• November 22, 2024

Bba wa mukwano gwange.

 Bba wa mukwano gwange.

Ekitundu ekyomunaana.

Nga ndi mu mikono gya Albert, yanywegera mu kyeenyi nga bwayisa engalo mu nviiri zange, awatali kigambo n’ekimu kyavvaamu. Nasitula amaaso okugezaako okumugamba nti tukola nsobi. Mba nsitula olulimi okwogera, emimwa gye gyaali ku jange nga nebwekiba ki sisobola kumuziyiza.

“Oh, Albert, Albert!” Nayita erinnya lye wakati mukwenywegera. Nawulira ng’amagulu gatendewaliddwa, entegetege nezinfaamba. Namwesikako ate mba nsitula ekigere musegulire, nengwa wansi nga nfukamiza amagulu gange gombi.

Yasembera wenali nfukamidde, naye nasigala ng’ayimiridde. “Jackie nsonyiwa, naye sikyasobola kukyebeera.” Nasitula amaaso gange okugalaza gyaali, nga mu maaso ge mulimu ebiyengeyenge. Nawulira enaku nga mpulira omusajja mwetaaga ebitagambika. Kyenavva nsituka, nemugwa mu kifuba okumunyweeza, wano nno embeera yeyongera okusajjuka, bweyanywegeera mu bulago.

Yakyuusa omutwe gwe mpola okutuuka nga twetunuliza obwenyi. Yampita, “Jackie, mpa omutima gwo, mpa omwoyo gwo, Jackie mpa omubiri gwo! Bambiiii…” Nga sirina kyensobola kumuddamu, nazibiriza amaaso gange, yaleeta engalo ze okunkwata ku kalevvu, nekyaddirira twaalinga akanyonyi akakulu nga kaliisa akato.

Albert yayisa omukono emabega wange nasumulula zipu y’akateteeyi, “Jackie, njagala kubeera nawe. Tudduke tugende ewala ennyo awatali n’omu atumanyi.” Ebigambo bye byaalinga omusumaali omuwanviu ddala nga bagukomeredde mu mutwe gwange.

“Tudduke tugende ewala!!!” Namwesikako nenkwata akateteeyi kange obutagwa. “Albert nedda, nedda banange. Twandibeera abasiru, naye tetuli balalu kukola kya busiru kutuuka awo.”

“Jackie, …..” Yabulwa kyayongerako.

Natunulira Albert nensoberwa. Situgaanye twaali tugudde mu mukwano, naye nali sisobola kutuuka ku ssa lya kudduka naye, mubbe ku Joan.

Natakula omutwe nga binsobedde, zipu yanema okusiba nensigala ng’akateteeyi nkakute bukwasi obutagwa. Natunula okumpi awo nga tewali muntu mulala yenna, nenebuuza butya okwetuusa mu mbeera bweti n’omusajja bba wa mukwano gwange!

Nga bwenakugamba mu bitundu ebyasooka nti Albert yali musajja mugezi, ng’ebintu bye alina engeri gyabirukamu, Albert yakikola akigenderedde bweyasalawo mubeerenga ku lusegere buli wantu. Yali akimanyi bulungi nti sisobola butagwa mu mukwano naye, singa mba nkiwadde obudde.

Albert yavva mu maaso gange nadda emabega “Jackie mpuliriza mukwano, nkwagala ate nawe onjagala; tetusobola kufiirwa kyetulina.”

Namubuuza, “ekiriwa Albert?”

“Nze nawe tetuliyo ate tetulibeerayo. Sigenda kwegaana biro byembadde nsula nga nkulowooza, naye amazima gali nti ebadde nsobi, nga n’okubeera wano ababiri kyabusiru ekisembayo…” Naye wadde nali njogera ebyo, nali mpulira nga gunsiinga olw’obutateekawo lukomera ku musajja wa bandi. Kati lengera omusajja bweyali akyuuse omutima okutuuka okwagala okudduka asuulewo mukyala we gwalinamu abaana abalungi!

Nakyuuka okumutunulira, nga nkimanyi nti nteekeddwa okukomya kyetwaali tuyita omukwano wakati waffe. “Webale nnyo byonna byonkoledde, naddala okundeetera okuwulira nti nsobola okwagala omuntu omulala atali Emma. Albert, Joan yesiimye okubeera mukyala wo; taata w’abaana be. Tolekanga mukyala yenna kujja wakati wamwe nakwerabiza Joan.”

Mu butuufu tebaalimba abagera nti omukwano mpewo, bwekufuuwa olowooza tegenda kukya. Amagulu agaali ganfaambye, gaterera nenyimirira bulungi nga sirinamu buzibu. Omusajja eyali ayimiridde mu maaso gange nali mwagala era nsuubire aba butatandika bya “tudduke tugende wala…” twali tugenda kutta ekyaama. Mukama mulungi nti yasobola okutaakiriza embeera eyali eddako, wadde ng’ebisinga byaali biwedde okukolebwa.

“Nkwegayiridde tuvve wano. Albert, nyamba onzizzeyo ewaka.”

Yassa ekikkowe “Leka nno nkusibe zipu kubanga nze agisumuludde.” Ekituufu, salina kyakukola kuba nali sisobola kwesiba. Yasembera wenali, nasiba zipu awatali kunkwatako yadde. Ekintu kyenayagala ku Albert wadde yali ayise walina okukoma, yali ategeera mangu ate ng’awuliriza. Amazima aba kuba musajja mulala, simanyi oba twandizeeyo ewaka nga tuwera!

Twatambula okuvva ku lubalama okutuuka wetwaali tulese emotoka, nga tewali avvaamu kigambo.

Nga twakayingira emotoka, “bbanga lyonna ogenda kusigala ku mwoyo gwange, Jackie!” Yayogera azza motoka mabega asobole okuweta obulungi. Nakyuusa bukyuusa maaso nemutunulira nga naye sirina kyenyongerako. Mu butuufu nali njagala kudda waka nkaabire mu kisenge kyange obwoomu, kubanga nali maze okubyonoona nga sisobola kusigala mu maka ga Albert.

Lindirira ekitundu ekyomwenda, nga Joan yekanze Albert ng’alina byagamba Jackie ku mulyango nga bayingira enyumba.

Digiqole ad

Related post

3 Comments

  • Wow! Keep it up!

  • Kimpadde esannyu 🥰🥰 okubeera nga Jackie amaze nategeera omugaso gw’okubeera omwesigwe eri mukwano gwe
    Kale nno laba, abadde nga Ali mukirooto, wadde byonna bibaddewo
    Naye alaze obwesigwa eri Joan
    Kale bambii natuuka nokugamba omusajja gwayagala nti kuuma mukyalawo
    Tofunangayo omukazi omulala
    Kyabuvumu nnyo
    Ate ne Albert erudda naye n’abeera mwenkanya n’atayisa maaso mu kusalawo kwa Jackie
    Yadde nga enteeka teeka ze zigudde butaka, ezokudduka ne Jackie bagende wala, alaze nti musajja wanamaddala,
    Kale twandimusalira omusango, naye awo tuba twerabidde nti naye muntu olumu bimulemelera
    Kale nno kikulu nnyo okutegeera ensobi yo nogigonjoola nga tenasajjukaa…. Nga era Jackie bwakoze

    • Yes munange, omanyi bagamba nti bino eby’ensi bitwemalizamu bwerere. Ate era si kyabuvvunanyizibwa okumala gerabira birungi muntu byakukoledde. Jackie yandibadde muzibu nnyo singa adduse n’omusajja wa Jackie.
      Bambi webale nnyo byonna Makula mukwano.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *