• November 22, 2024

Wamutwala! Naye nkwagaliza kisinga.

 Wamutwala! Naye nkwagaliza kisinga.

Nandyekaziza nennimba nti tebindya! Naye okulimba ssi muzannyo gwange. Nkimanyi bulungi nti gyooli, era nga wegirisiza mu buli ekyaali ekyange, naye nasalawo obutaddamu kuyimirira mu kkubo lya ssanyu lye. Roger musajja mulungi ekyo nga tetuteekeddwa kukikubaganyaako birowoozo. Nali sikyamusanyusa, ndi musanyufu nti yafuna omuntu omulala amusanyusa.

Maze akabanga akawera okuvva lwenayawukana naye, nga njiiya obubaka buno eri omuwala yenna alitwala ekifo kyange. Mpandiikira mu maziga, naye njagala kukuwa omukisa mu mukwano. Yakuloonda alina ensonga. Amanyi kyayagala mu bulamu era na ddi lwakyetaaga. Tamala gatomera butomezi muwala yenna gwasaanze mu luguuddo nti abeere muntu we. Yakuloonda akimanyi nti ojja kubeera ekyo kyeyetaaga. Ne ku nze bwegutyo bwegwaali, lwakuba byamala nebikyuukamu. Roger tamala gakasuka mutima gwe ku buli muwala gwalabye. Mu byaddala, omutima gwe agukuuma nnyo okutuuka lwafuna omuwala oyo omutuufu ow’okugukwasa. Era omuwala oyo kati ye gwe!

Teyali wange okuvviira ddala mu ntandikwa. Nze naye tewaliwo kalungi konna katulinze, era twaali tetwatondebwa kubeera ffembi. Kinnuma okukyogera, naye ndi mugezi ekimala okutegeera, nti kisoboka abantu ababiri okwagalana naye nga tebasobola kuwangaala bombi.

Ekyo tekitegeeza nti nali simwagala, namwagala era ebiseera ebyo ng’omutima gwange gukubira ku ye. Nja kumwagala bbanga lyonna, era mu kumwagala netaaga okukizuula nti essanyu lye kikulu gyendi, nze obutabeera mu bulamu bwe kimusanyusa, era nga nina okukikiriza. Kiyiinza okunfumita ennyo mu mutima, naye era ndimala nenfuna obulamu obulala.

Yaloonda gwe. Ekitegeeza nti oli muwala mulungi, omwesigwa, omukazi amugwaanira. Nkwegayiridde maama wange, tomumenyaanga mutima. Amanyi bulungi bwebwakwata omukazi mu mukwano, era alina omukwano ogutalina alina mu nsi yonna. Nkakasa nti ajja kukuwa ekyo kyogwaanira mu bulamu. Oli wa njawulo, gwe tokiraba?

Roger omulaba? Agwaanira omuwala omulungi. Omuwala alisigala ng’amuzaamu amaanyi mu kaseera ng’ensi ye eddugadde. Akola ebintu bingi, yebaka kikerezi ng’ali ku laputopu, omuyambangako nasobola okuwumula ekimala mu buliri.

Nkimanyi nti ogenda kumufuula omusajja omusanyufu nga nange bwekyaali ekirubirirwa kyange. Bintu bingi byabaawo wakati wange naye, era nsaba omutonzi bireme kubatuukako. Sisobola kugumikiriza kumulaba ng’alumwa, kati nzikiririzaamu bwenkugamba nti yakuloonda akimanyi nti togenda kumulumya. Yakuloonda akimanyi nti omugwaana, ekyo ndi mukakafu munange. Olw’okuba nali sisobola kumuwa ssanyu na nseko byeyali yetaaga, njagala omuntu omulala abimuwe. Omuntu oyo abeere gwe!

Ebimufaako byewetaaga okumanya.

Talikubuulira nti anyiize kubanga tamala googera ku butya bwawulira, ekitali kibi. Oba oli awo gwe alikugamba, naye ku nze tekyaali kyangu munange. Mubeererewo. Buli lwabeera n’ekimuzitoweredde ku mutima, abeera yetaaga omuntu asobola okumubuddabudda__ beera omuntu oyo. Bwewalibeerawo obuzibu ku mukwano gwamwe, alikyogerako (naye oluusi kiriba kikerezi nga tekikyayamba.) Naye, ku gwe kyandiba eky’enjawulo kubanga nze teyandabamu biseera bya mu maaso.

Muzeemu amaanyi. Ayagala nnyo okubuddabuddibwa. Tayagala nnyo kumukuumira awo nga nkoko ku luguwa, ayagala nnyo eddembe lye naddala ng’asobola okukola ebyo ebimusanyusa ng’omuntu. Tolindanga akusabe kukutwalako okukyakala, muntu wa mazina era ng’anyumirwa nnyo okubibyaamu mu bifo eby’obuvvunaanyizibwa.

Bwabeeranga alina kyakugamba, wuliriza. Oba oli awo samuwulirizanga kimala nga njagala nnyo okwewozaako. Muwulirize nga tonabako kyoyogera. Ayagala okumuwuliriza.

Toteekeddwa kumubeera ku lusegere buli ssaawa. Kino kyandiwulikika ng’akatwa, era nga gwe wandiyagadde okumubeeranga mu kifuba buli kakisa kofunye. Naye nzikiririzaamu, nti nange bwentyo bwenakolanga, nga simuvva ku lusegere. Naye kati ntegeera omugaso gw’okuwa ebbanga oyo akwagala oba gwoyagala.

Alikunoonya ng’odduka omuvviira kubanga akunyiiziza, nkimanyi ajja kukola kyonna ekisoboka okulaba nti obeera bulungi. Nze naye wano wewaali obuzibu, nga talinoonya kubanga yali tanjagala. Tekirina buzibu ekyo.

Mubeere kyenkanyi. Muli babiri kukola tiimu eggumidde. Mweziimbe okukula. Mugezeko okusigala nga muyimiridde awatali kumenyebwa.

Mugole omupya nkolera kino. Omwami musese nnyo, okuumire akaseko ke ku matama obutavvaako. Beera ekisinga ng’oli naye. Muwe ekyo ekisinga obulungi okuvva gyooli. Amazima agwaana omuntu omulungi anamwagala awatali ku mulumya. Agwaana omuntu anayagalwa enganda ze. Yakuloonda alina ensonga. Muntu mulungi nga talina tabbu. Ajja kugenda ensi gyesembera okukola ebyo ebisobola okuvvaamu ejjamba nga libayambira wamu. Tomugaana kugenda muleke abikole. Era mba kubeera ge ku kino, nandibuukidde wagulu nga jjaanzi.

Munange byebyo, nga mbagaliza kisinga mu mukwano. Nzikiriza nti kinnuma, naye nsaba omubeerere ekyo kyesasobola kumubeerera. Tokigezangako okumulumya, Bambi!

Digiqole ad

Related post

1 Comment

  • Nkakasa nti bino byonna bya kwegumyaaa
    Teri kiruma nga kulaba muntu gwoyagala nga afunye omuntu omulala🥺🥺 osobola okulaga ffe abalabi nti tokirinaako buzibu….Naye kyensinga okukakasa Kiri kimu nti omutima gwo guli mubitaba byamazigaa🥺🥺🥺🥺obukyaawe buluma😌😌

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *