Abantu ab’akaseera mu bulamu bwaffe!
Abantu abamu bayingira mu bulamu bwaffe nga tebateekeddwa kubeerawo bbanga lyonna, nga nebwetugezaako tutya okubakuumira ku lusegere lwaffe, bamaliriza bakutte ekkubo nebagenda.
Kino tekitegeeza nti tulina kwejjusa lunaku lwetwabasisinkana, nedda! Tulina kukitegeera nti waliwo ensonga ennungi lwaki bayingira mu bulamu bwaffe wadde nga bakumalamu akaseera katono nnyo. Abantu bano tuyinza okubagala ennyo okusinga newetwandikomye, naye ekyo tekiteekeddwa kutwerabiza nti oluusi babeera ba kaseera buseera, nga era balina okugenda.
Kintwaliddde ebbanga okukitegeera nti n’emikwano egisingayo okwegombesa mu nsi eno, gimala negikoma awatali nsonga nti yeeno. Kiruma nti oluusi tufiirwa abo betulowooza nti babadde bakubeera ku lusegere lwaffe okumala ebbanga lyonna, naye nekitabeera nga bwetulowooza.
Ku ntegeera yange kati, nzikiriza nti obutabaawo bw’abantu abo tebuteekeddwa kutwerabiza birungi byetwagabana nabo mu biseera ebyo nga batuli ku lusegere. Era kati ndi musanyufu era nga nsiima ebyo byonna byenayiga okuva gyebali, okusinga okwesiba ku bulumi bwenafuna mu kaseera ako nga bakagenda. Abantu ab’akaseera mbalowoozako nga bwolaba zi malayika ezitusindikirwa. Abantu bano bajjira mu kaseera wetubetaagira nga nabo batwetaaga…. Tubawa eby’okukola, era mu kizikiza ky’obulamu bwetubeeramu, nebatuwa ekitangaala mu kadde ako.
Sigamba nti buli ayingira mu bulamu bwaffe abeera wa mugaso gyetuli, naye njogera ku abo abagatta emyoyo gyabwe ku gyaffe obulamu nebugonda. Ssiri nnyo munnaddiini, naye bingi byenzikiriza ng’omuntu. Nzikiririza mu ntuuko, era nzikiriza nti bangi betusisinkana mu kkubo ku lugendo lw’obulamu, nga bebabeera balina omumuli okutumulisiza gyetulaga, wadde nga tebabeera bakututuusa eyo yonna gyetulina okutuuka.
Bwentunula emabega gyempise nga ndi ku lugendo lwange olw’obulamu, bangi mbasisinkanye lwa nsonga…. Bangi sikyamanyi bibafaako, naye nsiima kyonna kyenabayigirako wadde ng’akaseera kaali katono ddala.
Obadde okimanyi nti waliwo abantu abajja gyetuli ng’ekigendererwa kyakuvumbula ebyo ebirungi ebikwekeddwa munda muffe?? Amazima ddala olumu tubeera mu bulamu obujjudde enzikiza, naye nga waliwo omuntu agenda okujja ng’ogugwe gwakunasula switch y’etaala eyake nate mu bulamu bwaffe, ate ye akwate ekkubo agende. Abantu ng’abo tetutekeeddwa kubanyigira nti lwaki bakwata ekkubo nebagenda, tulina kusiima busiimi olw’okuba nti bajja gyetuli.
Waliwo n’abantu abajja gyetuli ng’ekibaleese kutusomooza ku ebyo byetubadde twekakasa okubeera. Teebereza nti gwe obadde wemanyi nti tokyasobola kugwa mu mukwano na mwana wa muntu ku nsi eno, naye ate ye nakukakasa nti akusuula mu mukwano, ate olumala n’agenda…. Omuntu oyo akuleka otegedde obunafu bwo webuli. Abeera alina okugenda kubanga ogugwe gubeera guwedde nga naawe wezuudde nti omukwano gukyalimu munda mu gwe. Bino byonna biraga nti tuteekeddwa okusiima abo bonna betusisinkanye wadde nga bamala nebatulekawo.
Nsisinkanye abantu bangi mu biti eby’enjawulo, nga nabamu mbalabidde ku mutimbagano, naye nga sibalabangako mu buntu. Abasinga bakwata ekkubo nebagenda, naye kasita byenabayigirako byasigala nange. Ssigya kugamba nti mbagala nnyo olw’okuba baagenda- naye ate ebiseera ebimu nesaanga nga mbasubwa. Ssibalowoozaako mu bubi kubanga byenabayigirako byasobola okusiimuula obulumi bwenali nfunye nga kyebajje bandeke.
Ku bingi byenabayigirako kwensinziira okugamba nti oba oli awo balyoka nebagenda, osaanga singa bamala ebbanga eddene mu bulamu bwange, sandisobodde kubako kyenjiga okuva gyebali… Oba oli awo ebigendererwa byabwe ebirungi n’obubaka bwabwe byandibulidde mu bingi byetwandiyisemu… Nga n’ekisingako obulungi kwekubaleka bagende, nate basimbe ebibala ebirungi mu bulamu bw’abalala.
Nva wagulu nga ngamba nti tetuteekeddwa kunyigira abo abatulekawo nebagenda…. Kubanga wabeerawo eky’okuyiga kyebaleka emabega wabwe ate nga kiyamba ffe.
Olina gwewaleka n’ogenda, nga nawe bwewaliwo eyakuleka n’agenda…. Obulamu bwebutyo!