• November 21, 2024

Abantu abalowooleza ennyo mu mukwano wakati mukweralikirira.

 Abantu abalowooleza ennyo mu mukwano wakati mukweralikirira.

enakku eruma

Ensaangi zino buli kimu kizibuwadde mu ngeri yakyo. Okutandikira ddala ku mbeera z’abantu mu bulamu obwa bulijjo, okutuukira ddala ku neyisa z’abantu mu mukwano.

Omukwano buli omu agunyumyako bubwe. Naye bwegutuuse ku bantu abafumitiriza n’abo abalowooleza ennyo wakati mukweralikirira, awo negujabagira. Abantu abo bambi basisinkana okusomooza okw’amaanyi nga bageezako okubikula emitima gyabwe eri abo bebaagala.

Okulowooleza ennyo eri munno, ky’ekimu ku ebyo ebisinga okusuula omukwano mu matigga. Naye abantu aberalikirira ennyo tebasobola kwewala kulowooleza abo bebagala. Obulamu bwabwe bwonna babeera mu kusabirira nti singa lumu basisinkana abo abasobola okubategeera era nebabagala nga bwebali awatali kubanenya.

Obuzibu bwebasinga okusisinkana nga bali mu mukwano, kwekuzimbulukusa buli kintu. Bafaayo nnyo ku biki omwagalwa byayogedde, eddoboozi mu njogera ye, entunula ye nga waliwo omugenyi, nabuli kintu kyewandirowoozeza nti tekirina makulu, ku bantu bano kibeera kirina. Mu kulowooleza ennyo, bawunzikira mu bulumi bwerere.

Abantu bano bayita mu bulamu obutali bwangu ate nga ssi lwakuba babunyumirwa, naye oba oli awo nga bwebatyo bwebatondebwa…. Abantu abafumitiriza ennyo wakati mu kweralikirira, babeera n’ekibuuzo kimu buli ssaawa “watya?” Watya nafuuka watya mu mitwe gyabwe.

Ki kyebasinga okwetaaga eri ffe bebagala?

Okubakakasa nti tuli wamu nabo awatali kubasalira musango.

Wadde nga gwe olaba nti ebimweralikiriza temuli, mukakase nti buli kimu kiri bulungi. Nti ofaayo gyaali. Nti wooli ku lulwe. Mwatu kyandiwulikika ng’ekyobutumbavu, naye munange abantu baffe abo basiima nnyo okuwulira ebibazaamu amaanyi.

Omuntu alowooleza ennyo, n’okumwesirikirira nga toddamu bubaka bwe, kimala okumuwa olunaku oluwanvu awatali mirembe yadde. Muli kimuleetera okulowooza nti alina omusango gweyaziza gyooli.

Nga bakayingira omukwano nabo bebagala, beralikirira nnyo kumpi ku buli ekibeerawo. Batya nnyo okubeera awantu awakyaamu; okubeera mu mukwano nga tebagalibwa. Naye oluvanyuma lw’akaseera ng’okoze ebyo ebimukakasa nti ayagalibwa, ogenda okulaba ng’okutya kwe kugenda kusaanawo.

Talibeera mukakafu mu mukwano, okuleka nga gwe amukakasiza.

Abantu abalowooleza ennyo wakati mu kweralikirira, basisinkana obuzibu mu kusalawo wadde ku buntu obutono. Buli kadde agenda kukubuuza ki kyolowooza ku nsonga eno n’eri, ki kyokuumidde mu birowoozo, na butya bwayinza okukusanyusa. Tekiri bwekityo nti lwakuba abeera tasobola kuyimirira ku magulu ge nakola okusalawo, naye abo basisinkanye mu biseera by’emabega bebamuleetera obutekiririzaamu.

Kitegeere nti ssi musango gwabwe okubeera bwebatyo. Gezaako okubategeera mu bwesimbu.

Bwomubuuza nakuddamu n’ekigambo kimu, manya nti waliwo ekitali kituufu mu birowoozo bye. Bwakugamba nti “ndi bulungi” manya nti tali. Bwakuumira amaaso ge ku ssimu, manya nti alina obubaka bwalinze okusobola okumuzaamu esuubi. Bwomusaanga atambula ng’ayanguliza, manya nti yeralikirira okutuuka kikeerezi gyalaga. Bwabeera ku mukolo ng’azingidde emikono gye ku bibegebega, manya nti alina ebimweralikiriza wadde ng’ali mu kifo eky’essanyu.

Buli muntu alina obuzibu bw’okweralikirira wakati mu kulowooleza, manya nti ayita mu bulamu obutali bwangu. Oluusi bambi bakola ebyo byebatagenderedde kukola. Bagala okubayiga mu mbeera zonna. Okuyiga obunafu bwabwe. Okuyiga ebyo ebibakwatako wadde birungi oba bibi.

Bwobeera n’omuntu alowooleza ennyo, bambi faayo nnyo ku bimweralikiriza obyewale. Okumusibuula n’ogenda ku lugendo oluwanvu, nakukubira amassimu nga togakwata, obeera omutumye kwenyamira ng’alowooza ebiringa ettaka.

Bwakola ensobi wadde nga ntono nnyo ate gwe n’ogifuula enene, tobeera mwenkanya gyaali. Kubanga abantu abo bekangavula nnyo okusinga nebwebakangavula abalala, olw’okuba tebagala kunyiiza abo bebagala.

Bafaayo nnyo. Bafaayo nnyo okukola n’okwogera ebyo ebituukiridde. Okusanyusa abalala ekyo kyebasinga okufaako mu bulamu. Batya nnyo okweralikiriza abalala. Era bwoba osobola okukitegeera nti ensibuko y’okweralikirira kuba kufaayo nnyo na kwagala, amazima obeera omuntu musufu.

Omuntu agwa mu kiti ky’abantu abo wagulu, abeera n’omukwano ogutuukiridde.

Omuntu eyeralikirira ku buli kintu, talikiririza mu ekyo kyaali nti atuukiridde. Ye nebwoba gwe, osobola otya okukiririza mu ekyo kyomanyidde ddala nti kinyiiza abalala? Nga omwagalwa eri omuntu ow’ekika kino, oteekeddwa okumwagala naddala mu kaseera nga yeraba ng’atagwanidde kwagalibwa, nga yeraba ng’atasobola kukwagala kimala.

Mulimu gwo okumwagala mu biseera womulabira nga aweddemu esuubi. Mulimu gwo okumwagala ng’okumukakasa nti agwaana omukwano awatali kweralikirira. Mulimu gwo okumukwata ku mukono mutambule nga wadde ebirowoozo tebikyamuganya kusitula bigere. Amassimu gakukubira amangi, obubaka bwakusindikira buli kadde, abeera tagenderedde kukumalako mirembe, abeera ayagala kukiwulira nti omufaako nga ssi ye kukwesibako.

Ku nkomerero ya byonna, ki kyoganyulwamu okubeera n’omuntu alowooleza ennyo wakati mu kwerakirira? Abantu abo balina omukwano omutuufu. Tasobola kukweralikirirako nga tomuli ku mutima! Abantu abo bwakwagala, akwagala wenna nga bwooli. Akukuumira obwesigwa kubanga ye gwe amutegeera. Talikoowa kufaayo gyooli. Bbanga lyonna alibeera akusiima olw’okufaayo kwomulaga.

Digiqole ad

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *