Bba wa mukwano gwange.
Ekitundu ekyomukaaga.
Albert ng’akutte emikono gyange, nawulira okuwomerera mu mubiri gwonna. Awatali nsonga nti y’eno, omutima gwange gwatandika okukuba okumu okumu. Lwaki Albert yali ayogera ebigambo ebiwomerevvu jendi?
Namujjako emikono mpola mpola, nga ntya ebiyinza okuddirira. “Obudde buzibye, ate Joan yabadde agambye nti ngenda kumuyambako okukola chapati.”
“Oba lwaki buli lwe mbeera nawe mpulira emirembe? Ninga akumanyidde ebbanga ebbanga eddene! Kati ntegeera ensonga lwaki Joan akwagala nnyo, oli muntu mulungi nnyo Jakie.”
Twaddayo ewaka era netusanga Joan ng’ali mukukanda ngano. Albert nga bulijjo yatuleka mu fumbiro ate nagenda ku kompyuta ye. Joan yabeeranga musanyufu buli saawa nga talinamu mbeera yonna ya kwekengera nkolagana yange ne Albert eyali ekulira ku misinde.
Nzijjukira akawungeezi kamu Albert bweyansaba tutambulemu ffembi tugende ku mwalo e Gaba. Joan yasigala waka kuba yalina akazannyo kayagala okulaba ku saawa bbiri zenyini, ate nga n’omutwe mbu gwaali gumulumirira.
Twatambuza bigere wadde ng’emotoka zaaliwo ewaka. Okuvva e Buziga okutuuka e Gaba, waliwo akatemerreo naye twakatambula nga tetukawuliddemu yadde.
Nga tutuuse e Gaba, Albert yanambuza omwalo gwonna nga jobeera tunoonya muddaala gwakukolerako. Abatulabanga nga balowooza nti twakagwa mu mukwano; anti engeri gyetwali tulabikamu n’okunyumya nga tetulina kwetya yadde.
Yanambuza gyebakalirira eby’ennyanja, tutwo webituukira, ng’oyinza okulowooza nti tulina eryaato lyetulinze lireete ebyaffe.
Mu butuufu akawungeezi kaali kasufu ku njuyi zaffe ffembi. Tuba tukyuusa okudda, kyetuvva tuyita ku lyaato nga tekuli muntu yenna okumpi nalyo. Albert yeyali ankulembeddemu ng’ayambadde jacket enzirugavvu, nze nali nyambadde mpale mpaanvu ne ka bulauzi nga kamyufu naye nga sirina jaketi wadde esweeta.
Albert aba amalako eryaato, kyaavva yesigama kumpi n’omuggukiriro gwaalyo. “Naye mu butuufu Emma aliko ekikyaamu,” eddoboozi lye lyaali kakkamu. “Oba oli awo siteekeddwa kweyingiza mu nsonga zamwe_ mbulira oba mpise wenina okukoma.”
“Nedda nawe, olina olukusa okwogera ku kyonna.” Nange nesigama ku lyaato kumpi naye, ng’amaaso ngolekeza omwezi ogwaali ku ggulu nga gwememula awatali kuziyizibwa bire.
“Jackie, okyayagala Emma?”
“Nange simanyi,” namuddamu mpola. “Ebbanga lyonna emabega nali manyi nti mwagala nnyo, era nga manyi nti sisobola kubeera watali. Nebwenali nga nakatuuka mu maka gamwe, ng’okulowooza ku ddoboozi lye kinjuza omutima. Naye kati ____” Nakyuuka okumutunulira, ng’amaaso ge gonna matangaavvu oba olw’omwezi ogwaali gutumulisiza! “Gwe ne Joan mubadde bantu balungi eri obulamu bwange. Mu butuufu mwebale kunziddabiriza, ate gwe Albert, ___” Nabulwa kyenyongerako.
“Ndi musanyufu nti osobola okulaba okufaayo kwange gyooli.”Yabyogera mu kasirikiriro akaali kamera wakati waffe wadde nga twaali tugesiimbye. Twabeerawo okumala akabanga nga twetunulidde butunulizi awatali kigambo n’ekimu kivva mu mimwa gyaffe.
Natunulira Albert, nenebuuza nti naye ddala aba kuba nga yeyali bba wange, nandibadde nkyasaba ki mu nsi?
Simanyi kyaali mu birowoozo bya Albert ng’antunulidde obutanzijjako maaso, naye ng’omuntu omukulu nalowooza ebyange. Empewo yatandika okumpitamu, era ndowooza awo wewali emanduso y’obuganga obwaali wakati waffe nga twefuula abatabulaba.
“Nsonyiwa okukufuyisa empewo,” yabyogera mu bwangu n’okufaayo nayambulamu jaketi ye okugimpa. “Yambala mu jaketi yange.”
Nagigaana naye teyampuliriza, yagiteeka ku bibegabega byange. Mu kugezaako okulaba nti tegwa, engalo ze zayita ku bulago bwange mu butanwa. Nawulira obuntu nga bunjikira omubiri gwonna.
“Albertttt …”
“Nsonyiwa, naye simanyi nakumanya.”
Namusaba tugende ewaka nga sagala kumala yadde akatikitiki akamu ku lyaato nga tuli fekka. “Tugende ewaka ne Joan yaliba atandise okweralikirira nti nga tetudda.”
Albert teyagaana. “Nsonyiwa nnyo okukubeeza mu mpewo, nyumirwa nnyo okulaba omwezi nga gwaka bulungi ate mu kifo ekisirifu. Twatera ng’okujja wano ne Joan, naye Joan takyabisobola buli kadde kwefuula bize.”
Munda mu nze nawulira enaku ku mutima ku lwa Joan mukwano gwange okulagajalira omusajja gwayagala ennyo.
Nga tuzeeyo ewaka, Joan yali wagulu gyebasula ng’atutte baana kwebaka. Nga tuyingidde mu nyumba, kasita nalaba nga Joan taliwo mu ddiiro, nze nayitawo buyisi nengenda mu kisenge mwenali nsula.
Nayambula jaketi nengikwata mu ngalo zange, akawoowo k’omubiri gwe kaali kakyaalimu. Nagiteeka mu kifuba kyange nenginyweeza okumala akabanga akawera nga nyimiridde nesigamye ekisenge, ate oluvvanyuma nempulira nga musubwa ku mwaalo gyetubadde nga twesigamye eryaato.
Natandika okuwulira obujja n’obukyaayi eri Joan, nempulira nga netaaga Albert nga bwekisoboka okumbeera okumpi nga ndi mu mikono gye. Nazibiriza amaaso gange gombi, nentandika okukuba obufaananyi gyetubadde ku lyaato nga tewali atulaba okuleka omwezi ogwaali gutumulisiza. Najjukira engalo za Albert mu bulago bwange, nenzijjukira amaaso geyantunuliza awatali kubako kyagamba, nasoberwa nga ndi obwomu mu kisenge.
Nazibula amaaso gange, jaketi nengisuula eri ku buliri. Ki ekyaali kintuuseko? Mukama katonda wange, nali nfunye buzibu ki? Ddala nali ngudde mu mukwano ne bba wa mukwano gwange? Albert yali amanyi bulungi kyayingirira, okwagala abakazi ab’omukwano? Ye Joan, ki kyeyali alowooza ng’andeka okutambulanga ne Albert buli wamu? Eyo yeyali emu ku ngeri gyebali bateeseza okunerabiza Emma?
Ebibuuzo byaali bingi mu mutwe, naye nga tewali n’omu ayinza kunziramu. Nakimanya mu mutima nti nali nkute ekubo ekyaamu ng’erigenda ewa walumbe.
Ki ekyaddirira? Lindirira ekitundu ekyomusaanvu.
6 Comments
Eraa ddala.
Kale NGA ebyo bikyali awooo.
Nsooka okusanyukira emboozi ebisuffu bweti🤗🤗
Amiina nnyo!
Ekyamazima Kiri nti
Mubulamu bwensi Eno buli omu yetaaga akaseera akalungi nga Ali nomuntu omutuufu era nga amuwuliriramu emirembe nga Jackie bwabeera nga oli ne bba wa mukwano gwo
Naye ekyebuzibwa bino byotandise okuwulira ebbuba kumusajja atali wuwo
Olowoozaakii
Naye nga tonaggwaamu
Lowooza ku lugendo lwemuzze mutambula nga muli bamikwano ne Joan
Fumiitiriza ennaku nokuswaala kweyakujjamu nga Emma akugobye, olabe oba nga ogwaanidde okumuyisa bwoti kuba amazima Gali nti
Ogudde mukwano nomusajja wa mukwano gwo
Essaawa eno Jackie kyaliko kika! Kuba naye akiraba nti ali mukwesonseka kibira ekijjudde amaggwa agafumita okufa obufi. Naye simanyi oba anasobola okufuga kyawulira eri Albert, najjukira omukwano gwe ne Joan.
Joan nawe onenyezebwa kukino
Oli Waka olindiridde akazannyo ke ssaawa ebbiri
Eno omusajja omugamba kugenda ku beach ne mukwanogwo
Bali eri beweweeta amwambaza ku jaketi
Ggwe oli Waka ku tv olindiridde kazannyo,
Bali eyo banyumirwa akawewo kokunnyanja nga bwebalambula obulungi bwayo Ko nokunyumya obuboozi obunyuma okuwulira,. Gwe ssi byoliko.
Naye nga tonalowooza nti watuuka
Jukira bulungi nti abasajja bakyuka essaawa yonna
Era tewekanga nga n’owuwo Albert ,alugendeddemu.
Munange abakazi bangi abesiga ba bbabwe mbu tebasobola kubaliga wadde kitya… Nga mu butuufu ye amanyi nti ekintu yakinyweeza namala. Kati enya Joan, simanyi oba omukwano gwa Joan ne Jackie gunasigala guyimiridde. Albert yetadde mu kisenge ekiyiriddwamu gas, kyokka ayagala kukoleza kabiriiti.