• November 22, 2024

Kituufu nti mujja wo aba mulabe wo?

 Kituufu nti mujja wo aba mulabe wo?

Nsaasira omukyala eyepanka, mbu sifumba na mujja wange! Eby’obufumbo bwetwabisaanga, era bwetujja okubireka. Mujja wo oyo tomutawanya kuba naye ….

Bigambo bya muyimbi omu wano.

Ogenda nowuliriza oluyimba luno, nokitunulamu nga mu butuufu yalina ensonga ze ezirabika ng’entuufu. Wadde emirundi egisiinga kano akayimba abakyala ba namba bbiri bakagala nnyo. Naye ku mukazi eyatandika ne bba we mu mbeera embi, bamaze okweziimba ate ng’omuwoleza “mujja wo ssi muyekera!?”

Bbo abaganda balugera nti “mukazi mujja kabugo kakadde, tekabulamu nsekere!” Kirabike baalinga abawagira abakazi obutakwatagana na bajja baabwe…. Sitegeera nnyo nsonga zino, naye wano wamma wenkubuuliza nti watya nga mutadde ku mabbali obugya n’okweyagaliza ne muziimba bba mwe nga muli omuntu omu!?

Ekibuuzo:

Okusinziira kuntegeera yo, kituufu nti mujja wo aba mulabe wo?

Nga bulijjo, tusiima endowooza yo. Nera kozesa akabangirizi akali wamanga (comment section) otuwe endowooza yo, tusobole okulungamizibwa awamu ku nsonga ya mukazi mujja.

Webale mukwano!

Digiqole ad

Makanga Abubakar

https://gpraxy.com

Related post

6 Comments

  • Gwe wobba olaba obujja busoboka okukoma???

    • Naye nga lwaki tebukoma? Olumu kubeera kulowooza kutono! haha

  • Kituufu mujjawo taba muyeekera naye
    Era buli kimu kisoboka, ssaawa yonna afuuka omuyeekera

    • Era tolimbye munange.Olaba muganda wo yakyuuka, ate olwo!??

  • Emirundi egisinga singa omusajja atandika okutiitibya ennyo omu ku bakazibe eri omulala mumaaso ge…
    Olwo luba lufuuse lutaro olutakoma era awo baba bafuuse bayekera…
    So singa buli omu aba amuwanira wuwe nga kubonna tewali amanya oli byebamuwanye owo waba tewasobola kunalukawo lutaro lwonna.

    • Kituufu nno! Oluusi abasajja bebavviirako abakala okwewalana… Nga bwogambe nti singa buli omu awanibwa bibye omulala nga tategedde, kizibu abakyala abo okufuna obujja obw’ekisiru.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *