Kigasa ki okwekuumira mu bufumbo omutali ssanyu?

“Nze simanyi na bwoyinza kummatiza nti tuula ofumbe, nga obufumbo temuli ssanyu. Ongamba otya nti otudde lw’abaana ng’omusajja akuweebula mu maaso gabwe (abaana)? Emiggo egy’olutatadde n’akamanyiiro, ye leero bwakusaanga nga tokola, nalyoka ajooga gwe nakomayo bukomi. Nze Admin nkubulire, ewaffe tebangobayo era bwenali nvaayo bakadde bange bangamba nti omusajja lwaligalula omukono gwe nti akukuba, olinyanga emotoka nokomawo ewaka, bwobanga tolina ssente za ntambula, otubuliranga netukuweereza.”
mboozi ya musomi waffe.
Bwofumitiriza ku bigambo by’omukyala ono, tolemwa kukiraba nti olumu abakadde abatuzaala babeera bakyaamu, bwebasalawo okutupikanga mu nsonga ezimu naddala ezo mu maka. Gwe tebeereza nti omuwala bamaze okumugamba nti singa omwami agezanga nkuteekako oluyi, komawo ewaka otuule. Tebafuddeyo ku kyakumuwabula nti omwami ayisibwa bwati oba akwatibwa bwati, nti naye gwe komawo ewaka singa ageza nakukubako oluyi.
Abakadde abatuzaala nabo bakoze`kinene mu kusatulula amaka g’abaana babwe mnu nebwobanga tolina za ntambula, otubuliranga netukuwereza. So nno munange mu biro biri, omukazi yalinanga okukangavvulwa singa aba akoze ebitagya nsa. Naye leero nga mwana w’ani gwoteekako oluyi, natakuyira sefuliya y’amazzi agookya? N’eno yabadde ndowooza ya musomi waffe.
Nga nange bwesitatera kwagala kwewunaganya bw’omu, ko nze kankibatunuzemu mwe abasomi baffe mutuwe u ndowooza yamwe.
Ekibuuzo:
Owagira omukyala agamba nti ye tasobola kutuula lw’abaana nga obufumbo bwa mbirigo?
Tujja kusanyuka okuwulira endowoozayo era netujikubaganyako. Webale!
