Nalemwa okumwerabiza obwa ssemwandu!
Ekitundu ekyomukaaga.
Wakati mu kufumumitiriza ku bubaka Andy bweyali ansindikidde, akaseko kaamera ku matama gange, nekyaddirira kwali kugwa ku buliri ng’omute nguvumbisse mu piro. Nga bwebagamba nti otulo tetumanyi alirira nyina, bwegutyo nange twanziba. Ngenda okudda engulu nga mpulira Dr. Danny ampita “Irene, oli mulwadde mukwano?” Mukwano!!!!! Kino nali simuwulirangako ng’akimpita. “Omutwe gubadde gunumiriramu nenebaka nga sigenderedde.” bwentyo nga bwensiimuula amaaso gange agaali galabika okuba amamyufu olw’otulo otwaali tunzibye.
“Iyii, kati Andy n’omuleka yekka okuwubaala nga gwe webase?” Yabuuza bino nga tamanyi nti omugenyi yeyali ensibuko y’otulo otutaali twetegekere. Danny okudda ewaka amangu mu budde mwenali simusuubira, yali anonye biwandiiko. Mbu bweyali kyajje asimbule okwolekera faamu e masaka, ate nebamukubira essimu nga bamwetaaga ku ddwaaliro mu bwangu ddala.
Nasituka mangu ddala nenjolekera efumbiro ntere ndabe eby’ekyemisana. Danny namuleka mu ddiiro ng’alina byanyumya ne Andy, nze byesayagala kuwa matu. Nga ndi mu fumbiro, Danny yansaangayo nantegeeza nga bweyali agenda okukomawo n’abaana okuvva ku somero, era mbu sisumbukana okugenda okubanona.
Nasirikira mu fumbiro nga nsuubira Andy okunsaangayo, era bwegwaali. “Njogeddeko ne Danny nga njagala kugendako mukyalo ewa jjajja!” Andy ng’ayimiridde mu mulyango antaddeko abiri, “tusobola okugenda ffembi kubanga Danny akiriza.” Haa, omanyi kyebayita okusindika asitamye? Nasituka busitusi “okakasa, era tugenda ddi?” namubuuza noonya ssimu yange wenali ngitadde. “Bwekiba kisoboka yambala bwambazi.” Andy bweyanziramu nga yenna ajjdde akaseko k matama.
Omanyi ewaka twalinawo omukyala eyali atuyamba ku mirimu. Ng’emirundi egisinga abeera mu kisenge kye ekitaali mu nyumba eno enene. Nafuluma wabweru nemuyita, “aunt Sarah, munange nfunye olugendo olw’amangu mangu, ngenda ne Andy mukyaalo e masaka. Abaana bankuumire bulungi, njakukomawo ku sande.” Bwentyo nga ntegeeza Sarah.
Awatali kusooka kukuba ssimu eri Danny, nanaaba bunaabi, nga nekolako ng’omukyala yenna alina gyalaga, nga mpakira ngoye zange mu nsawo. “Nange maliriza.” Nga nesiimbye mu maaso ga Andy. Yantunulira okuvva wansi paka ku mutwe, “olabika bulungi nnyo mukyala dokita!” Twaseka ffembi era netufuluma enyumba okwolekera emotoka.
Andy yasimbula emotoka nga n’obukuba butandise okufuyirira. Nga tutambudde okumala akabanga, nafuna ekirowoozo nti kale singa nakubiddeko Danny nga tetunaba kuva waka! Naye kino kyaali tekikyalina makulu.
Wakati mu kulowooza ku nsobi gyenali nkoze naye nengireka bulesi awo, nawunzika omutwe gwange emabega ku mutto. Nzenna nga mpulira ninga omumbejja gwebatwala ewala okusisinkana omulangira okuvva mu bwa kabaka obulala. Okutambula n’omuntu gwenali ndudde okulaba (mukwano gwange mu biseera by’emabega,) ate nga ebyange ne Danny byaali bibi ddala, akaseko kamera ku matama gange.
Andy yakiraba nti mbulidde mu birowoozo ebiweweevu, era bwatyo yakeendeza ku supiidi, nayisa omukono gwe emabega wange, nankwata mu mutwe. “Nkwagala n’okusinga bwegwaali mu buto. Mu butuufu ndi mwetegefu okukola ekitansuubirwamu ku lulwo….” Namutunulira, “naye tewerabira nti ndi mukyala wa taata wo mu ddiini!” Yaseka busesi. “Kasita okyogedde bulungi nti mu ddiini.” Wano ffembi twaseka.
Namujjako amaaso nengaza mu ddirisa, naye ng’enkuba ekuttte nnyo. “Tugenda kutuukira wa?” Namubuuza.
Tugenda kusooka wa jjajjange nate tulekewo emotoka, oluvanyuma nkuwerekere paka ewaka ewamwe.
Nawulira nga buli kimu kiringa kya bufuusa! Okugenda ewaka n’omusajja gwenasooka okwegomba mu bulamu, ate nga yafuuka musajja wa buvvunaanyizibwa. Nali wakunyumirwa buli ddaakika gyenali ngenda okumala naye, awataali kulowooza ku Danny n’omukwano gwe gweyagaanira ku lwa Rhoda.
Nga twakatuuka e masaka mu kibuga, enkuba yatandika okutonnya ng’eringa gyebagoba mu ggulu. Andy yagezaako okuvvuga, nga naye enkuba nnyingi nnyo. Yafuna essundiro ly’amafuta netwewogoma awo nga naye enkuba etonnya obutakya.
Nga tuli mu motoka ng’eno enkuba bwefukumuka obutakya, Andy yantunulira nga mu butuufu empewo empiseemu. “Irene, ebirowoozo bikuli ludda wa mukwano?” Yambuuza ng’eno bwakute obugalo bwange okubunyweeza. “Mukama wa buyinza nti tuli wano obw’ababri mu nkuba eno!”
“Kati bwegaana okukendeera?” Bino nabimubuuza nefundikira olw’empewo. Yantunulira nga talina kyayogera…. Andy yanywegera!
Lindirira ekitundu ekyomusaanvu.