutuuma # Bireke. Bite. Byesonyiwe…. Lumu njakusharingako nawe dear.
      Makula nkwenyumirizaamu nnyo dear, webale mukwano.

  • For real kino kikuure kumutima😩😭 so sorry 😔

    • Olumu wesaanga owandiise ebivva ku mutima wadde ng’embeera eba tekutuukirako kennyini…. Mbeera ya muwandiisi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *