Bba wa mukwano gwange.
Ekitundu ekyomusaanvu.
Enaku ezaddirira, natandika okulowooza ku byokuvviira Joan ne Albert ngende ewala gyensobola okutandikira obulamu, naye Joan teyanzikiriza ng’agamba nti ngire nga mbeera nabo. Obulamu bwalabika okunkalubirira naye nga sirina bwenyiinza kubinyonyola Jackie.
Twasigala tutambula babiri ne Albert; kulambula nimiro, kugenda mu kibuga kugula bintu, kutwala baana kulambula, byonna nasigala mbikwasaganya ne Albert nga Joan ye asigala waka, ekintu kyeyali asinga okwagala.
Nzijjukira olunaku Albert lweyamperekera okusobola okugenda okumaliriza enteekateeka zonna ez’okwawukana ne Emma. Empapula naziteekako omukono era buli kimu kyaali kiwedde wakati wange ne eyali bba wange.
Nga tumaliriza byonna, Albert yantwala mu woteri ey’omulembe mu kibuga Kampala okufuna eky’emisana. Nga bwomanyi ebirabo by’emere eby’omulembe, batuwa akasenge akaffe ku mwaaliro ogusembayo wagulu ku kizimbe, nga wonnna ndabirwaamu. Ekibuga kyonna twaali tukirengera bulungi.
Albert yalemerako nti tulina okufuna eccupa ya wine, tunyweemu olw’eddembe lyenali nfunye okuvva eri Emma, mbu n’emiti gye egyaali gikulira ku supiidi ey’amaanyi. Yafuuka omwenge mu bu gilaasi, netubukonaganya mu ngeri ey’okwekulisa okufuna obuwanguzi.
Nali nyambadde kateteeyi kange akamyufu nga nange nkewulira nti kandabisa bulungi nnyo. Obuvviiri bwange nali mbukozeko bulungi, nga nyambadde obugatto obw’akakondo. Amazima gali nti nali ndabika bulungi . Ng’omukazi eyekakasa okukula obulungi, ate ng’amanyi eby’okwambala, nasituka nentambula n’akagilaasi kange mu ngalo. Natambula nzira ku ddirisa erimu nsobole okwetegereza ekibuga kyonna.
Nga nkyatunudde mu ddirisa, Albert yasituka okujja wenali nyimiridde nanzijjako egiraasi mu ngalo ate nagitwala ku meeza. Entunula ye, yankakasa nti nali ndabika bulungi nnyo, era nga kino nakirabira mu maaso ge n’engeri gyeyali tayagala kuvva kumpi nange.
“Emma tailddamu kufuna mukyala mubalagavvu nga gwe.” Albert yabyogera ankute omukono ogwa ddyo, ate ng’omulala agukwasiza ku ddirisa nga ntunulidde obutanzijjako maaso.
“Ekyo tokirinako bukakafu.” Namuddamu ntunudde ku mukono gweyali akutte.
Bwenasitula amaaso gange okumutunula mu maaso, ate natandika okuwulira essanyu ery’ekisiru.
Naye omanyi Jackie, nina wenjagala omperekereko.” Albert yabyogera asitula ssimu ze ezaali ku meeza, nga naye musanyufu nnyo ebitagambika.
Kyandetera okwebuuza ebibuuzo mu mutima, naye nembireka awo nga tebiddiddwamu. Olwokuba nange nali nkyamukiridde, natereza butereza kateteeyi, nga nsitula kasawo kange, nga tutambula kuyingira Lift tusobole okukirira wansi.
Twayingira emotoka, Albert yavvuga adda Kibuye nendowooza nti tugenda kuyitira Salama… Nga tutuuse e Kibuye, mu kifo kyokudda ku ky’esalama, ate yagolola bugolozi ng’adda ku lw’entebe. Yavvugako katono naweta ku kidda e Busabala. Wano yavvugira ddala era ne mu nimiro teyakyaama.
Namubuuza, “tulaga wa ate banange?”
“Gwe linda olabe.” Yamweenya bumweenya. “Leero lunaku lukulu. Jackie, olina eddembe kati, nina ekintu ekirungi kyenjagala okukulaga.”
Lunaku lukulu! Natandika okubigatta nga tebiwera, nawulira engeri y’obusungu __ eddembe lyenfunye! Nga lyakukola ki? Byonna nabirowoozako nendeka awo, nenesigama omutto gw’emotoka nenzibiriza kuba nenfufu yali nyingi. Yavvugira ddala akatemerero nga tetutuuka. Ate olw’okuba nti nejetwaali tulaga nali simanyiyo, nalabira ddala nga wala nnyo.
Nagenda okulaba ng’asiba emotoka. Ngenda okutunula nga mu butuufu nsiko njerere. Okufuluma emotoka, nga sisobola kutegeera kyetwaali tukimye mu nsiko. Olw’okuba nti nali sirina buzibu kubeera naye wonna wadde wali watya, nasalawo kulinnya walinnya; nga wajja ekigere wenkiteeka. Omusana gwaali gwaaka bulungi naye nga gulimu ku mbuyaga, ekitegeza nti gwaali tegukanga kiri awo!
“Jackie, nsonyiwa okukuleeta nga sikusabye, naye mbadde njagala kukulaga nyanja eno. Kino ekifo nkyagala nnyo olw’obwekusifu bwaakyo. Kati laba, tuliyo babiri ffekka awatali muntu mulala yenna. Jackie, ekifo kino ndowoozeza nti kijja kusanyusa amaaso go amalungi.” Byonna yabyogera amaaso agatadde ku mayengo agaali ku mazzi.
“Amayengo ogalaba? N’abantu abamu batubeera ku mutima ng’amayengo ku mazzi. Jackie, eddembe lyo likuddiziddwa, oli waddembe okufuna omuntu omulala, afuuke ng’amayengo gano ku mazzi mu mutima gwo.” Yakyuuka okuntunulira.
Ebigambo bya Albert byandeeta amaziga mu maaso. “Albert, oli mutuufu munange. Abantu abamu batubeera ku mutima ng’amayengo ku mazzi.”
Albert yatuula ku jinja erimu ng’ekigere akitadde mu mazzi, “Jackie, nkakasa nti Emma takyaali mayengo mu mutima gwo,” nasirika obutavvaamu kigambo. Albert yasituka weyali atudde, nasembera wenali. “Okyayagala Emma?
Nasangula amaziga n’ekibatu kyange eky’engalo, nentambula nga njolekera akati akaali kamulisiza obumuli obulabika obulungi. “Nedda, ate nsuubire guno mulundi gwakubiri ng’okimbuuza..”
Albert teyayongerako kigambo kyonna, yatambula butambuzi ng’ajja wenali nyimiridde ku kati.
“Kalungi,” bwentyo bwenamugamba nga tanantuuka bulungi.
Yamweenyeza, ate oluvvanyuma akamweenyu nekaggweerera mpoa, ng’amaaso agantaddeko obutaganzijjako, yaneenya omutwe mu ngeri ey’okukiriza, “kalungi nga gwe.”
Nali njagala kumugamba nti “Nedda Albert,” naye amazima olulimi lwesiba ebigambo nebiremera ku mumiro, era sakimugamba. Nasigala mutunulidde, nga sirina kyenzizaako ….
“Jackie, oba onvuma vvuma, naye ndi mu mukwano nawe… gwe tondaba nga mbonabona olw’omukwano gwo __ ki kyoyagala nkole? Ekiro kyenakuwa jaketi yange, gw’olowooza nebaka? Jackie, …….” Yali akyayongerako, ate omuyaga gw’omukwano omungi ogwanema okulwanyisa, negunsula mu mikono gye.
Ki ekyaddako? Lindirira ekitundu ekyomunaana.
4 Comments
Kati Jackie wekangabirizakii olwo…
Wagenze okugenda nomusajja mukibira ng’ate mwakateeka omukono kumpapula za divorce nga tomanyi kiddako
Kyaddakii Albert amaze nayogera nti ali mumukwano ne Jackie naye ekibadde kibatwaala munsiko kyekakiii🤷🤷🤷era Kii ekyaddilira oluvannyuma lwokugamba nti akwagala, yiiiiii Bambi Joan mukazi wattu😔😔
Abaffe 🤔 kikii ekyaddilira tulinze ekitundu ekiddako
Makula dear, Jackie yali tamanyi gyebamutwala era jjukira nti yabuuza Albert wa gyebali balaga, Albert namugamba nti alinde agenda kulaba. Amaze nayogera, naye jjukira nti ne Jackie abadde nga bbaluuni nga linda kigambo kya Albert. Kati amwatulidde, ekiddako nga bali mu nsiko, kyekijja mu kitundu ekyomunaana. Joan yekaabire, naye gwamusinga nnyo!
Anti kale….. Gwe omuntu nogenda munsiko nemuno ate notandika kwebuzabuza nakwekangabiliza nga atamanyi nti omuyaye aku feelinga..
😎
Yali tamanyi nti Albert bulijjo amwagala bwtyo! Biggweera wa? Erick linda bulinzi. haha