Alikwata ekkubo nakomawo, bwaba nga ddala yali akwagala!
Omukwano lugendo. Olugendo olujjudde embeera ez’enjawulo. Wakati mu lugendo luno tukola okusalawo. Okusalawo nti tusigale nga tulwaanira abo betwagala, oba okubaleka okugenda. Musobola okusigala nga mugezaako kyonna ekisoboka okukuuma omukwano gwamwe. Ng’abasinga obungi bwebatera okugamba, bwoba omwagala, tomuleka kugenda; munoonye yonna gyomusuubira okubeera, lwaana okutuusa ng’omufunye, obeere naye ka kibe nga ki!
Ddala ekyo kyebayita omukwano?
Ddala omukwano kuba kukaka mbeera? Okukaka ekyo kyolabira ddala nti kigaanye? Okwesiba ku muntu atakuliiko mbu gwe lwakuba omwetaaga, kyebayita omukwano? Ye abaffe, ddala okubeera mu mukwano kitegeeza kwefaako wekka, awatali kulowooza ku balala bwebawulira gyetuli?
Ebibuuzo ebyo wagulu nsobola okubiddamu mu ngeri yange. Obulumi, amaziga, obukambwe, n’obutagumikiriza, bwebissukka mu mukwano, guleke gugende. Omukwano ogwakuwaanga esuubi bwegufuuka ebimu ku bikuza emabega, guleke gugende. Omukwano bwegufuuka ogw’okukaka nga nawe okiraba nti munno takyakwetaaga, muleke agende.
Newankubadde kikuluma okumulaba ng’agenda, naye muleke agende!
Kituufu, ebiseera ebimu omukwano kuba kukwatiriramu. Naye ng’ebintu ebirala byonna wano wansi w’enjuba, n’omukwano gwetaaga okuba ogwekipimo. Kwatiriramu, lwaana, naye bwekiba nga kigaanye, tokaka mbeera. Okuleka omuntu agende, nagwo guba mukwano – omukwano gubamu okwerekereza wakati mukwagaliza.
Abantu abamu balina enjogera egamba mbu “omuntu akwagala, takuleka kugenda!” Ebitundu 80 ku 100 mpakanya enjogera eyo. Amazima gali nti, waliwo ekiseera lwekituuka nga mulina okwawukana buli omu akwate ekkubo erirye. Kino tekitegeeza nti bukyaayi yakulembera mu kusalawo kuno.
Omukwano kintu kinene. Nze sikugamba nti nkwagala kubanga nkifunamu, nkikugamba nkitegeeza.
“Nkwagala nnyo!” Kino tokyogera kubanga oyagala omukwano gwaffe gubeere mugumu, olw’okuba toyagala nfune kubuusabuusa kwonna, y’ensonga lwaki okinzijjukiza buli ssaawa! Lwaki obikirira enjatika eziyiinza okuba nga ziri mu mukwano gwaffe? Zireke zirabike, oba oli awo zeziyiinza okutulaga wa gyetulaga!
Togamba nti onjagala kubanga oyagala kumatiza mutima gwange nti buli kimu kiri bulungi. Njagala oteeke ekitiibwa mu bigambo bino ebibiri (nkwagala nnyo.) Bwekiba nti obyogera lwakuba bikwanguyira, okusinga okuddamu ebibuuzo byembeera nkubuuziza, awo omukwano gwaffe guba guli mu matigga.
Nze nawe njagala tufumitirize ku lugendo lw’omukwano gwaffe. Singa ofuna endowooza endala wakati mu lugendo luno, ng’oyagala kusooka kudda bbali olowooze ku biseera byo ebyomumaaso ng’omuntu, tekirina buzibu njakukuleka ogende. Kola kyoteekeddwa okukola. sijja kukukaka kusigala nange wadde nga eky’okundeka okugenda, kyensinga okutya. Sijja kukwesibako. Njakukuleka ogende yonna gyoyagala…. yonna gyoloota okugenda.
Njagala olonde ebyo ebikulu mu bulamu bwo. Njagala osalewo ku lulwo, nga ssi lwakuba nti nze akuwaliriza.
Tekirina buzibu ku bintu bimeka ebinatuukawo mu kaseera nga tetuli ffembi, abo abalina omukwano ogwa ddala, babeera n’obwesigwa eri abo bebagala. Nzikiriza nti bwoba onjagala bya ddala, olikwata ekkubo nokomawo. Omukwano ssi kusiba muntu lujegere mu bulago nti asigale nawe, omukwano liba ddembe era ndikuwa obuuke ogende yonna gyoyagala.
Njagala okulakulane mu bulamu – byoyagala, byokiririzaamu, ne mu birooto byo. Nzikiriza nti ojja kubeera muwanguzi. Njagala ovvumbule ebipya nga toli nange. Njagala ofune essanyu lizibikire ebituli byewafuna mu biseera by’emabega.
Essanyu lyonna mu nsi lyewetaaga, ndikuweesa mikono gyange gyombi awatali kukwatibwa nsaalwa…. Omanyi lwaki? Kubanga nkwagaliza kisinga mukwano gwange.
Olw’okuba nkuleka wakati mukwagala, njakuyita mu bulumi n’enaku ebigenda okunesibako ng’ogenze. Ate bwekiba nti omukwano gwo gubadde gwa ddala gyendi, nawe ogyakuyita mu binakunyiga nga toli nange. Okwawukana tekubangako kwangu, mu butuufu teri kyangu mu nsi muno nga kikwatagana n’omukwano wakati w’ababiri…. Omukwano ky’ekintu kyetukolerera n’amanyi gaffe gonna okusobola okukifuna awamu n’okukikuuma.
Ekituufu kiri nti, sigenda kukulinda. Nange njakukula, njakulowooza ku bulamu bwange ng’omuntu, ebiseera byange ebijja njakubiteekako essira. Naye wakati mu byonna, njakusigala nkwagala. Ye ate abaffe, okusobola okusiimula oyo gweyagala okuvva mu mutima gwo? Tekisoboka ge mazima.
Bbanga lyonna ogenda kusigala wano, ng’oliko akalambe mu mutima gwange. Singa olunaku lumu, tukeera netusisinkana, era nga buli omu akyawulira eky’enjawulo eri munne, ng’emitima gyaffe gikubira kumu kumu olw’omukwano gwetukuumidde ebbanga eddene, awo kijja kuba kitegeeza nti twatondebwa kubeera wamu. Tujja kuzikula kyetwaali tuziise ebuziba w’emitima gyaffe.
Tusobola okukikola nate, kiririza mu ntuuko zaffe!
Bwolikwata ekkubo okudda, nkimanyi nti ojja kuba mulamba. Nkimanyi nti sijja kubeera kintu kigenda kuziba bulumi bwofunidde gyobadde, naye njakubako kyengatta ku ssanyu lyo.
Bwolikwata ekkubo okudda, njakubeera mwetowaze era nkukirize mu bulamu bwange. Njakwanjuluza obutali bulongoofu n’ensobi zaffe mu kifo ekitangaavu okusobola okutandika obulamu obutaliimu byaama bikweeke.
Bwekiba nti omukwano gwa ddala, buli omu ajja kusonyiwa munne…. omukwano kusonyiwa. Tujja kuleka kusonyiwa ayingire mu mitima gyaffe, nga twesonyiwa ebyo ebibadde mu bulamu bwaffe obw’emabega.
Bwolidda gyendi, njakukwagala okusinga nebwegwaali mu kusooka. Njakukwagala okusinga ekintu ekirala kyonna mu nsi eno. Njakukwagla muntu wange, era bwewaliba tewali nsonga nkulu kunkaka kugenda, amazima sirikuleka mulundi mulala. Njakubeera kiwumuliro kyo.
Nzikiririza mu ntuuko, era bwolibeera wange, olimala n’okwata ekkubo okudda gyendi.
Kubanga ku nkomerero ya byonna nga buli kimu kiwedde era nga byonna byogeddwa, nebwetuligezaako tutya okwawukana nti buli omu akwate erirye, tulimala netusisinkana. Tekirina nsonga oba waliba wayisewo myaka emeka, oba tuliba tusisinkanye abantu bameka, omukwano omutuufu gumaliriza gwekoledde ekkubo etuufu.
Alikwata ekkubo nakomawo, bwaba nga ddala yali akwagala!

3 Comments
Nzikiriziganya ne mboozi Eno ekwaatagana nomukwano…. oluusi enjawukana ebeerawo wakati w’abaagalana ate erina etafaali lyeyongera Ku mukwano gwamwe “singa” muba mwesanze nga mwe mukyayagala okuddingana oba okutandika obugya
Omukwano ssi mwangu naddala nga mutandise okufuna ebibatabula tabula
Omukwano ssi lujegere nti buli omu Alina okusibira Awo munne
Omutima bweguba gumugamba nti Alina okweyongerayo akuleke omuleka n’agenda era n’agezaako ewalala naye bwemuba mwatondebwa kubeera mwenna alikwata ekkubo nakomawo gyooli nemutereeza ebtaali byasoba era nemutandika obulamu obugya
Bwemutuula nemwejjukanya ensobi ezabaviirako okwawukana, mulabira ddala nga zali nsanga nnafu Nnyo era kyongera n’okubajjukiza nti mwali mwatondebwa kubeera mwembi era mwongera n’okunyweeza omukwaana gwamweee guleme kuddamu kusaanawo n’ate
Enjawukana ezibeerawo zileetebwa emibiri n’ebirowoozo naye nga emitima giba tegikkiriziganyizza nakyo.