Omukazi yankola ekivve, naye nkoze ntya?
Ssente zembataddemu tezaalinnumye nnyo, wadde ng’abasinga zebasinga okukaabira! Kino nandikibaze`ng’okufiirwa okw’engeri yonna, naye obuzibu nti nkuliridde mu myaka, ate nga n’obulamu nsigaziza butono ddala wano ku nsi olw’endwadde ya kookolo ensenkenya.
Admin ne basomi bannange mbalamusiza nnyo nyini ddala, nti mwebale gyonna gyemutuusaako engalo. Nange gyendi eno naye nsobeddwa ewaka ne mukibira olw’obulumi bwempulira ku mutima.
Mpangaadde ne mukayala wange ono okumala emyaka kati kumi na musaanvu nga tuli bufumbo obutambula obulungi, nga tewali kwemulugunya nti kino oba kiri. Mu bufumbo buno mwetuzaalidde abaana baffe babiri, omuwala n’omulenzi nga bwetwateesa nti tuzaale batono betusobola okulabirira. Omulenzi awezeza emyaka kumi netaano, ate omuwala nga kati alina kumi nebiri.
Mukyala wange ono namufunira mu mbeera nga sinafuna bulungi ssente, wadde era nga tetwali bubi nnyo ddala. Wenjogerera bino, nga kati tulina eby’obugagga ebiwerako ddala.Tubadde mu bufumbo obw’essanyu, okutuusa jjo ly’abalamu wano wenagwiridde ku kyaama omukazi kyaludde ng’ankisiza.
Nga bwenakugambye nti eby’obugagga byo tulina ebiwerako, bwentyo nali awo nenfuna ekirowoozo nti ki ssitwala baana bano ku ndaga butonde (DNA) okukakasiza ddala nti baava mu ntumbwe zange! Kino nno tekyaava kukuba nti nali mbuusabuusa mukyala wange, naye nange sitegeera ki kyantankuula okutinkula obulumi kati obubula okunjuzayuza omutima.
Munnange nga nnimbalimba baana nti bamperekereko mu ddwaliro batwekebejje emibiri, ssikulwa nga waliwo ebituluma nga tetumanyi. Kino nakikola lwa nsonga nti nali sagala kumanyisa baana bange ki kyengezaako okunoonyereza. Ebyaava mu musaayi bantu bange byandeka mpulubadde, nga ne kati simanyi ki kyakukola. Abaana bulijjo bempita abange, mazima tebalina kakwate konna na butonde bwange…. Abaana ssi bange!!
Mu butuufu nawuunga naye nenegumya masajja nenzira ewaka. Ndi waka mpita mu bulumi obutagambika buli lwentunulira mukayala wange n’abaana beyansiba. Nebuuza eky’okukola nga naye sikitegeera yadde akatono. Omukyala tanaba kutegeera nti byayita ebyaama mbirina mu taano. Omukyala muli akiraba nti waliwo ekintawanya, era jjuuzi yambuuziza naye nemulimba nti obweralikirivu bweninna buva ku mulimu.
Obusungu, obulumi, okwejjusa, okwekubagiza, okusoberwa, byonna awamu bibula okunzita. Kookolo naye annumira ku luuyi lulala… Muli nebuuza nti nasobya wa, omukyala okunkola ekintu ekyenkanidde wano!? Mukyala wange talabika nga bakyala balala bolaba ng’amaaso gabali mu ngalo. Naye obuzibu bwava wa? Kale mulinako obukyaayi obusingayo, muli nebuuza na lwaki sinaba kumukola kikyaamu!
Basomi bannange mumpe ku magezi, ddala ki kyemba nkola? Omukazi mwatulire? ye bwemwatulira, tugenda kuwunzikira wa? Abaana bembadde nenyumirizaamu, mazima bagenda kundaba batya nga bategedde nti ssi nze kitaabwe abazaala? Ntambule butambuzi ngende n’ensi bwentyo nfiire eyo mukama yalimanya? Mumpe ku magezi banange nkole ntya?