• November 22, 2024

Ani agaba ekirabo kya valentine?

 Ani agaba ekirabo kya valentine?

Omukyala anekaanekanye n’ebimuli.

Muliyo mutya bantu bange? Nga ye nze munnamwe ababuuzaako. Nate nkomyewo n’omulamwa omulala ngeri ya kibuuzo nga njagala kuwulira ndowooza yo gwe omusomi wange. Nkwagaliza akaseera akalungi bulijjo ng’ofumitiriza ku mulamwa ogubeera mu ddiiro.

Olunaku lw’abagalana luluno lukubye koodi, era buli woyita wadde gwe tobiriko, tolema kutegeera nti abantu abalukuza balwetegekera bulungi n’amaanyi. Nkugambye kano ketalo eri abatunda obumuli, gino mikuufu, awamu n’ebirabo ebigwa mu koowe eryo.

Naye nze okusinziira gyempise ne gyembadde, nesaanze nga abaami (abasajja) bebasinze okugula ebirabo. Mu butuufu bwengerageranya, ku bantu kumi(10) abaguze ebirabo ku dduuka lyange, munaana(8) babadde basajja.

Ninako n’emikwano gyange egy’okulusegere gyembadde nyumizaako nga bakyala, omukyala omu angambye nti ye tagula kirabo kya valentine newankubadde olunaku alukiririzaamu. Mbu ye alinda mwami akimuletere ng’akabonero nti amusiima olw’ebbanga lyebamaze nga bali bombi! Ekisiinze okunsesa ennyo, angambye nti ku myaka gyamaze n’omuntu we, takimugulirangako! Mu butuufu nsese nensimba n’akagere nga nebuuza nti lwaki ye takigulira bba we okusinga okukirinda obulinzi!??

Kino kinkuteko nnyo ko nze, kankitwalire banywanyi bange bebanasalawo eggoye ku kibuuzo kyange.

Ekibuuzo.

Abaffe, ani alina okugula ekirabo kya valentine bwekiba nti mwembi mukiririza mu lunaku luno? Omwami yavvunaanyizibwa ku kugula ekirabo ng’akiwa mukyala we oba buli omu alina okugulira munne ekirabo!?

Nga bulijjo nsiima era nyanniriza endowooza yo. Kozesa akabangirizi akali wansi (comment section) tukubaganye ebirowoozo.

Webale nnyo mukwano gwange!

Digiqole ad

Makanga Abubakar

https://gpraxy.com

Related post

2 Comments

  • Nzikiriziganya nawe kunsonga Eno
    Omuntu bwaba talina mwagalwa ate talina kugenda nga agwiirana olwa valentine
    Omukwano tegukolebwa mu lunaku lumu lwokka mumwaka
    Olina kuguminkiriza …. omutuufu ajja

  • Okusinga omwami y’alina okufaayo okugula ekirabo naye Bwaba takiguze gwe mwewunyise okimugulire naye ajja kutegeera nti ofaayo eri omukwano gwamweee, Abaami baffe baagalana nnyo okubewunyisa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *