• July 3, 2025

Bba wa mukwano gwange.

 Bba wa mukwano gwange.

Ekitundu eky’ekumi.

Nasobola okutegeera omusingi gw’essanyu lya Joan. Okulaba abaana be nga bakula bulungi, okukola emirimu gye nagimaliriza mu budde asobole okulaba obuzannyo ku TV ate nga bwalinda Albert wonna wakomeddewo, byebyaali ebintu bye buli lunaku awatali kulowooleza wala nti oba Albert asobola okufuna omukyala omulala. Okufaayo ku ndabika ye, ekyo tekyaalimu mu nteekateeka ze, nga yeyisa bwatyo nga bwasanze awatali kusumbukana na ngoye ziri ku mulembe, oba okukola dduyiro okusobola okukuuma omubiri gwe.

Nze gyenali ntiira nga ndabye akabalabe mu kyeenyi kyange, gyenali nepimira ekiwato buli lunaku okusobola okukuuma olubuto lwange nga lutono ddala, Joan yaalinga atudde ku TV ye ng’anyumirwa obulamu gyebumutwala. Joan yali tayagala bintu bikalubiriza bulamu bwe, y’ensonga lwaki yali yalekera awo okutambula nga ne Albert. Anti yali takirabamu makulu, nga kasita abeera mukakafu nti omwami alina okudda ewaka ka kibe ki!

Joan yali akimanyi nti mukyala mufumbo, nga teyetaaga kulabika bulungi mu maaso ga muntu mulala yenna, kasita Albert yali yamusiima namuwasa. Obulamu bwa Joan bwaali bwangu nnyo gyaali, era ng’amanyi nti yakimala… Wakiri ekyo kyeyali alowooza okutuusa akaseera ako bwetwaali mu kisenge obwababiri.

Twasirikirira okumala akaseera nga tuli mu kisenge, oluvvanyuma nenjogera mu mpola. “Joan, ngenda kati. Njakufuna wensula ekiro kino, ate enkya ndabe ekiddako __”

Yankwata omukono nagunyweeza. “Ekyo kya busiru nnyo nawe. Kale bwoba nga bwotyo bwosazewo, linda obudde bukye__ wadde era nkiyita kya busiru. Tolina gyolaga kiro kino.”

Yatunula wansi kumpi n’ebigere byange, nagenda okulaba ng’akaseko kameze ku matama ge. “Kyemanyi ffenna tufunye eky’okuyiga mu bintu bino byonna. Jackie, ngenda kukwebaza bbanga lyonna olw’okuzibula amaaso gange. Singa abadde mukyala mulala, oba oli awo Albert sandimusigaziza __” Eddoboozi lye lyalimu engeri y’enyike era ng’alumye omumwa gwa wansi.

Yaggula oluggi okuvva mu kisenge kyange, samulinda kufuluma “Joan,” yakyuuka okuntunulira “sula bulungi munange era webale nnyo byonna byonkoledde.” Yamweenya natambula.

Nga mazze okusigala obwoomu mu kisenge, nasikayo ensawo yange okusobola okuteekamu engoye zange ezaali zitimbiddwa wagulu. Bwekiba nti Joan yali afunye eky’okuyiga mu bulamu bwe, ate nze nali njize nnyo n’okumusiinga. Natandika okulaba ekyabula mu maka gange ne Emma. Ebintu byonna byenali njayaanira mu maka ga Emma, nali nsobodde okubiraba mu maka ga Joan. Era nkitegeera nti amaka gazimbibwa mukwano, kutegeeragana n’okubako byewesonyiwa okusobola okukuuma essanyu lyo!

Ebbanga lyenamala ewa Joan telyaafa busa, nayiga bingi. Nasobola okunnyiga ebiwundu ebyaali ku mutima gwange nga nyambibwako Joan, mpozzi ne Albert eyakola eky’amaanyi wadde ng’ate byaali bizibuwadde.

Nayiga essomo eddene mu bulamu nti olumu olowooza nga nnyo kubalala notefaako bwoomu. Nali sisobola kufuna ssanyu mu musajja wa mukwano gwange oba omukyala omulala yenna. Nga kiba kyakwewuunza okudduka ne bba w’omukazi bwebamaze ebbanga nga bali bombi.

Essanyu lyange lyaali mu nze kennyini, awatali kulinoonyeza wabweru mu bantu abalala. Nalowooza ku Emma nemweenya, ekintu ekyandaga nti nali musonyiye ku mutima nga sikyamulinako bukyaayi.

Ekituufu nali sikyalina mukisa mulala ne Emma, naye nakimanya nti omuntu omu aniinze mu bulamu bwe. Albert nali mwagadde nnyo, naye nali njakufuna amusinga oba amwenkana mu byenjagala. Amaaso ga Joan gaali gazibuse, nga nagange bwegaali gazibuse! Mu mutima nali mumativvu nnyo era nga ndi musanyufu okuvva mu maka ga Joan. Bba wa mukwano gwange Joan samubba wadde okutta ekyaama naye.

Mu Joan mukama mweyali atadde akasumuluzo akaggula omutima gwange eri ensi.

Olugero lwaffe lukomye wano.

Nebaza mwenna abangoberedde okutuuka wano.

Ababadde bampa endowooza yamwe ku buli katundu mwebale. Makula, David, Eric, Shadlex, Emma, Albert, n’abalala mwenna ababadde bagoberera, mikwano nsiima bwongerwa.

Digiqole ad

Related post

5 Comments

  • Olugero Luno lubadde lunyuvu nnyoo mukwano era ngobeledde awatali kubuusa maaso kigambo n’ekimu,.
    Njizeemu Ebintu ebyenjawulo ,
    Kale Bambi Jackie yeebale kuzibuka maaso nategeera nti enkolagana ye ne Joan yankizo n’okusinga ye lyeyali alowooza nti lyelinaaba ssannyu lye

    Ebyaddala ateredde emmeeme era nebyokuyiga afunye binji naye ekyebuzibwa…….. Jackie agenda kuddawa mukazi wattu. era agenda kutandikirawaa,…. Nay’era obulamu bwensi Eno butupimira kubizibu, bwoba tonabilaba tomanya buzito bwo

    • Anti bagamba nti “akugaoba yakuwa amagezi.” Wankubadde Joan tamugobye bugobi, naye embeera temusobozeseza kusigala mu maka ga Albert… Nkakasa nti ajja kwekwatirira mpola apambanne obulamu. Ekisinga obukulu, nti tajja kuddayo wa Emma! hehe

  • Okay now ekyokuyiga oyize kakati kiki kyozaako …togeza nodayo ewa Emma😎

    • Hahaha… Okuleka ng’aliko akatuli ku bwongo, tajja kuddayo nkakasa. Ateekeddwa okutoba n’edduniya okutuuka ng’asisinkanye omutuufu.

  • Amiina👏

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *