• November 23, 2024

Omutuufu n’atali mutuufu bonna mu ntandikwa bafaanagana! Kituufu oba nedda?

 Omutuufu n’atali mutuufu bonna mu ntandikwa bafaanagana! Kituufu oba nedda?

Bwotunulira abagalana abali mu mukwano n’obeesiimisa nti owaaye era bbo kale! Muli otuuka n’okwebuuza nti gwe walya ki atalina mwagalwa! Bwekituuka ku b’obwongo obutono, awo oli ng’afuna ekirowoozo ekigenda ku baganga okwefunira ku kaddagala k’obugaanzi, nga mu butuufu awulira kimussuseeko, ate nga n’emyaka gyegyo. Naye ate era mpawe kaaga, ogenda okuwulira nti omukazi oba omusajja bwebaali beyagala okufa obufi, nti bayawukana bubi nnyo nga buli alangira munne obulogo. Nze awo nemaliriza nga ngamba nti omukwano tebaguloga. Ate mpulira nti omukwano gw’eddogo bwegusaanawo, totawana kuwondera!

Katonda yatukola bulungi mu bintu ebisinga obungi, anti era batugamba nti twandebwa mu kifaananyi kye. Naye yatukweeka ekintu kimu mu bulamu bw’ensi eno, yatukweeka endowooza. Mazima tusisinkana abantu bangi, netumaliriza ng’abatuufu tubayise abakyaamu, netusalawo okugenda n’abakyaamu ffe betulowooza nti bebatuufu. Nakula mpulira nga batukubiriza okugoberera emitima gyaffe kyegitugamba, naye amazima gali nti emitima misiru, era nga tuteekeddwa kukozesa bwongo mu kifo ky’emitima.

Okusookera ddala ffenna twefuula bayiiya nga tuyingira ensonga z’omukwano. Omulimba akozesa ebigambo by’ebimu n’omutuufu byakoezsa. Emirundi egisinga omukyaamu ate ye akukyamukiriza nnyo, obulabo naleeta, bwaba musajja ssente nakuteekamu, naye nga ku nkomerero ya byonna, ayagala kukumanya bumanya agende. Mu bakazi, abamu aba alina bibalo bye. Mu basajja, nga’ayagala kuweza muwendo, abalala ng’ayagala kukwesomerako nti n’oyo namufuna era mumanyi munda ne ku ngulu.

Ebigambo by’okwagala binene nnyo okusinga ne bwetulowooza. Bwotandika okulowooza ku byozze olaba mu bantu n’omukwano wegubatuusiza nga bagunoonya, awo gwe notta ku bigere, n’ogamba nti owaaye kangire nga nindamu, kubanga nabagulimu bakaaba bukaabi.

Naye ate bwogenda okukirowoozako, nga mu butuufu tewali kabonero ka nkukunala nti kekano akalaga omuntu omutuufu. Mukama akusaasira busaasizi nga gwotomedde ye mutuufu. Kale singa waliwo akabonero akatuufu, oba okulabikirwa kwonna nti omuwala oba omulenzi oyo, ye mutuufu wo!

Mu butuufu obirowooza n’ovaako bive nga anti tewali kalambe kasobola kukwoleka mutuufu. Nze nno oluvanyuma lw’okubirowoozako nga sibimala, nenfuna ekibuuzo eri mwe abasomi baffe.

Ekibuuzo:

Ddala kituufu nti omutuufu n’omukyaamu ku ntandikwa y’omukwano, tosobola kubawula!? Ye bwekiba kisoboka okubawula, bubonero ki kwenyinza okubawulira?

Kozesa akabangirizi (comment section) tukubaganye ebirowoozo.

Webale!

Digiqole ad

Makanga Abubakar

https://gpraxy.com

Related post

2 Comments

  • Mubutuufu….omutuufu nomukyaamu bwebajja kiba kizibu nnyo okubaawula….katonda yasaasira

  • I think the admin of this site is really working hard for his
    web page, since here every data is quality based data.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *