• November 22, 2024

Bba wa mukwano gwange.

 Bba wa mukwano gwange.

Ekitundu ekyokubiri.

Nawulira okutya mu mutima gwange nti ne Joan anvuddemu! Amaaso gange gajjula amaziga. Obwomu! Nali njolekedde akaseera akazibu ak’obwomu_ bufumbo bwalema. Nali nteekeddwa okwesigama ku abo abaali bategedde ku byaali bituuse wakati wange ne Emma. Nali netaaga omuntu asobola okuntegeera obulungi awatali kunnenya. Omuntu eyali asobola okuwulira ennyike eyali mu mutima gwange. Nga ndi mu birowoozo ebingi, nawulira omuntu ampita”Jackie mukwano!” eddoboozi naliwulra era nga ndimanyi bulungi, nga livva mu muntu gwenali ndudde okulaba.

Nakyuuka mangu nnyo nendaba omukyala eyali mu motoka ng’alimu n’abaana babiri. Yaddamu nampita nti “Jackie!” Yafuluma mangu emotoka, nadduka ng’ajja gyendi, yangwa mu kifuba nga bwansisitira mu mugongo, nti “tofaayo buli kimu kiri bulungi.” Banange Joan yali annonye!

Oh dear Jackie, nga bulijjo ndi sikwata budde. Ngezezako nnyo nga bwensobola okutuukira mu budde, naye nebigaana. Mbadde nakavvugako katono, emotoka yange neyabika omupiira nga nnina okusooka okuyita makanika agusibe. “Jackie, munange olabika bulungi nnyo mu kateteeyi ako …. Nga bulijjo otegeera eby’okwambala tolinga nze!”

Yasooka nasirikirira, ffenna netwetunulira nga bwetumweenya, oluvvanyuma ate nanyeeya omutwe. “Jackie, kale mu butuufu ye gwe! Okimanyi nti bwetwaavva ku ssimu ng’omaze okungamba byonna, nga sisobola kukikkiriza.”

Nga tukyayimiridde awo, engombe y’emotoka yavvuga nayita omulenzi nti “leka nawe tokiddamu.” Yankwata ku mukono, nasitula ‘ensawo yange netugenda awali emotoka. “Tugenda waka, oteekeddwa okuba ng’okooye. Munange bano abaana bansumbuwa, njagadde okubaleka ewaka, naye nebannemerako. Tofaayo mu bwangu ddala tugenda kutuuka e buziga.”

Mukwano gwange ow’edda, Joan. Emyaka 7 gyaali mingi nga tetulabagana. Joan yakyuuka nnyo mundabika; nga munene yenna atambula yenyigontola bwenyigontozi. Nzijjukira nnyo nga tuli bato ku somero, Joan yali mutono ddala ng’alina eddalu eritalina alina. Wadde yali agejjuuse, yasigaza akaloboozi ke akatono akasaakaavvu. Okusinziira ku ndabika, musajja we Albert yali tamuyisiza bubi yadde n’akatono.

Abaana be baali balungi ddala nga tebalina buzibu yadde. Baali baluzungu nnyo nga basanyufu, mu butuufu nga basanyusa amaaso. Jim yali wa myaka 6, nga Jinna wa 4. Nga tumaze okusimbula emotoka, Joan yatandika okunsasira obukoowu na byonna ebyaali bintuuseko. Nawulira ng’amaziga gampitamu naye nenegumya nga sagala kumalamu maanyi. Twakwata ku luguuddo lw’egaba nga naye jaamu mungi okukamala. Joan yakyuuka nantunulira, “Jackie munange guma ensi bwetyo, oyo Emma mukwase katonda yekka.” Sasobola kumuddamu kuba nali mu birowoozo.

Tetwaddamu kunyumya paka nga tutuuse ewaka. Nga tutuuse ku kikomera ky’enyumba yabwe, yakuba engombe nebatuggulira era netuyingira. Enyumba yabwe yali ya kalina nga nnene bulungi. Yalina enzigi nga nsige langi ya kitaka …. Mu butuufu amaka ga Joan gaali galabika bulungi nga getolooddwa ekikomera ekirungi. Baalina olugya olunnene nga lusimbiddwamu emiti egy’ebibala.

Abaana bayanguwa okubuuka mu motoka nebagenda eri taata wabwe Albert. Bamusanga ku kabalaza ng’alina byakola ku kompyuta. ” Taata! Tuze n’omugenyi Aunt Jackie, agenda kubeera wano naffe.

