• November 22, 2024

Bba wa mukwano gwange.

 Bba wa mukwano gwange.

Ekitundu ekyokusatu.

Nzijjukira olunaku lumu bwenakeera nga newulira bulungi nnyo, mu butuufu ebirowoozo byange byaali bitebenkevvu. Mu kisenge kyebampa okusulamu, nayingira nenjiwa engoye zange zonna ku buliri. Nali njagala kuzizinga bulungi nsobole okuzitereka obulungi mu nsawo. Nga nakaziyiwa ku buliri, Joan yayingira era nabaako akateeteeyi kange kaloondamu. Kaali katobekeddwa bulungi amabala agakalabisa obulungi. “Naye banange Jackie toggwaayo, kano olabika wakagula buwanana.”

“Ako?” Naseka. “Nedda nawe, ebyaddala nakozesa emitwalo ng’esatu okukatunga okukamaliriza.”

“Okukatunga? Kyogamba gwe eyaketungira?” Yakakyuusa nga bwaketegeereza entuunga yaako. “Kale banange sisobola nakukiriza, ate wayiga ddi okutunga?”

Natula ku buliri, “nze gwolaba namala emyezi mukaaga nga njiga ekyalaani mu somero ly’ebyemikono. Joan, ebyange obimanyi bulijjo nti njagala ekisinga. Mu butuufu nakibalamu nga Emma tasobola kungulira ngoye za mulembe zenetaaga, ate era okimanyi nti engoye ennuungi za buseere nga sagala kukalubiriza Emma.”

Yawumuza akateeteeyi wansi ku buliri nassa ekikoowe mu ngeri ey’okunnewunya. “Nkwegomba nnyo Jakie, olina ebintu byokola nga bibyo wekka. Enyambala yo okuvviira ddala ku somero, n’engeri gyokuumyeemu endabika yo nga tovva ku mulembe__ mu butuufu tunulira nze, onsinga omwaka mulamba naye oyinza okugamba nti nze akuzaala!”

Nakyuuka nentunula ebbali, nga bwennuma omumwa. “Naye gwe okyalina Albert, abaana, na bino byonna. Naye nze gwoyita omulungi era akula obulungi, nsigaziza ki?”

Yasembera wenali nateeka omukono gwe ku kibegabega kyange. “Jackie mukwano, munange simanyi na kyakukugamba, kuba nkitegeera kyoyogerako. Nkimanyi wagezezako nekigaana bugaanyi, naye oba oli awo ng’ekyokwawukana ne Emma kyekisinga.”

Enaku ezaddirira, nasigala ndowooza ku bigambo bya Joan. Nalina okulwanyisa obulumi bw’obwomu, nga nina okukitegeera nti ebisomooza bibawo mu bulamu, era nti n’endagaano ezikolebwa wakati mu kwagalana, zimala nezimenyebwa.

Mu kugezaako okutunula emabega mu myaka gyetwaali tumaze ne Emma, nakiraba nti tewaaliwo kigenda kusigala nga kitugatta, era nga tewaali ky’amaanyi kya kujjukira wakati waffe, okuleka eddoboozi ekkaawu lyeyayogeza ng’asaba twawukane. Natandika okwewunya nti kijja kitya okuba nga Joan eyali teyefaako wadde okufa ku musajja we, yali asobodde okufuna byonna byayagala mu bulamu, era nga nze nsigadde ngalo nsa awatali kintu kyonna kyendaga nti kikino kyenfunye mu myaka omusaanvu gyenali maze ne Emma! Naye ebyo byonna byaali birowoozo, nga sisobola kukwatibwa nsaalwa na nnugu ku buwanguzi n’essanyu ebya Joan. Nali mwagaliza kisinga, lwakuba nti ng’omuntu nali sisobola butewuunya ku bulamu ngeri jebutalina kibalo. Mu byaddala, obulamu bwange bwaali buddoboonkanye.

Joan yali asobodde okusigala mu mukwano ne Albert okumala ebbanga eryo lyonna, era nategeera ensonga lwaki. Mu butuufu nali sisobola kukyebeera eky’okugerageranya Albert ne Emma. Ekyamazima Emma yali asingira wala Albert mu kulabika obulungi, naye nga mu magezi ag’obuntu n’okutegeera, Albert yali musajja musufu. Nga bwogattako engeri gyeyefaako, mu mazima nga tolemwa kutegeera nsonga lwaki Joan amwagala nnyo. Mu butuufu Joan yali wa mukisa, era mba kuba nga nze nali mu kifo kye, nandibadde mwegendereza nnyo nga nefaako, ate nga nfuba okulaba nti awaka wange wabeera wategeke bulungi… Abasajja bagala nnyo awaka nga wategeke bulungi, era ne Albert teyali wanjawulo ku basajja benjogerako.

“Naye nawe Joan, ki toyambala ku buteeteeyi ng’obwa Jackie? Mu butuufu omulaba nti mukyala wamulembe, naye gwe oba ezizo ozigula wa? N’obuvviiri obumpi bulabika bulungi, Joan bambi kopa mukwano gwo Jackie.” Albert yabyogera twakamala okulya eky’emisana, nga ffenna tuli awo mu ddiiro.

“Ndekamu nawe ate, Jackie mulungi bulungi. Tekiri ku nviiri zasala oba obuteeteeyi bwayambala, ndi mu buzito bwa kiro100 n’omusobyo, era ng’oyagala nfune obuteeteeyi ng’obubwe! Ate n’ekirala ebyo nze byandeka emyaka nga kuumi emabega.” Yabaluka naseka nnyo, naye nga mu nseko ze mulimu engeri y’okwekubagiza. Nawulira nga njagala nsambe Albert omugere agwe ebweeru olw’okulumya Joan. Nkimanyi nti yali tagenderedde, olumu abasajja bamala gogera nga tebafuddeyo ku balala. Albert yakimanya nti okusaagirira kuzadde ebizibu, era akawungeezi konna twakamala mu mbeera yakwegayaza ng’ebigambo bya bbula awaka.

Enaku zatambula, era Joan yalaga nti talina buzibu wadde nga kw’olwo yali avvuddeko mu kusaagirira kwa Albert.

Jackie, omanyi okuwuga?” Albert yambuuza nga tulya eky’enkya mu maaso ga Joan.

“Okuwuga? Wakati mu kwewunya, namubuuza. “Lwaki, iyee. Nze ne Joan twaali bawuzi balungi nga tukyasoma.”

“Muli mbadde awo nendowooza nti oba omperekereko ku beach leero, omanyi nze gyenkolera okwegezamu, naddala nti empaka z’okuwuga zinatera okutandika. Ate n’ekirala, enaku eziyise tobadde musanyufu nga bwewali.” Albert yabyogera asituka kugenda ku motoka kubako byatereza.

“Eeh, bulijjo oli muwuzi? Nedda, neyanziza nnyo okufaayo naye sagala kuwuga.”

“Iyii, lwaki toyagala, ng’ebbanga lyonna okuvva lweyajja wano totambulako yadde? Jackie, wetaaga okufuna ku mpewo yokunnyanja, nange mbadde nkulaba nnyo nga toli musanyufu nga Jackie mukwano gwange gwe manyi obulungi. Kiriza owerekereko Albert.” Bigambo bya Joan!

Joan yasituka. “Ngenda kukufunirayo ku bwakabi bwange bwosobola okuwugiramu. Albert musajja mulungi atalina buzibu. Bwenali nkyagenda ku beach, nalina obwambalo obulungi, naye kati ebyo nabivvaako nga mbikooye. Oba bunafu, oba kwesiruwaza, banange nze sikyayagala kutambula. Bambi kiriza kijjakumusanyusa.”

Lindirira ekitundu ekyokuna!

Digiqole ad

Related post

1 Comment

  • Katulindirile ebinadirila…
    Oli muwandiisi mulungi..
    Oba akatabo kafuluma ddii

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *