• November 22, 2024

Oli mu mukwano n’omusajja omukyaamu!

 Oli mu mukwano n’omusajja omukyaamu!

Mu nsi kyosinga okwagala, kwekubeera mu mikono gye ng’akuwambatidde. Onyumirwa nnyo akaseko kakuteerako ng’akulabira ku luuyi lumu, ekintu ekikuletera obuwojjolo mu lubuto ng’olabira ddala teri mu nsi amwenkana.

Owulira bulungi ng’otunudde mu munye ze, naddala ng’abadde alina omuntu omulala gwatunulidde, wakati awo nabbirira amaaso okugalaza gyooli.

Okimanyi bulungi nti akuzanyira ku bwongo, naye tosobola kukyebeera eky’okuyayaanira omutima gwe.

Nfunda nyingi azze akumenya omutima, ng’ayogera ebigambo byatagenderedde, ng’akola ebisuubizo byatagoberera. Wateeka obwesige bwo bwonna mu mikono gye, n’osigalira kumutunulira nga bwonna bumuyita mu myaganya gy’engalo. Yakulaba nti omenyese omutima olw’ebikolwa bye, naye nasigala ng’atambula awatali kufaayo nti aloonde ebitundutundu by’omutima gwo!

Wefuula atalaba nti ebirowoozo bye bibeera wala buli lwogezaako okubako ky’omunyumiza. omunyumiza kyolowooza ku mukwano gwamwe, naye ebirowoozo bimuli ku bubaka bwasoma nga buvva mu bakazi abalala. Essimu ye ebeera bize ssaawa bina, kubanga abeera mu kwetonda eri abakazi abalala; ng’abanyumiza nga bwabasubwa. Buli lwemuteesa nti musisinkaneko awantu natasobola kujja nga bwemubeera mwateseza, ng’ofuna eby’okumuwolereza nti bambi eby’okukola alina bingi.

Okimanyi bulungi nti akuyisa mu ngeri etagwaanidde, era okimanyi nti ku mukwano gwomuwa tasobola kukuddizako wadde kimu kya kumi… Naye toyagala kumuleka kugenda.

Ku lw’ensonga ezimu muli okyematiza nti musajja mulungi singa oba omuwadde akadde. Buli lunaku wejjukiza nga bweguli omulimu gwo okumujjukiza kyaali, mbu oyagala kumujjamu ekisinga.

Kati nno wagufuula na mulimu gwo okumusomesa batya bwebakwata omukyala, naye nze ekyo ssi kyempita omukwano ogwa ddala.

Lwaki werumya ng’omatiza omutima gwo mbu mu mutima gw’omusajja oyo mulimu akafo mwakuumira omukwano gwo!? Muli olowooza nti atya butyi kwewaayo gyooli, n’essanyu eringi, osabirira olunaku olwo bwerulibeera ng’asazewo nti ye gwe!

Nze nawe tukimanyi nti olunaku lwo terulijja, naye gwe okyalindirira.

Gwe n’omusajja oyo muyimiridde buli omu ku luyi lulwe; omulinda, naye alina gwalinda. Omutunulira ng’ali ku ssimu anyumya n’abawala abalala bwabawa bu kiss gyobeera takulaba nti omulaba. Olumu oyimirira mu ndabirwamu newetunulira, newebuuza nti ekyakutuukako. Otandika okuzza akatambi k’obulamu bwamwe emabega, newebuuza engeri gyeweteeka mu matiga g’omukwano ogutalibeera! Otandika okwekyawa olw’okuleka omusajja oyo nakutuusa ku kyowulira gyaali…. Kyokka ate era omaliriza toyagala kuvva luyi lwa musajja oyo, ng’okanya kumusonyiwa mu buli kyakukola

Omukwano gwe gwakusensera; eddoboozi lye, akaseko ke, obulungi bwe, mu butuufu omulaba nga mafuta agakutambuza buli lunaku. Muli webuuza nti lwaki kiri kityo, naye tewali ayinza kukuddamu. Wadde omwagala otyo, naye okimanyi nti byonna byakola, anyumirwa muzannyo gwe era nga gwe kapiira. Tagenda kukyuuka akwagale, kubanga omutima ge gwajjula obuyaaye.

Mu maaso ge talina tabbu, ali ekyo kyomumanyiko, ali ekyo kyoyagala. Naye tali ekyo kyewetaaga. Kubanga ye musajja atasobola kwewaayo gyooli; ye musajja atasobola kubeerawo ku lulwo.

Omanyidde embeera gyoyitamu era nga kino toyagala kikyuuke. Kyotamanyi essaawa eno ate kyotya. Muli otya nti singa okwata ekkubo okugenda n’ovviira omusajja oyo, oyinza obutafuna muntu mulala amwenkana. Naye munange okutya okwo kwekukuumira mu bunakuwavvu, kubanga singa otambula n’ogenda obulamu bwo bujja kweggula eri byolaba ng’ebitasoboka. Kubanga bwotambula, ojja kuba toliiko agamba, nga neby’oyisemu bifuuse byakuyiga mu kufuna omuntu omulala.

Omusajja oyo alina obusobozi okubeera omusajja omulungi, ebyaddala ffenna abantu tusobola okubeera abalungi. Naye mukwano gwo oyo tayagala kukyuusa neyisa ku lulwo. Omuwadde emikisa mingi, obaddewo ku luuyi lwe ng’omuzaamu amaanyi okusobola okusituka. Omwewadde wenna nosigala ngalo nsa.

Nsuubire nti kyekiseera okuwanika.

Mukwano gwange, togwaana mukwano gwa kitundu. Togwaana musajja akusuubiza bitundutundu, ate nabyo natabituukiriza. Togwaana musajja wakuwerekera ku lugendo lwe olw’okunoonya omuntu amugwaana. Togwaanira musajja akuyisa nga bwalaba, gyobeera omutima ogugwo bagukola mu kyuuma nti tegumenyeka. Tobeera na musajja atasiima kyooli, akuyisa ng’ekintu kyayinza okumala gakasuka ng’alabye ekisingako.

Wandiba omwagala kubanga omaze ebbanga ddene ng’olwanira omukwano gwamwe obutamenyeka, kubanga obulumi bwonna bwoyisemu, okyamwagala. Naye mwana wa maama, ogwaanira omukwano omutuufu, Kino kyewesibako ssi gwe mukwano gwogwaanira.

Wadde omwagala otya, fuba okufuna oyo gwewetaaga. Okwagala kubaawo, naye okukozesa amagezi ky’ekisinga.

Kankwagalize olugendo olulungi ng’onoonya essanyu lyo

Nga bulijjo nfaayo gyooli!

Digiqole ad

Related post

2 Comments

  • Kale ate nga nkakasa owange mwagala era siri musajja mukyamu. Ekyo kyenesimisaaaa

    • Yesiimye era musanyukirako bambi. Webale kubeera musajja mulungi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *