• November 22, 2024

Beerako n’ebyaama byewesigaliza.

 Beerako n’ebyaama byewesigaliza.

Olugendo lw’obulamu lubeera luwanvvu nnyo. Tebereza omuntu wakulira afuuke omusajja oba omukazi, nga byalabye abirabye. Ekiseera kituuka nga yetaaga okufuna mukulu mune basobole okutandika amaka oba omukwano ogwa ddala.

Abagezi batugamba nti okulimba kubi ebiseera ebisinga obungi; okulimba mukwano gwo kibi, okulimba gwoyagala kyabulabe. Obwesimbu, obwesigwa, n’okwewayo bikulu nnyo wakati wababiri. Ng’ekimu ku byo bwekibula, omukwano gubeera mu matiga.

Naye ate bwetudda mu mazima obulamu si bwangu so ng’ate ne malayika zibeera mu gulu. Wano ku nsi tuli bantu abatatukiridde nga tusobya mu ngeri ez’enjawulo. Ye kankireete bwenti; omugezi yasobola okulimba, omusiru nebwalimba atya bamutegeera. Waliwo ebintu byotekeddwa okwesigaliza nga gwe oba okulimba wekyetaagisiza. Yandibadde nsonga ki ekugambisa gwokwana ng’ewamwe nnyoko bwalina omululu!? Nogamba akukwana nga bwewayagalako mukwano gwe!? Ddala kyamagezi gwoyagala okumanya bwewali omubbi nga kati wakyuka bukyusi? Nedda.

Okumala geyogeza nebyotalina kwogera, lumu oligweteeba ate owolome singa namanya. Tolina kyofirwa singa ofuga olulimi lwo. Kituufu oyinza okulabika ng’omuntu omwesimbu atalina kyakisa gwayagala, ku luuyi olulala oyinza okulabika ng’omuntu atalina kasanikira ku mimwa gye.

Biki byewandyesigaliza ng’ofunye omuntu gwoyagala.

Omuwendo gw’abakazi oba abasajja bobaddeko nabo.

Okuleka nga nsonga za kisawo nti kabotongo gwolina omusiize bameka, otekeddwa okwewala emboozi erimu okumenya omuwendo gw’abantu bobaddeko nabo. Wandiba kale nga gwe obadde otomera bakyamu, naye sisubira nti omukazi oba omusajja omupya gw’ofunye anakitegeera nga gwe bwogezako okukimunyonyola.

Waliwo omuntu omu eyanimba kyendaba, mbu abaddeko n’abakazi babiri era nga nze mbeera wakusatu mu bulamu bwe, kumbe ng’amazima sisubira nti n’omuwendo gwabwe yali asobola okugumanya.

Byotera okukola ng’oli weka.

Abantu abasinga tulina emize egy’enjawulo, oluusi nga ginyiiza abantu abalala singa babeera bagitegedde. Okugeza nga gwe tolina buzibu na kumeketa mberenge ng’oli manju, mukwano ekyo kyesigalize si kulwa okyayibwa mu ngeri etali ngenderere. Olumu twesanga nga byetuyita ebitono biba binene eri abalala.

Ng’obusabuusa ky’owulira eri muno.

Nga tuli mu mukwano n’abantu abapya oba abo binyini betuludde nabo, waliwo lwetwesanga wakati w’ebibuuzo; naye nga yoono gwenetaaga? Oba mugambe nti nze njagala ku koma wano? Ebibuuzo ng’ebyo bitera okutugyira mu biseera ebimu. Mazima bwoba tewekakasa ky’owulira, bambi wesigalize ebikusumbuwa okutuusa ng’okoze okusalawo okwenkomeredde. Ojjakuletera muno okutandika okweralikirira eby’ekisiru kubanga gwe tosbola kwesigaliza kintu kyonna ku mutima. Eby’okweyogezamu mbu nange simanyi kyenjagala… nedda. Kati oyagala ye akutegerere?

Nga toyagala omu ku b’enganda z’omuntu wo.

