Nalemwa okumwerabiza obwa Ssemwandu!

Ekitundu ekyokuna.
Omanyi kyebayita okuwanuka mu gulu n’ogwa mu kinnya ekirimu ennimi z’omuliro? Bwentyo bwenali nga mpulira Danny bwampita Rhoda. Kino kyankuba wala nnyo! Akamwenyu akaali ku matama gange, kaagenda kasenguka mpola okutuuka nga kasanyeewo. Nawulira obulumi, nawulira okuswaala n’obukyaayi nga binzita. Natunulira Danny ng’ali mu tulo nembulwa okumumiza omusu nga nkozesa akatto (pillow), eky’omukisa omulungi nasobola okwefuga mu mutima. Esuubi ly’okufuna omukwano gwa Danny, lyafa mu kiro ekyo kyenyini.
Nali Irene! Irene omukazi eyawasibwa okusobola okukuza abaana ba Rhoda, omukyala eyali omwagalwa yekka mu nsi ya Danny. Abaana kyekyaali ng’ekirabo omukozi omulungi yenna kyafuna okuvva eri mukama we, Danny yalina abaana ba Rhoda. Mu butuufu nali mbikooye nga katonda yekka yalina okuntaasa okuvva mu bulumi mwenali ntubidde. Nali sikyetaaga kubonabona mulundi mulala.
Nasalawo okuyoonja omutima gwange, nenkakasa nti gutukula okusobola okwejjako esuubi ly’omukwano lyenalina mu Danny. Kino kyanyambira ddala, era Danny samunyumiza ku biki ebyaliwo mu kiro. Kirabike yanyumirwa ekirooto kye okumala enaku, naye ku mulundi guno nali wanjawulo nga sikyayagala kusika muguwa na mukwano gwe.
Embeera zange gyaali zaali zikyuukidde dda wadde nga yali tanakiraba. Naye oluvvanyuma yamala nakizuula nti nali nkyuuse nnyo. Esuubi bwerikwata ekkubo okugenda, n’okutya nga kugoberera. Nali sikyatya Danny, wadde kyandowooleza__ nga ntambuza bulamu bwange mu ngeri gyenali njagala mu kadde ako.
Omukwano gwajja gyendi.
Omwezi gwaali gwa mwenda, ku lunaku lw’olwokutaano. Nali mpumuddemu oluvvanyuma lw’ekyemisana nempulira akonkona ku geeti (gate). Nawawamuka mu tulo otwaali tuntwala nengenda ndabe ani akonkona.
Mu kuggula oluggi, nalaba omusajja eyali ayimiridde ng’abugaanye akaseko ku matama. Yali ayambadde bulungi nga musajja mugoggoofu bulungi. “Nyabo nzikirizibwa okuyingira nfune ku kakopo ka chai?” Yali ayogeza gonjebwa nga kwogase akaseko akalemera ku matama ge, wadde nga nze nali siraba kimumwenyesa.
Nasooka nemusiimba amaaso nga nkute oluggi, nga kirabika yali mumanye mu maka gano. Namugamba bugambi nti “jetuli Ssebo!” Nga tuyingidde mu nyumba, namwaniriza nemulaga aw’okutuula, era nemulamusa nga nfukamidde ku mavviivvi gange. Nga maliriza okumubuuza, yali mpisa yange mu maka, okuleetera omugenyi eky’okunywa nga nsinziira ku mbeera y’obudde.
Nayingira efumbiro okumutabulira chai. Naye sisobola kwerabira kubuzabuzibwa kwenafuna mu kaseera ako bwenamwekangira ku mulyango gw’efumbiro ng’azze anvaako mabega! Namutunulira mu ngeri y’okumwekaanga, “Irene, tosumbukana mukwano nsobola okwetabulira chai.”Bino yabyogera asanukula mukebe gwa sukaali.
Newuunya okuba nti yali amanyi erinnya. Yali amanyi bulungi! “Gwe ani banange?” Namubuuza.
“Andereya Muwonge.”
“Andy! Andy! Erinnya nali ndimanyi bulungi, naye nga nnyini lyo sikyamujjukira ku maaso. Namugwa mu kifuba ng’akabonero akalaga essanyu gyaali.
“Tokyuuse wadde akatono bwekati, kyovva olaba nti nze nakutegeereddewo nga wakaggula oluggi lwa geeti. Wano omazeewo emyaka emeka?” Bino yabimbuuza ankute omukono obutaguta. Namujjako mpola omukono, naye amaaso gaffe gaali gamaze okutta ekyaama, emitima gyaffe nga gimaze okunyumya emboozi etafulumi mimwa gyaffe. Nali maze okumuteekako akalambe nti “wange.”
Ki ekyaddirira nga ndi ne Andy Muwonge mu maka ga Dr. Danny Ssendawula? Ye abafe, Andy yali ayita atya Dr.Danny, era nga nze najja ntya okumumanya?

2 Comments
Uhhhhh
Mukazi wattu Irene nga wakigwaako kumbe omwami yali aloota mugenzi
Yiiii laba n’atuuka nokukuyita Rhoda nga bwakwekwasaakoš„ŗš„ŗeeehh
Biggweerawa bino Ono omusajja anasoboka kweeriš
Katulinde ebya Andy oba wanabaawo ekikyuukyako mu Maka muno
Osanga ye azze be plan esingakoškuba ndaba asimbukidde mu ggiya
Hahahaha….. Era Andy ye atandikidde mu giya…. Irene yesibe bbiri ku kalambe kaatadde ku Andy.