Bba wa mukwano gwange.
Ekitundu ekyomwenda.
Nga tuli mu motoka tudda ewaka, tewaliwo mboozi yonna wakati waffe. Albert emotoka yagivvuga supiidi ng’oyinza okulowooza nti emabega waliwo ekitugoba. Eky’amazima emisinde gy’emotoka gyatuyambako okukendeeza ebirowoozo ebyaali bimaamidde emitima gyaffe. Nga tutuuse ewaka, twafuluma emotoka Albert yankwata ku mokono nga tuyingira enyumba.
“Jackie, nsonyiwa munange.” Naye wadde yetonda, mu maaso ge ate mwalimu kirala. Nakiraba nti teyali mwetegefu kukikomya, era nga yali ayagala kigendere ddala mu maaso. Ng’ankute omukono, nange ebirowoozo byatambula nenzijjukira akaseera ketwaali tufunye olunaku lwonna; nakiraba nti nali nvunaanibwa kyenkanyi olw’okuleka embeera yonna okubeerawo. Namusikako omukono gwange nenziruka nga sirina kigambo kyonna kyemuzzemu.
Mu nyumba Joan yali awa abaana chai, yalina akaseko ku maaso ng’atulabye, naye ate nekabengeya mpola bweyantunulira mu maaso n’engeri Albert gyeyali anvaako emabega.
“Jackie, kiki ate?”
“Mukwano tewali. Mpulira omutwe gunuma, ate nnyo! Bambi sooka ondeke nebakemu.” Nayanguwa okumuvva mu maaso nenjolekera ekisenge kyange. Nga ntuuse mu kisenge, naggala oluggi n’amanyi nenesuula ku buliri nga nevvunise. Amaziga gatandika okumpitamu, ebirowoozo byatambula ….
Joan yali ambuziza, “Jackie, kiki ate?” Bambi Joan! Ka face ke akalungi, n’engeri akaseko gyekasenguse amatama ge mukwewunya. Joan! Mukwano gwange eyanesiga nanyaniriza mu maka ge bwenali ntubidde mu gazibu. Bwenamusaba okubeera ewuwe teyesikamu, wadde okubako kyambuuza nga sinayingira nyumba ye. Nga kati bwenti bwensazewo okumusasula!!!!
Obwoomu bwaddamu okumamira omutima gwange, nga n’ensulo z’amaziga zaali zizibukuddwa mu maaso gange. Nali nsobola okulengera ekiijja. Okufiibwaako, okwagalibwa, n’okuwaanibwa, byonna nali mbifunye mu musajja bba wa mukwano gwange. Nali mbyetaaga, ate ng’amazima Albert yali abimpadde n’okusinga Emma bweyakolanga. Naye nga nali nfunye ki? Olwo Joan nali mubalidde wa?
Mukama mulungi nti nasobola okusisimuka okuvva mu tulo otungi! Mu butuufu n’okutuusa kati, nebaza katonda nti nze ne Albert tetwasobola kutta kyaama mu nsiko gyetwaali, wadde ng’enteekateeka zaali ziwedde, era nga n’ebisinga twaali tumaze okubikola. Nga nevvunise ku buliri amaziga bwegampitamu, nagiranga ate nenkuba obufaananyi bwekyandiwulikise nga Albert ansindira omukwano, ate awo nenekolimira olw’okufuna endowooza z’ekigwaagwa.
Omuntu yakonkona ku luggi nempawamuka okuvva mu galowoozo aganji, natuula ku buliri nensimuula amaziga ku maaso. “Ani oyo?”
“Nze Joan. Nnyingire?” Olwokuba nti oluggi nali sirusibye, Joan yali yantuuseko dda wadde nga nali sinamukiriza kuyingira. Yantunulira nange nemutunulira nga tewali avvaamu kigambo okumala obutikitiki nga bubwo.
“Joan, nsonyiwa munange__ Sakitegeera__ nali sisobola munange __”
“Jackie!” Yasembera mangu wenali ntudde, naye natuula okunninaana ng’akute omukono gwange. “Tobaako kyoyogera, nandiba manyi butya bwowulira.”
Yamweenya mu mpola nga bwatunudde wansi. “Sigenda kukunenya, nandibadde nkiteebereza okuvva olunaku lwewayingira mumaka gano. Jackie, oli buli kimu kyenali negombye mu bulamu. Oli mukazi mulungi okuvviira ddala mu buto, ate ng’osobodde okukuuma omutindo paka kati. Jackie oyambala n’onyuma __”
“Joan! Ki kyoyogerako?”
“Kyengamba nti Albert yali tasobola kukyebeera, ate nga nawe__ oli muwubaavvu, nkimanyi bulungi nti mwenna muli bantu. Nze bwembalabye, simanyi lwaki omutima gwekaanze naye ate nenguma nti tewali ky’amaanyi kibaddewo wakati wamwe. Kuba era manyi nti singa kibaddewo, oba oli awo tewandikomyewo wano.”
Namukwata engalo nenzinyweeza, “nzikiririzaamu Joan. Tewali kibaddewo!”
Yantunula mu maaso nanyeenya omutwe mu ngeri ey’okukiriza. “Nkimanyi. Simusango gwo, wadde Albert. Musango gwange okwevvaako ennyo ate nenkulembeza ebyo byenjagala nzekka ng’omuntu.” Namutunulira nendaba ebiyengeyenge mu maaso ge. “Obufumbo bwange mbadde mbutwala ntyo, ate nga ne Albert simufaako bambi. Nalemwa okwefaako nsobole okusigala nga ndi muto mu maaso ge, ate nemusuulirira nnyo mw’ebyo byanyumirwa nebyakola.”
“Naye ekyo tekikufuula mukyaamu, Joan __” Ebyo nabimugamba mujjako omukono gwange. Naluma omumwa mu ngeri ey’okuziyiza amaziga. “Bwenesiba ku ebyo byonna byoyogerako; okwefaako mu ndabika n’okubeera omukyala ow’omulembe, ddala binyambye ki era nfunyemu ki? Olina Albert n’abaana, ate olina n’essanyu ng’omuntu!”
Okwogera ne Joan, omulundi ogusooka nategeera amakulu g’ekigambo “ssanyu” mu bulamu na biki ebizingirwaamu.
Bigweera wa? Lindirira ekitundu eky’ekumi ate nga kyekisembayo.
12 Comments
Bambi Joan mukazi wattu 😔😔😔
Emikwano egya namaddala egiringa Joan gikulyaliyo munsi muno……?????
Kale tubeera n’abantu abatwagalira ddala awatali kakwakkulizo
Mumazima Joan tasangika ebyaddala emikwano bwegiti tegisangika
Jackie wesiimye okubeera nga olina mukwanogwo ategeera ate nga yakutegeera
Ebyaddala buli muntu yetaaga omuntu alinga Joan mu bulamu…. kasita nkulina Makula dear.
Kituufu nfunilayo omu😔
Hahaha…. Katunoonye mukwano
Ensi enno🤭
Bwetyo munange!
Naye dala jackie yekuuma atya obutamulya!!! Joan asaaga omusajja jackie ajja kumutwala …katubilinde😎
Hahaha… Munange waliwo abantu abakuuma enkolagana yabwe n’abalala obutamala gayiika lwa buntuntu.
Nze nembeera nemukwano gwange nga Joan mbeera sikyetaaga Kilala mubulamu😍❤️
Leka mbeere Joan mu bulamu bwo… haha!
For real Joan Alina omutima omulungi buli omu asaana owomukwano nga Joan
Obuzibu nti olumu abantu nga Joan bakolebwako efujjo eryabuli kika, olw’okuba oli abeera amanyi nti oli mwangu wakutegeera embeera yonna, wadde ng’ekunyigiriza.