• November 22, 2024

Bba wa mukwano gwange.

 Bba wa mukwano gwange.

Ekitundu ekyokuna.

Joan yanzikirizisa ku mpaka, era eddaakika ezaddako nesanga ngoberera Albert ku motoka. Natuula mu motoka, nga nzenna ninga atudde ku misumaali. Ekituufu kiri nti Albert nali maze okumumanyiira, naye nga tetuli ffeka obwababiri.

“Tuula bulungi otereere.” Albert yantunuliza amaaso amakangufu.

“Namweenyamu katono. “Kyengezaako naye simanyi lwaki sitereera. N’ebbanga ddene nga situula mu motoka nga zino.”

Albert yamweenya nasimbula motoka. Nga tufulumye ekikomera kyaabwe, twakwata ku mukono gwa ddyo netwolekera Kibuye okudda ku lw’Entebbe. Nga twakavvugako akabanga katono okuvva e Kibuuye, Albert yanyumiza nga bwalina ettaka ku luguuddo lwe Busabala kweyasiimba emiti gya kalituunsi.

“Wawu, nga kirungi ekyo munange!” Namwebaza ng’okumuzaamu amaanyi nti kyeyakola kirungi.

“Bwetuba tukomawo, wandyagadde tuyiteyo ogirabe?”

“Sirina buzibu, Obudde bwebunaaba tebutukutte.” Nalina okukiriza kubanga era tewaliwo kitulobera kuyitayo, ate n’okuvva obuto nga njagala nnyo ebibira.

“Tofaayo ekyo kindekere.” Yamweenya era nange bwentyo.

Eby’okugenda okulaba emiti nga tumaze okubikaanyako, tetwalina mboozi ndala y’amaanyi. Nasuulira omutwe gwange emabega nenzibiriza amaaso ng’eyebase.

“Lwaki wekuumira mu birowoozo?” Nekanga, kuba amazima nali sebase naye nga nebuuza nti bwetutuuka ku beach, ngenda kuzaako ki? Ngenda kuwuga, oba ngenda kutuula mabbali mutunulire? Ekituufu nali sagala kuyingira mazzi n’omusajja wa bandi, newankubadde nnyiniye teyakirinamu buzibu.

“Nedda nawe, mbadde mpumuddemu buwumuzi.”

“Olabika Emma yakusigalamu?” Olwo nno ng’andabira mu ndabirwaamu.

Naseka nnyo mu ngeri y’okwekaza. “Gwe osobola okusigala ng’olowooza eyakukyaawa awatali nsonga?”

“Ebyo tubivveeko, anti n’okutuuka tutuuse.”

Nga tumaze okutuuka awatuukirwa, twayogera n’omukuumi w’ekifo ku byokutukuumira emotoka. Twasitula ebintu byaffe byonna byetwali tuleese netwolekera akalyango akatono akayingira.

Olubalama lwaali lunene ddala ate nga walungi tewali bantu. “Ebyaddala enjala ennuma.” Albert yayogera asitula byakulya Joan byeyali atutegekedde.

“Naye nawe lindako tufune awantu awalungi tutuule tulye. Ye banange, nga tewali bantu wano?” Nga nzingulula kakeeka ketwalina nga nkaalirira wansi w’omuti ogwaali awo okumpi, nga tutula wansi. Albert yatandikira ku kyupa y’amazzi, ate oluvvanyuma natandika okunywa ku sooda nga bwalirako enkoko ensiike Joan gyeyali akaziza obulungi.

Nze saalya kubanga saali muyala. Nga ntuudde wansi, mu butuufu nawulira ng’ebirowoozo byange byonna bitebenkedde. Oba ffe abajjira mu biseera ebirungi, anti empewo yali ya mulembe nga n’amazzi mu nnyanja matebenkevvu.

Albert ng’amaze okulya, yasituka natambula mpolampola nga bweyekanya amazzi mu nnyanja. “Ogenda kunyambako tuwuge ffembi. Anti nga bwenakugambye, empaka zinatera okutandika. Joan yali anyambako mu biseera by’emabega, naye munange yabikoowa. Emirundi egisinga nesanga nga noonya bunnonya muntu gwenyiinza okuwuga naye, kuba kinyamba okwongeramu amaanyi.” Yayogera ayambulamu ngoye ze. “Naye bwoba toyagala, sigenda kukaka, nga ninda omulundi omulala.”

Nze bwenamulaba ng’amaze okwambulamu esaati, natunula wansi nga sagala kumulaba ng’ayambulamu ezisigadde.

Yakiraba nti sagala kumutunulira, naye teyanyega kigambo wadde…. Yatandika okubbira mu mazzi ate nga bbulukuka. Albert yalabika nti takirinamu buzibu kuwuga yekka kasita mbeera nga mukuumyeeko. Nze wenali ntudde, nayambulako enkofiira gyenali nyambadde ku mutwe, nempulira emirembe mu mutima gyenali ndudde okuwulira. Tewaliwo maloboozi malala gonna okuleka ag’ennyanja. Natunula mu makola g’omuti wagulu wenali ntudde, nenesiimisa okubeerawo kwago wagulu nga tekuli ligwa nga terinatuusa kiseera kyaalyo kugwa.

Emyaka gyaali gitambulidde ddala nga sigendako ku lubalama lw’ennyanja. Mu butuufu wadde nali njagala nnyo okwefaako nga nkyaali mu maka ga Emma, naye sijjukira mulundi n’ogumu bweguti lwetwagendako ku nnyanja. Emma yalina engeri gyakwasaganyamu ebintu bye, nga ssi muntu wa kwejjalabya.

Natunulira Albert ng’anyumirwa amazzi obwoomu, so nga ye Joan yali waka tayagala kumanya. Nebuuza mu mutima gwange, nti naye lwaki katonda tasisinkanya bantu abakwataga? Kale Joan yali ayagala nnyo Albert, naye yali tamufaako nga bweyali atekeeddwa. Gwe tebereza, mazima nansaba ngende ne bba we mu kifo kyamanyidde ddala nti kyangu okukemebwa netumaliriza nga tusse ekyaama! Byonna nabirowooza naye nemaliriza nga negamba nti oba oli awo nga nze eyali afaanaganya Albert n’abasajja abalala.

Nga maze okukubaganya ebirowoozo mu mutima gwange, naza amaaso gange eri Albert ng’awuga awatali kwemulugunya. Omusana gwaali gwaaka ebya ddala nga n’ebbugumu lingi nnyo. Nalowooza ku ky’okuyingira amazzi, naye omutima omulala negungamba nti “Jackie bireke. Amazzi gandizaala akabasa wakati wo ne Albert.”

Nga nkyaali awo mbigattagatta, Albert yavva mu mazzi. Yatuula kumpi ne wenali nga bweyesiimuula amazzi mu maaso. “Oli muwala mulungi nnyo Jackie! Samulinda kukimalayo bulungi, “totandika Albert, ye banage obudde bugenderera, ate jjukira nti tulina okuyita eri mu miti e Busabala.”

“Bambi webale kumperekerako. Nkimanyi nti wazze ku lwa Joan, naye munange nze siri ng’abasajja abalala abakaka abakyala okukola kyebatagala. Ogaanye okuwuga nange, naye sikifunyemu buzibu wadde mbadde nkwetaaga mu mazzi okusinga nebwenyiinza okunyonyola. Omulundi ogunaddako manyi nti tojja kugaana.”

Nayoola omusennyu mu ngalo nenguyiwa emabega wange. Albert yasituka, “Jackie, oteekeddwa okusigala wano.”

“Kusigala wano? Anti sikutegedde!” namubuuza.

Yankwata ku kibegabega,”kyentegeeza sigala naffe okumala akabanga akawera. Oli waddembe okumala omwaka oba n’okusingawo. Joan mukwano gwo nnyo, ate kati nange oli mukwano gwange. Njakukutambuzako mu bifo ebiwera okusobola okukwerabiza Emma. Jackie, oli muwala kirooto kya buli musajja.”

Ebigambo bya Albert byandeeta amaziga mu maaso. “Albaaaa…..” ebigambo byambula, “Jackie ntunulira mu maaso, abasajja nga Emma tebagwana bakazi balungi nga gwe!”

Lindirira ekitundu ekyokutaano!

Digiqole ad

Related post

1 Comment

  • Gweno jebyagwera wandiba nga walya Emma🤣

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *