Bba wa mukwano gwange!
Ekitundu ekisooka
Mu ddirisa lya bus gyenalimu, nalengera olusozi nga lwona lukalu tekuli kiriko, yadde ekimera. Omusana gwaali gwaaka nnyo nga gulimu n’obukaankana, natambuza amaaso okulengera entikko y’olusozi nga terulina buzibu bwonna. Olusozi luno lwaali luguumba- nga teruzaala ng’obulamu bwange; ng’emyaka gyenali njolekedde__ nga n’emyaka gyonna gyenali nyonoonye mu bufumbo.
Natereza bulungi akateteeyi kange kenali nyambadde, nempisa engalo mu buviiri bwange obuto obwaali bulabika obulungi ddala. Nga maliriza okwetereza, nayambulamu jacket nengiteeka ku mabbali g’omutto kwenali ntudde. Mu ssaawa nga bbiri twandibadde tutuuse ku City Square mu kibuga Kampala, nga Joan ne David banniinze okuntwala mu maka gaabwe e Buziga. Essaawa bbiri n’emyezi ebiri mumaaso, nandibadde sikyaali mukyala Emma Ssembuusi __ nga ndya butaala__ ng’anzirizziddwa eddembe lyange!
Ng’ani anzirizza eddembe? Eddembe okuvva ew’ani? “Emma, Emma! Nayogera erinnya lye mu kaama, omutima gwange negujjula ennyiike. Nga nebwenzibiriza amaaso gange gombi, nsigala mulaba, amaaso ge amannene n’ennviri enyingi ku mutwe ate nga muddugavvu nnyo.
Najjukira ebigambo bye n’emboozi gyetwasembayo okunyumya ng’asaba twawukane.
“Nsonyiwa Jackie, manyi nti kiruma naye bwekityo bwekiteekeddwa okubeera.”
Nsonyiwa. Gyobeera nti esobola okusangulawo byonna byetwaali tuyiseemu. Nsonyiwa! Obufumbo buyinza okumala gasaanawo bwebutyo?
Amaka gasobola okusaanawo, ebintu byonna byetuzimbye mu maka, obulamu bwetubadde nabwo_ mikwano gyange ku miriraano, mikwano gyaffe gyonna? Nga lwaki byonna tubyerabira n’ekigmbo kimu, nsonyiwa?
“Emma munange samanya, kale singa wakiri nakitebereza nti bwekiti bwekiriba!”
“Anti era wali tosobola kumanya.” Emma yayogera, ng’ebigambo bye biringa akambe akasala enjuyi zombi mu mutima gwange. “Jackie wali tosobola kukitebereza. Nga tosobola kulaba kuyayaana kwa mutima gwange. Wali tosobola kulengera wala. Nga gwe kasita wekuumira ku mutindo ng’olabika bulungi, n’okuuma ekitiibwa ky’amaka mu balala, ebisigadde nga toyagala kumanya. Jackie, tolisobola kumpa kyenjagala. Wano ewaka ninga kibajje mu nju!
“Mu butuufu Emma kyoyogerako sikitegeera.” Nanyeenya omutwe mu ngeri y’okusoberwa. “Ngezezaako okubeera omukyala omulungi mu maka gano. Ng’ojjeko okuba nti tetunaba kufuna baana, Emma ebisinga mbikoze mu bwesimbu; mu maaso go n’aga mikwano gyaffe. Bwemba nina wennemereddwa, mazima ddala tetusobola kutandika buto?
“Ekituufu tusobola okutandika obuto singa mbadde nkyakwetaaga. Jackie, sikyakwetaaga. Naye gwe tokiraba nti nkukooye? Twawukane kyekisinga. Ojjakufuna omusajja omulala, oba oli awo ojja kumuzaalira abaana. Ebyange nawe bikome wano!
Enaku ezaddirira, ebyange ne Emma byeyongera okusakaala. Emma yagaanira ddala eby’okubeera awamu ng’abafumbo. Obulumi, enaku, n’amaziga, byafuuka baganda bange; nga buli ssaawa bimbeera ku lusegere.
Nga maze okukakasa nti Emma tagenda kukyuusa ndowooza ye, nakuba essimu ewa mukwano gwange Joan gwenali maze emyaka egiwera nga simulaba. Joan yali mukwano gwange nnyo okuviira ddala mu buto. Twasoma ffenna okuvva mu kibiina ekisooka okutuusa nga tumaliriza emisomo. Ebbanga lyenamala ne Emma mu bufumbo, ly’ebbanga lyenamala nga siraba ku Joan. Nalina enamba y’essimu ye naye nga tulwawo okwogerezeganya, kubanga buli omu yalina bingi by’akwasaganya mu maka ge.
Nakubira Joan essimu nga musaba nti oba nsobola okugira nga mbeera ewuwe, nga bwenninda empapula zange ez’okwawukana ne Emma mu mateeka, era nga kyaali kyakutwala myezi ebiri. Namubuulira buli kimu ekyaali kituuseewo wakati wange ne Emma.
Sisuubira nti Emma yandingobye mu nyumba nga nkyaalinze empapula zaffe ez’okwawukana, naye amazima emyezi ebiri gyaali mingi nnyo; okubeera n’omusajja ankyaaye awatali kumpa mukisa mulala. Emma yalina sente naye ng’omwana akyatulemye okuzaala.
Joan yanzikiriza okubeera ewuwe nga bwenjiiya ekiddako. Nga bulijjo, Joan yalina ekisa ekitirika nga tasobola kugaana kusaba kwange. Nali sisobola kukiriza kyaali kituuse wakati wange ne Emma, kubanga buli kimu kyaali kitambula bulungi. N’okutuusa olwaleero nebuuza obuzibu obutaaliko ddagala gyebwavva.
Emma bweyansaba twawukane, n’obusungu obungi, nange nakiraba nti salina nsonga ensibira mu bulamu bwe. Nga ntubidde mu nnyanja y’ebirowoozo, eddoboozi lya Kondakita lyanziza engulu “banange tutuuse ku City Square, buli omu akwate ebintu bye mpolampola tufulume.” Nakunganya ebintu byange mpolampola; jacket, ensawo n’epapula z’amawulire zenali nsuubira nti ngenda kuzisoma naye nebigaana. Mukusituka, natunula mu ddirisa nate mu ngeri ey’okussa ekikkowe eky’obukoowu.
Nalowooza mu mutima nti oluvvanyuma lw’emyezi ebiri nga ndi maka ga Joan ne Albert, njakuba netaaya nga siriko agamba. Okwetaaya kwange kwandibadde kutegeeza ki? Nali nkyaali muto. Ku myaka 28 omukazi abeera akyaali muto, naddala ku mukazi nga nze. Nali nfaayo nnyo ku mubiri gwange, nga ngenderera byendya obutafuna bisavvussavvu mu mubiri. Amaka gange nali ngalabirira mu ngeri gyenali ndowooza nti yesinga; nga buli kyenfumba, nkakasa nti kirina okutuwoomera n’okusingira ddala Emma. Nali mukyala mulungi ewaka.
Kitya? Lwaki? Ki ekyaali kibula wakati wange ne Emma, ekyakyuusa omutima gwe, ansabe okwawukana mu bufumbo bwetwaali tumazemu emyaka egisoba mu 7? Lwakuba twaali tetulina baana? Essaawa eno nkyebaliza katonda. Buli kibi kibaako n’ekirungi, watya nga twalina abaana netwesanga mu mbeera y’okwawukana? Ate ekyo kyandiyuziza omutima gwange okuguleka obulere.
Nga maze okufuluma bus, natunula nga buli muntu ali ku lulwe, buli omu ng’atambula bibye. Mu bantu abangi abaali balinze abantu babwe okuvva mu bus, Joan teyalimu wadde bba we Albert. Joan yali akimanyi bulungi nti sirina muntu mulala gwenjagala kulaba. Nali mutegeezeza bulungi nga bwesagala kugenda mu b’enganda zange, era ng’amanyi bulungi essaawa ze ngenda okutuukira ku City Square. Mazima natafaayo kujja kunnona ng’ate alina entambula!
Lindirira ekitundu eky’okubiri.
1 Comment
Binyuma. Webale