• November 23, 2024

EBYAFAAYO

Gpraxy mukutu ogwetengeredde nga tuwandiika ku nsonga z’omukwano mu abantu abatanayingira bufumbo. Tuwandiika Luganda kubanga lwe lulimi lwaffe olusokerwako. Tuwandiika Luganda okusobola okunoganya ensonga z’omukwano mu bantu awamu nokuwa amagezi mu ngeri emu oba endala.

Okuwandiika tekubangako buzibu bwaffe. Tusobola okuwandiika emboozi yonna ku mulamwa gwonna okusinziira ku mbeera ebeerawo. 

Tusobola okuwandiika emboozi ezaliyo ebyaddala oba okuwandiika emboozi zetufumutiriza obufumitiriza.

LWAKI GPRAXY

Twatandika Gpraxy n’ekigendererwa eky’okuwandiika ebyo ebikwata oba okutuuka ku bantu mu mukwano.

Abantu bangi bali eyo bangi nga batubidde mu bizibu bingi ebifubutuka mu kwagala. Omuntu omu asobola okulowooza nti embeera gyalimu, tewali muntu mulala yali agiyiseemu. So nga ate amazima gali nti ffenna tusisinkanye okusomoozebwa kungi mu kisaawe ky’okwagala. Nga tuyita ku mukutu gwaffe GPRAXY, twagala tuwandiike ebyo ebiruma ebituuka ku mitima gy’abantu. Eky’okulabirako, olina gwewayagala nalemwa okutegeera nti omwagala, ki kyewali oteekeddwa okukola? Gpraxy wetuyingirirawo n’emiramwa egy’enjawulo okuvva ku miko egy’enjawulo gamba nga, Byendaba, Ekibuuzo, Emboozi,…..  Nkusuubiza emiramwa, emboozi, n’okukubaganya ebirowoozo nga byonna bijjudde ebibala eri gwe omusomi waffe.

Webale nnyo!

BETUKOLA NABO

Kawempe Address

Kawempe Lugoba ku kidda e Katooke.

Kampala Address

Makerere Hill Road okumpi ne Makerere College.

Gpraxy mukutu oguzimbiddwa obulungi.

Ayagala okulanga naffe  kuba ku namba z’essimu zino wammanga;

+256784784545

+256778056780