Abakazi bentera okuwulira nga bemamaza nga bwebatagala ba nazaala babwe. Wandiba gwe olina ensonga zo ku lwaki toyagala muntu oyo, naye ddala ddala kyetaagisa okunyumiza bbawo nga bwotayagala maama we? Ye abaffe gwe bwotamwagala naye namukyawa? Ye yakukola ki ekyo, kyotasobola kwesonyiwa notagezako ku mwogerera bitakwatagana eri mutabani we.

Muli nga wegomba nti kale singa yali mwana wa mugaga.

Katugeze nga bbawo omulimu gwakola tegumusasula kimala nga gwe bwoyagala. Naye wamufumbirwa owoza tunakola, kati ekikukyankalanya mu mutima kye ki? Omuntu yenna yetaaga okusimibwa olw’ekyo kyabeera asobodde okukola. Okukola kya buntu, okufuna kya bwa katonda. Teri muntu ayagala kumulengeeza, bwonagezako okumunyonyola ku butya bwe wegomba nti singa kale yali mwana wa mugaga, omukwano gwamwe gwandisanawo.

Ng’olina mukwano gwe gwomatira.

Bwoba olina mukwano gwe gwewegomba kyesigalize totawana ku mubulira. Okwegomba kya buntu kasita okikuuma nga kyama omuntu wo natakitegeera. Simanyi era sikitegeera lwaki wandituziza mukyala wo notandika okunyumiza ebitakwatagana nga bwewegoma Maria mukwano gwe… Ekyo kyaama kyo munange teri alikunenya nti lwaki tewabulirako gwosula naye.

Ate abantu abamu oba kiki? Oli nawulira ddala nga yetaaga okubeerako ne mukwano gwa mukazi we oba bba we! Maria yandibeera n’amaaso agasinga agange, naye togankuba mu maaso kubanga wankwana ondaba era nabalina amaaso nga aga Maria baliyo. Tonzijja mu mbeera bambi.

Nga Maama wo yali amukugaanye.

Omanyi tweyogeza nnyo nga tuli n’abantu betwakafuna, mbu “maama yali alemeddeko sikuwasa.” Webale olugamb lwo naye kansubire gwokigambye takyaawe maama wo. Olugambo lubi, era omuntu obutaba na mizzi kyabulabe nnyo. Ojja kukyawagaanya omuntu wo n’abenganda zo ate omale omutende empisa embi ng’obuzibu bwavva ku butakuuma byaama byo.

Nga wali wegaddanzeko n’omuntu omusufu mu masuka.

Ebbanga lyewamala ng’otagala n’abantu ab’enjawulo wandiba wafunako kafulu mu nsonga z’ekitanda, naye amazima tekirina wekikwetaagisa kunyumizako muntu gw’olina. Omuntu wo ayagala kulaba nga werabira bewalina mu biseera eby’emabega. Muwaane nti yasinga mu bewali olabye, olabe ebirungi ebikivvamu.

Omuntu nakusobera ng’akunyumiza nga bwasubwa eyali muganzi we. Mbu “kale banange Maggie yali wakabi mu kufumba omukyere,” kati bwaba yali wakabi oyagala nkole ki nze? Yagufumba mwagulya era ne mwawukana… kati kyesonyiwe tekirina wekiyambira oyo gwolina kati.

Nga si yeyali ow’ebirooto byo.

Nawulirako omukazi eyabuuza bbawe nga bali mu buliri “kati olwo bwewali awo n’owulira nga nze mukazi alina okuzaala abaana bo?” Ko omwami nti “nedda, nze nali ntusiza kuzaala ate nga Damalie gwenali njagala omusajja amuntuteko.” Mbu omukazi katono akutuke omutima… hehe.

Mazima ddala nga nsonga ki ekugambisa muno ebintu ebifanaanako bityo? Bantu mwe mwebuza amagezi.

Digiqole ad

Related post

2 Comments

  • ebango waliwanika

  • Obulungi nogatako amagezi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *