• November 21, 2024

Ssebbowa Mugonza.

 Ssebbowa Mugonza.

Yali musajja muyimbi nnyo kyokka nga kati mugenzi. Yazaalibwa mu bitundu by’Ebulemeezi eri mu balya naka, Era naziikibwa ku kyaalo Ggaangu_Busula mu Bulemeezi. [Omwaka mweyazaalibwa ne mweyafiira, njakubifuna nga ntuuse ku kigya weyaziikibwa.]

Amannya ge amatuufu ye Salongo George Ssebbowa Mugonza. Yali musajja mufumbo, mukyala we Nalongo Joyce Nabisere naye yali muyimbi era nga bayimba bombi.

Omwami ono Ssebbowa Mugonza yalina enyimba nnyingi, naye ng’oluyimba “Ebirungi birinoonya” lwelwasinga okumutunda ennyo mu bantu. Oluyimba luno luwanvu ddala era nga lwa ddakiika 17. Lwelumu ku nyimba ezikyasinze obuganzi mu kisaawe kya kaddongokamu.

Oluyimba “ebirungi birinoonya” abangi balumanyi nga akamasu kankute, lwaddibwamu emirundi ng’esatu, nga ye kenyini Ssebbowa yaluddamu mu situdio ez’enjawulo. Kubanga yasooka nalukwata mu 1987,  naluddamu mu 1990, era nebaluddamu mu 1994 mu situdiyo ya United Sounds Records oluvanyuma eyafuuka HK Studios, nga nyiniyo yeyali Hassan Kasule. Era abaliiwo ebiseera ebyo musobola okujjukira tape ezafulumanga nga zibeerako ekigambo HK STUDIOS. Wano nno mu 1994, ne Kato Ssekandi owa Bazira Guitar Singers naye yaliko nga balukwata, era nga yeyali sound engineer ng’oluyimba luno luddibwamu. Kato Ssekandi akyaali mulamu nga mukama akyamukuumye.

Oluyimba luno bwoluwuliriza obulungi, okiraba nti Ssebbowa ng’omusajja ayogerwako mu luyimba, yali musajja mutetenkanya nnyo; omwavu ate omugezi. Obufumbo ng’abutambuliza ku ssuubi nti eza gomesi zikyagaanye kangule mivumba! Oluyimba luno lwagulibwa HK Kasule nga kati naye mugenzi. Kasule yali nfa nfe wa Kasozi Livingstone.

Bantu bangi ensaangi zino nga bwoyogera ku linnya Ssebbowa Mugonza, akamasu kankute lwe luyimba olubajira mu mitwe…. Mbaziira Tonny owa CBS yalugattamu ebidoongo era ng’abavubuka balweyitira “akaliga ka simon kazadde akaweewo!” Lwe lumu ku nnyimba za kaddongokamu olusinga okutambula ku TikTok.

Ssebbowa yali muyimbi mulungi ddala, era nga bwowuliriza ennyimba ze, tolemwa kukitegeera nti ddala yali muyimbi w’amaanyi. Yalina enyimba endala nga;

Nassuna ankyaaye

Omukwano Gwa Mega

Mpulukutu za musota

Empisa mu maka

Omusambwa gwe Mombasa

Nendala nyingi…..

Ssebbowa Mugonza yayimbiranga mu kibiina kya Picking Guitarists nga nyinikyo bamuyitanga Kasajja.

Ebyo byebitonotono ebikwata ku Ssalongo Ssebbowa Mugonza [Akamasu kankute] byenasobodde okufuna nga nyambibwako Mw. Charles James Mugenyi. Lunaku lumu ninna esuubi nti njakukuleetera abamu ku b’enganda ze, sinakindi abamu ku baana be.

Digiqole ad

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *