Bba wa mukwano gwange.
Ekitundu ekyokutaano.
Albert yasembera wenali ntudde, nasitama kumpi namabega gange. “Jackie, tunula mu bikola ebyo wagulu, olengera akakola kali akeengedde? Olowooza kekasinga obukulu ku bikola byonna ebiri ku muti guno?”
Akakola nakalaba, naye nga simanyi kyayagala kuyisaawo. “Nkalabye akakola. Kati nekitegeeza ki?”
“Naffe abantu bwetutyo, okufuna ebizibu leero tekitegeeza nti obadde obigwaanidde oba ng’otuusiza okubifuna. Eky’enjawulo kyetulina ku bikoola, ffe tusigala n’omukisa oguvva mu bizibu netutandika obulamu obulala. Jackie olina okutandika obulamu obulala nga tebulimu Emma. Nze ne Joan wetuli okukukwatirako mu buli mbeera yonna.”
Natunulira Albert, mu butuufu nenkiraba nti Joan yali wa mukisa okufumbirwa omusajja alowooleza ewala ku bulamu bw’ensi.
Nasiimuula amaziga nenekaka okumweenya, “webale nnyo Albert, mu butuufu Joan yesiimye okubeera mukyala wo.”
Yasituka natambula ebigere nga bisatu okuvva wenali. “Joan mukyala wange mwagala nnyo, mwenyumirizaamu nnyo okunzaalira abaana abalungi…… Naye sisuubira nti yesiimye nga gwe bwolowooza! Ye abaffe, essaawa ziweze meka awo? Jjukira nti tubadde tulina okuyita mu nimiro!”
Nakebera ku ssimu yange eyali ku mabbali, “eddakiika ziweze taano eziyise ku ssawa e kumi.”
“Tugende, bwetusanga tewali jaamu ku luguuddo nga tuyitira mu nimiro.”
Natandika okukunganya ebintu byaffe nga naye bwayambala engoye, anti yali mumpale nyimpi gyeyali awugiramu. Nga tumaliriza byonna, twayolekera emotoka weyali. Aba agenda okuteekamu ekisumuluzo okuggula oluggi, kyanva ampita “Jackie,” namutunulira “webale kujja nange, mu butuufu oli mukyala mulungi.” Nze samuddamu okuleka okumweenya.
Nga tuyingira motoka yaffe, ng’asimbula. Mubutuufu twasisinkana jaamu n’obwana bwe. “Eby’okugenda mu nimiro birabike bigaanye. Tujja kufuna olunaku oba enkya nkutwaleyo.” Ko nze “tewali buzibu.”
Anti nga tuseyeeyeza mu jaamu! Natuuka okuwulira nga mbikooye, emotoka nga tezitambula. Yavvugangako wano na wali nga tuyimirira okumala eddakiika ng’abiri. Nze kiri nali sikirabanga banange.. Nga nebwebagamba nti amaka g’abantu gafa bulijjo olwa jaamu, baali batuufu. Gwe ate maama omusajja atuuke ssawa nnya za kiro, ng’omukyala amanyi bulungi nti ku mulimo avvaayo kumi, olwo ki kyosuubira okuddirira awaka? Aaa, oluguuddo lw’entebbe sirwangu mu budde obw’akawungeezi!
Ewaka twatuuka ssaawa 09:41 ez’ekiro. Gwe tebereza abantu abasimbula ku ssaawa 04:27 ez’akawungeezi! Twatuuka tukooye ebitagambika.
Nga tumaze okuvva mu motoka, nali nyambadde jacket yange nga sisibye zipu. “Akakola nakalabye akabadde kengedde! Webale nnyo byonna Albert.” Yaseka nange nenseka, “amazima mbeera netaaga omuntu gwenyiinza okutambula naye. Joan takyabyagala mbu yabikoowa.” Eddoboozi lya Albert lyaalimu engeri y’enaku.
Nakimanya nti nina okwogerako ne Joan, akomye eby’okuwoza nti takyayagala kutambula. Omusajja we yali amwetaaga ku ngendo ze; gamba ku beach, nimiro, n’okugula ebintu by’awaka. Oba oli awo, naye kyandimuyambyeko okusala omugejjo gweyali asitudde.
Joan twamusanga alaba kazannyo ku Tivi, “mukulikeyo nnyo. Jackie olabika ng’okooye bambi, nga mulabye n’obudde! Anti Albert ampereza obubaka nti musiraanidde mu jaamu atalabwangako.”
“Eee, mwana gwe nze sikirabangako kino!” Namuddamu noonya wentuula nga mpulira nfa obukoowu.
Albert yatuukira ku kompyuta ye mbu yalina obubaka (email) bweyalina okuwereza mu bwangu ddala. “Joan, okimanyi nti engoye wamuwadde za bwerere? Anti talinyeko wadde ekigere ekimu bwekiti mu mazzi. Yewogomye musana wansi w’omuti nga nze mpuga. Naye era wakiri omubi akira ebbanga, ankuumye goonya obutandya.” Ffenna twaseka.
Albert yatuleka mu ddiiro natwala abaana wagulu gyebasula, ate naye amale okunaabako nga tetunalya kyagulo.
Nanoonya bwentandika Joan ku by’okuwerekerangako Albert, naye nga siraba wentandikira. Eky’omukisa omulungi, Albert teyayogera ku by’amaziga genakaaba n’emboozi gyetwanyumya. Yategeera obulumi bw’obwomu bwempitamu, ate nempulira nga ninga gwawoze ebbanja. Nawulira essanyu olw’akadde ketwamala ne Albert ku beach, wadde nga nali sisobola kunyumiza Joan mboozi y’akakoola, era sakigezaako.
Oyinza obutakitegeera, naye okuvva mu bufumbo mwomaze emyaka egisoba mu musaanvu, ate nga bakugobye bugobi si kuba nti wesiimidde, tekyaali kyangu jendi. Nabeera mu maka ga Emma, nga sikemeddwako lunaku n’olumu nti nfune omusajja omulala ebbali. So nno ng’ate nalina abasajja bangi abaali bankwana naye nga bonna mbagoba. Sabagaananga nti lwakuba Emma yali ankuuma nnyo, naye nali sisobola kumala gamansa kitiibwa kye. Namwekuumira naye byonna teyabiraba.
Mu bwomu nga bwenali , Albert yategeera kyenali mpitamu, ng’obulamu bwange bwolekera okufuuka ekitagaasa. Sigaana nti ne Joan yantegeera, naye emirundi egisinga negumyanga mu maaso ge okusobola okunyumya emboozi endala. Naye ekituufu kiri nti, omutima gwange gwaali gumementeddwa, ng’ebirowoozo bimamidde entegeera yange.
Enaku ezaddirira, Albert yagezaako nnyo nga bwasobola okumala obudde bwe obusinga nange. Ku beach yo nagaana okuddayo, naye ate namuwerekeranga okugula ebintu mu kibuga, n’okugenda mu nimiro. Temunfuna bubi, Joan yasigala akola ebyamunyumiranga era nga yansindikiriza emirundi egisinga.
Nzijjukira olunaku lwetwagenda munimiro ng’obudde bw’akawungeezi, ate nga bunyogovvu nnyo. Enimiro yali ya miti gya kalituunsi naye nga mito. Yali amusiimbye mu nyiriri, era ng’okumpi naye kuliko ekibira ky’emiti egya payini.
“Bambi gikyaali mito nnyo era nga jetaaga okugikwata obulungi naddala nga bagirimamu.” Bwentyo bwenamugamba nga nkutamye nkutte ku bukoola bw’akati akamu. “Giringa obuwala obuto obuyimiridde mu nyiriri nga bwekutte ku mikono!”
Albert yaseka olw’ebigambo byenagerezesa ku miti gye. “Ekyo kibadde tekinzijjirangako mu mutwe. Joan yagamba nti gyonna mibi, eky’amazima tayagala bintu bikwatagana n’enimiro.”
Naseka busesi kuba nakiraba nti sirina kubako kyengatako naddala nga kikontana ne kya Joan.
Nga bwenkutegeezeza nti obudde bwaali bunyogovvu, nali nyambadde jaketi ya Joan. Albert yasembera wenali nyimiridde nankwata ku mikono gyombi, “olina ekitone eky’enjawulo mu ndabayo ey’ebintu. Jaketi joyambadde omuntu ayinza okulowooza nti bagikupimako nga bagikola. Waawu, wakula bulungi Jackie!”
Lindirira ekitundu ekyomukaaga.
2 Comments
😘 Keep up good work
Amiina munange