Amazima agakaawa mu nsi y’omukwano.
Obulamu lugendo omuntu lwatambula okutuusa lwawumula. Abantu abasinga bategeera ekyo kyebagala okubeera mu bulamu ku myaka emito ddala. Eky’omukisa omubi, nze bwenali nkula saali nga bantu abo. Saalina kirowoozo ku ki kyenalina okukola okusobola okwebeezaawo, wa wenali neraba nga nterezeza obulamu, oba ekigendererwa kyange mu bulamu. Naye, nali nkimanyi nti netaaga okugwa mu mukwano n’omwana w’omuntu, batusomeko mu byawandiikibwa oba abayimbi bannakinku batuyimbeko mu nnyimba zaabwe.
Ebintu ebisinga obungi mu bulamu bikaluba, binyiiza, ate nga bitiisa mu ngeri zaabyo. Nze natunulira omukwano ng’ekintu ekimu kwebyo byenyiinza okugamba nti bisigala birungi obudde bwonna. Kyangu ate kifugika__ Nga singa mba nkizudde, mbeera nina eky’omuwendo.
Ekituufu kiri nti okubeera mu mukwano kinyuma. Ensi nebweyetoloola etya ng’olina omukwano, tokosebwa wadde okulumwa… Kubanga obeera olina ekisinga obulungi mu bulamu. Naye nno wadde kiri kityo, n’abalina omukwano gwetuyita omulungi basisinkana okusomozebwa mu bulamu. Omukwano gwonna gubeeramu ebiwonvu, ebikko, ensozi empaanvu gambalagadde, awamu n’ebyokuyiga nga bingi.
Ku myaka gyenina, nsobodde okukola okunonyereza ku kintu kyenalinamu esuubi era nenkizuula nti wadde omukwano gunyuma, waliwo amazima agatewalika mu bulamu bw’omukwano… Era gegano wamanga genjagadde okugabanako nawe.
Tugwa mu mukwano olw’ebyo byetusuubira mu banaffe, so ssi bbo benyini ng’abantu.
Ekyo ffenna tukikola. Nkimanyi nti waliwo abo abagamba mbu bbo bagala bantu so ssi buwanguzi bwaabwe. Wali obaddeko n’omuntu ng’akuwaana mwebyo gwe byolaba ng’ebitaliimu? Ayinza okukugamba “Naye kale mwana gwe oli mugezi ate ng’oli mulungi, kyenva nkwagala!” Muli nekikureetera okwebuuza nti bwebulikeera nenkola eby’ekitumbaavvu, ddala alisigala anjagala? Kuba muli obeera omaze okukimanya nti akwagalako magezi, so ssi gwe ng’omuntu. Naye nno munange singa okeera nawe mwenyi newekubamu ekitangaaza, ojja kukizuula nti nawe abantu boyagala wabeerawo ensonga ezikusika okubagala… Nga silwakuba nti obagala ng’abantu!
Okutegeera omuntu obulungi kitwala akadde, era nga kiyita mu mitendera. Osooka kufuna ndowooza “naye banange, kirabike ndi mu mukwano n’omuntu ono!” Otandika okumwewulira muli mu gwe, nekikuleetera okumwemalirako mu birowoozo. Omuntu oyo obeera tomumanyi. Esuubi ly’obeera omulinamu lyerikuleetera okulowooza nti omumanyi.
Abantu (nawe nga mwooli) omukwano bagubeeramu lwa kweyagaliza.
Nga nkyaali mu myaka egy’okuloota, nali nsuubira nti lumu ndifuna omuntu bwetuligenda ku mwezi ate netukomawo, nali ndowooza nti amaanyi gange galiba mukusanyusa muntu oyo. Naye amazima gali nti, nali njagala anjagale, ng’anfaako, ng’ankuuma, nga kwogase n’okunsanyusa. Gwe tokirabamu okweyagaliza?
Eyo y’engeri emu omwana w’omuntu gyayagala okuwulira; ng’asiimibwa, ayagalibwa, ategeerwa mu mbeera zonna. Okuleka nga gwe oli mulimba bulimba, naye emirundi egisinga obungi tuyingira omukwano nga tusoose kwerowoozako ku biki byetusuubira okufuna mu mukwano ogutandika. Muli olowooza nti essanyu lyo n’essanyu lya mukwano gwo bisobola okubeera ekintu ekimu.
Mu mukwano suubira okulumya mukwano gwo.
Ng’abantu abasinga obungi abatanaba kusisinkana mukwano ogwa ddala, simanyi lwaki nyanguwa okulumizibwa, ate bwenumizibwa, nsigaza obulumi obwo okumala akaseera, bwekiba nga ssi bbanga lyonna. Omuntu bwannumya oba nandyamu olukwe, mpita mu kaseera nga sisobola yadde okukuba kafaananyi ng’ali ku lusegere lwange.
Mu butamanya nali ndowooza nti mu nsi wabeerayo omuntu omu atuukiridde ku lulwo; nga mwesigwa, nga muntu mulamu… Naye munange, nali mukyaamu ddala. Abantu baliwo kulumya bantu bannaabwe. Ku nsi tekuli muntu atuukiridde, mu butuufu tekuli muntu yadde omu bwaati agezaako okubeera omutuukirivvu. Abantu banyiiza. Bogera ebirumya olw’obusungu; abamu babyogera tebagenderedde, abalala nga bagenderedde kubanga bwebatyo bwebabeera bawulira.
Naye nze kyemanyi kiri nti, omuntu bwobeera omwagala nnyo, nebwakunyiiza obeera nebimuwolereza, era n’ofuna wotandikira okumusonyiwa. Bwekiba nga gwe alumiza oyo gwoyagala, ogezaako kyonna ekisoboka okusangula ensobi zewakola ku muntu oyo.
Kizibu okukuuma omutima gwo nga muggule akabanga konna ng’oli mu mukwano.
Togenda kubeera mu mukwano n’omuntu wo buli kadde. Eky’amazima, waliwo akaseera wogenda okuwulirira ng’omuntu wo tomwagala nga bwewali olowooza, era naye agenda kuwulira kyekimu gyooli. Ku luuyi olumu, ssi musango gwe, oba nti gugwo. Kyabutonde okuwulira bwotyo, era nga tekitegeeza nti oteekeddwa kufiirwa omuntu oyo.
Bwewaba waliwo ekintu kyenjize mu bulamu, y’engeri gyetuwulira nga tulowooza nti tetusobola kwerabira__ kyonna kyetuwulira, kirungi oba kibi, kimala nekiyita nekigenda. Eky’okulabirako, ng’enaku ezimu bwenyumirwa omulimu gw’okuwandiika era nga njagala nkikole okumala obulamu bwange bwonna, ate enaku endala nempulira nga njagala nkwate ka laptop kange nkakasuke wabweru kasesebbuke…. bwegutyo ne mu mukwano olumu bwetuwulira ng’abagalwa baffe tubetaaga, ate olulala newebuuza lwaki wesibidde ku muntu oyo? Ndi musanyufu okukugamba nti ekyo tekitegeeza nti abantu baffe tubeera tetukyabetaaga…. Ensi bwetyo bwetambula..
Kizibu okubeera mu mukwano nga tolimu kutya.
Nkyaawa okubeera mu kutya. Okutya kya buntu naye bwekituuka mu mukwano, ebeera nsonga ndala nnyo. Okutya kutera okutambula n’omukwano ogwa ddala, era ng’emirundi egisinga obungi omuntu atalina mukwano gwa ddala, kibeera kizibu okufuna okutya ng’ali n’oyo gwagamba nti ayagala. Omuntu gwoyagala ennyo obeera otya okumufiirwa. Omukwano gyegukoma okubeera ogwa ddala, n’okutya gyekukoma okubeera okwa ddala.
Okwagala ennyo omuntu kitegeeza kwebikula wenna ng’okimanyi nti lunaku lumu asobola okukeera nakulumya ekigenze ewala. Era kitegeeza nti otya okumufiirwa, era nga kisoboka omu ku mwe okufa nalekawo munne__era nekitegeeza nti otya gwe mwenyini okwefiirwa. Ekisinga okunyuma oba okunyiiza mu mbeera eno yonna, okutya mu mukwano tekutera kuwulikika nga kutya okwabulijjo. Olumu kyobeera owulira nawe oba tosobola kukinyonyola; bunkeenke, kutya byotategeera, kubulwa mirembe ng’olowooza ebitaliiyo, n’ebirala ebiyitira mu kkowe eryo.
Wano wendi njize okulaba emigaso egiri mu kutya mu mukwano. Okutya nkitwala ng’akabonero akalaga nti mbeera nina ekintu eky’omuwendo kyesagala kinveeko wadde okumala eddakiika. Ekintu ekyo kibeera kya muwendo nnyo gyendi okunkuumira ku bunkeenke obwenkanidde awo!
Omukwano mulungi nnyo, naye tegumala kuyimirizaawo nkolagana yamwe mu maka.
Ng’ojjeko abawandiisi byebawandiika, abazannyi ba filimu byebazannya, n’abogezi byogera ku mukwano, abatuleetera okukiriza mu mukwano nga bwebabitugamba, omukwano tegumala byonna. Osobola okwagala omuntu n’omutima gwo gwonna, naye tosobola kugumikiriza byonna byayitamu ng’okukozesa ebiragala. Era tekisoboka kwagala muntu n’omutima gwo gwonna, nga nebwakusuubiza okukutemula osigala ogamba nti “nze akwagala nebwonzita kiri bulungi.”
Omukwano ntandikwa nnuungi wakati w’ababiri abagalana, naddala nga buli omu awaddeyo omutima gwe ku lw’enkolagana gyebaziimbye. Naye amazima gali nti omukwano ssi kye kyokka ekisigamwako okusobola okukuuma enkolagana. Ababiri mu mukwano, betaaga obwesiimbu, obuntu bulamu, okufaayo, okutegeera, okuwuliziganya, n’ebirala ebigendera mu kkowe lityo. Ebyo byonna bwobigatta ku mukwano, enkolagana y’ababiri ebeera yakuwangaala.
Omu ku mwe alifa, ate nga temumanyi ani alisooka, era ddi?
Kino ffenna tukimanyi, naye era tuli balungi mu kwerabira nti tukimanyi. (Naye munange ku luuyi olumu kirungi, kubanga teri yandiyagadde kumala biseera bye byonna ng’alowooza ku ddi lwagenda okufa.)
Naye olw’okuba tukimanyi nti tulina akadde akadde katono wano ku nsi, tuteekeddwa okukeyambisa obulungi nga tuli n’abo betwagala. Nkimanyi nti olumu owulira ng’alina obudde bwonna bwewetaaga mu nsi, ssi bekiri, era omuntu wo muyise ng’aliwo ku olwo lwokka. Olunaku lumu, kijja kubeera kyantiisa, ate nga tomanyi ddi lunaku olwo lwelugenda kutuuka. Kitwale nti lwaleero. Omukwano gwo gugenda kunyuma n’okusinga kyewali osuubira.
Ebisinga ku byenali ndowooza nga nkula nali mukyaamu ku nsonda y’omukwano. Naye wakiri nali mutuufu nti omukwano omutuufu omulungi gukusomesa bingi ebikukwatako, era negukufuula omuntu ow’omulembe. Gukuwa omuntu bwemusobola okusisinkana ensi nga muli babiri, nemutambula, era nemukula mwembi ng’emyaka bwegiyita.
Ekituufu kiri nti omukwano omutuufu ssi gwegutuukiridde kubanga ogwo teguliyo. Tuvve mukweyagaliza nga tusuubira ebitalituuka. Omukwano omutuufu guzimbibwa buzimbibwa ate negulabirirwa. Leka tusuubire ekyo ekisinga nga naffe tuteekamu ekisinga.
2 Comments
Anti era waliwo enjogera egamba nti ..”omukwano gugyira abo abo abagukkilirizaamu”
Kino kitegeeza ki;
Omuntu bwobeera ne gwoyita omwagalwaawo ate notafuna kyewali omusuubiramu tekitegeeza nti teriiyo balala bosobola kwagala
Olumu tunafuwa emitima nti gundi anjagadde nansuulawo…….netulowooza nti obulamu bukomyeee
Omukwani ogutaliimu nsobi oba ogutuukiridde gwo teguliiyo
Naye ate nze ngamba Ekikulu kya kufuna muntu nga akwetaaga ate nga nawe omwetaaga awo nemuzimba omukwano gwamwe mpola mpola….. mpaka wemukaddiwa,
Nze nsuubira ne bajjajjaffe kyekyabawangaaliza mubufumbo bwabwe
Naye ensangi zino , tutunuulira bilala nnyo…..
Buli anoonya omubeezi aba anoonya mulungii, mugagga, nebilala ebiringa ebyo Nsuubira kyekisinze okutusuula mu katyabaga …..buli lukya ba single mothers beyongera obunji….. Oba oli awo tuddeyo Ku bikii bajjajjaffe byebasinziirangako nga balonda abaagalawa