Albert Keera yajja wendi nansanyukira, abaana nga buli omu amukute ku mpale, yansanyukira. “Nga nsanyuse okulaba, Jackie.” Yankwata ku mukono okumala eddakiika, era mu maaso ge nina kyenalabamu. “Tokyuuse munange wadde akatono bwekati, wenna odda buto! Weyongera bweyongezi kunyirira, Joan wamma nnimbye? Tukusanyukidde nnyo.”

Albert nali sikyamujjukira bulungi kuba omulundi gwaali gumu gwoka lwenamusisinkana; ku mbaga yabwe. Yali musajja alabika obulungi. Yalina amaaso amatono, nga musajja alabika wa bantu nnyo. Amazima yanyaniriza ng’omuntu eyali akyadde mu mirembe.

Akawungeezi ako, Albert yali musanyufu nnyo; namulaba engeri gyeyanywegeramu Joan, n’engeri gyeyali azannyamu n’abaana. Obudde nga bumaze okuziba, twatula ku meeza ennene ffenna n’abaana netulya eky’egulo. Nga tumaze okulya, Albert yatwala abaana wagulu gyebasula, ate nakomawo okuyamba ku Joan mu kwoza ebintu ku sinki.

“Bulijjo twagala okufuna omukozi atuyambeko wano, naye nga bwobimanyi, tuwoza leero, sande egya, bwetutyo ng’emyezi gitambula. Ekirungi nti Albert bwabeera ewaka anyambako ku mirimu.” Joan ng’anyumiza eno bwakuuta ebintu ne Albert.

“Naye tolina buzibu nakwekolera mirimu gyo!” Nga bwenseka.

Yasooka nayimiriza mu kukuuta ebintu, ng’eno omukono gwe ogumu gukutte ku sinki ate omulala guli mu mazzi. “Sirina buzibu nakwekolera mirimu!” Yakyuuka nantunulira, “amazima nkoowa nnyo. Naye nebaza katonda okumpa omwami Albert. Obulamu bubadde bulungi jendi, Jackie. Nali simanyi nti ndisisinkana essanyu mu bufumbo.” Fembi twamweenya.

“Njozeza ebyo. Ebisigadde bimalirize ffe twejjukize ebiseera ebyo.” Ebyo yabyogera yesumulula kagoye kabikka ku ngoye zalimu ng’akola emirimu.

Wamma Jackie tugende mu ddiiro tunyumye, emyaka nga gibadde mingi nga twawukanye! Mbadde nga nkusubwa ebbanga lyonna, ye okyajjukira Namaganda eyali yekoza ennyo mu kibiina, namusanga bambi ng’ensi temuberedde nyangu.” Joan

“Munange nze gyembadde sirina mwana gwenali nzizemu okulaba.” Namuddamu nga bwenoonya omuto omulungi ogw’okwesigama mu ntebe.

Twanyumya ebintu bingi, okuvviira ddala ku somero paka ng’azaala abaana be ababiri; Jim ne Jinna. Nga tukyaali mu luno na luli, Albert yatwegatako ng’alaga nti empewo emufuuwa. Joan yamukuba eriiso, nemulaba ng’aswadde. “Kati kiki? Mbu toyagala Jackie alowooze nti gwe ateekeddwa okunfunira eky’okwebika wano mu ntebe? Wamma Joan nkulopera mukwano gwo oyo, tanfaako wano.” Ffenna twaseka nnyo. “Wano omuto manyi omu Jinna.” Joan yamuddamu mangu nnyo, era netuseka.

Albert yagenda okulaba nga byetunyumya tabitegeera bulungi, olw’ensonga nti twaali mu byayita byaffe. Albert yasituka nagenda ku meeza eyaliwo nga nnene, natandika okunyiga kompyuta ye, nga naye amatu ge gali ku mboozi yaffe.

Twafuna akaseera akawanvu nze ne Joan, nasobola okwerabira enaku yange okumala akaseera nga tunyumya ku byayita. Mu butuufu ky’ekintu kyenali netaaga okuvva mu mukwano gwange Joan. Enaku ezaddirira, buli kimu kyaali kya mulembe nga n’ewaka manyiddewo. Abaana ba Joan banjagala nnyo, ate nga ne Albert musanyufu olw’okubeerawo kwange. Obulumi n’enyike byenalina nga nva mu maka ga Emma, byaali biwewuseko ekitundutundu. Joan teyampa kakisa kalowooza ku bizibu byange, nga buli ssaawa anyumizaayo akaboozi akapya. Mu linnya lya Joan, katonda mweyali atadde eddagala erinziza engulu.

Lindirira ekitundu ekyokusatu.

Digiqole ad

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *