• November 22, 2024

Nalemwa okumwerabiza obwa Ssemwandu!

 Nalemwa okumwerabiza obwa Ssemwandu!

Ekitundu ekyokusatu.

Nga maze okukyuusa endabika yange, olugambo lwatandika okusasaana ku kyaalo kwonna nga mukyala wa Dr. Danny bwakyuuse. Obuvviiri obumpi bwandabisa bulungi nga ninga kawala kato akakavva mu somero. Nalina amannyo amalungi kwogata akaseko akaali tekavva ku matama gaange, wadde nga nali mpita mu bulamu obukalubu!

Okumanya olugambo lwatambula, ne mu bazadde ba Rhoda lwatuuka! Ne waffe bakadde bange balufuna nga bwenali nkyuuse mu nneyisa. Lumu ku makya ga sande nzijjukira nga ssenga okuvva e Bukoto ankubira essimu. “Irene, oli bulungi? Mpulira mbu wakyuusa endabika yo! Nawulidde mbu batandise okukugerageranya ku Rhoda nga ye bweyali tayambala bimpi!” Namusekerera, nemugamba nti ebya Rhoda byaali bibye, nga nange nina okukola ebyange awatali kutambulira mu ngato ze. Ssenga yasekamu katono, nansaba okusigala nga ndi muwala mulungi afaayo ku kitiibwa kyange n’ekyomwami wange, Danny. Nga nvudde ku ssimu, nasooka nenzijjula nga nebuuza nti lwaki abantu bandibadde bannemezaako amaaso ku biki byenkola mu bulamu bwange, ate oluvvanyuma nembivvaako nga ndaba tebirina gyebintwala!

Ebiseera byatambula nga nkyaalinda omukwano okuvva ewa Dr.Danny, bba wange. Olunaku lwaali lwa mukaaga nga tuweza emyaka 3 mu bufumbo, tetwakolawo kabaga konna naye yandetera ekirabo. Ekirabo kyaali kya ntebe bbiri (2) eyange n’eyiye. Nasanyuka nnyo nnyo kubanga nakiraba ng’entandikwa y’omukwano, anti nga tusobola okufuna eky’okulya nga tuli fekka ababiri awatali baana! Entebe ezo ebbiri nazesuunga nnyo, anti nga ndaba ky’ekintu kyokka ekyaali kiyingidde mu nyumba nga Rhoda takirinamu mukono!

Nali nsubiddwa ebintu bingi mu bugole bwange, okuyingira enyumba ewedde nga yategekebwa mukyala__ ataasobola kugiwangaaliramu, safuna kweyagala kwonna ng’omuwala omuto atandika obufumbo. Emeeza ey’abantu ababiri! Buli muwala atunulira akaseera ako ng’ategeka chai ku makya ow’abantu ababiri ku meeza. Emeeza gyenasaanga mu nyumba yali y’abantu mukaaga!

Nga maze okutegeka entebe mu ka ddiiro akatono, mu mutima nafuna okwesuunga! Nabukeereza nkokola okutegeka eky’enkya, eby’embi Danny teyagenda ku mulimu era yalinda abaana ne bazuukuka okulya eky’enkya. Entegeka zange zaagwa butaka. Nalowooza nti oba tunasobola okulya ffekka eky’egulo, singa abaana mbeera mbawadde bukyaali nebalya, naye nakyo yakigaana nti tulina kulira wamu.

Ewaka Danny yali tayagala kulya kintu kyonna ng’abaana tebalidde naye, era mbu nga tayagala nsumbukane nakugabula mirundi ebiri! Mu butuufu byonna yali yabikola ddala ne Rhoda, nga talina kipya kyonna kyeyandiyagadde kukola na muntu mulala, okuleka okukuuma ebijjukizo bya Rhoda ku mutima. Nandikoze ki? Nali sikyasobola kusigala nga nesiba ku bitalibeera, ekyo nakyo nakireka n’entebe ezagulwa ku lwange, nensigaliza kuziraba bulabi nti weziri mu nyumba.

Ng’omukyala ewaka salina ddembe lya kwetaaya mu maka. Anti ng’enganda okuvva buli luuyi nga bayitira waka buli kadde okulaba ku baana. Eky’okulaba abaana sakirinaako buzibu, naye olumu baganda ba Rhoda nga bampisaamu amaaso n’okunnengeeza. Nzijjukira mwanyina wa Rhoda omu, nga ye bwajja ewaka tambuuza okuleka okuyingira natuuka buli wantu! Kyannumaanga nga naye nkimira bumizi kubanga, nali sagala kunzijja mize.

Abaana ba Rhoda nabatwalira ddala ng’abange. Nabakuza bulungi era nsuubira nti nejebali kati bantu basufu. Esuubi ly’okuwangula kitaabwe lyanzigwa, era omukwano gwange gwonna mu maka nenguwa abaana. Rhona yali akulidde ddala, nga n’abalongo beyagala bulungi awatali buzibu. Nakato yali wa kyeejo nnyo, naye nga mwagala ebitenkanika…. Akaana kange ako!

Nga wayise enaku ntonotono okuvva nga twakaweza emyaka esatu mu bufumbo, twaali twebase mu kiro, omukono gwa Danny negunzukusa mu tulo otungi. Yankwata nanyweeza, ate nga bwansisiitira…. oh, akaseera ako! Nasirika nga sagala yadde okubaako kyenjogera, nga mpulira ng’ali mu kuloota naye ate nga ntunula! Maama, omukwano gwaali guntomedde! Ku nkomerero nali nfunye essanyu!

Lindirira ekitundu ekyokuna.

Digiqole ad

Related post

1 Comment

  • Mumazima akaseera Ako kalabika Kali kasuffu gyooli
    Oluvannyuma lwe bbanga eddene lyewali omaze mubufumbo nga tewali kigenda mumaaso wakati w’abaagalana
    Kale Bambi Irene weebale kuba mukyala muguminkiriza ate akwaata empola
    Weebale kuba n’amutima muzadde yadde wali tonazaala Mwana naye ate Bambi abaana ba Rhoda wabayisa nga ababo ssi kyangu era tekisangika

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *