Bwoba owulira emirembe ng’omwagalwa wo takuli kumpi, wandiba oli mu mukwano omukyaamu, kituufu oba ssi kituufu?

Tasha agamba nti ayagala nnyo bbaawe ebitenkanika, naye tamanyi lwaki emirundi egisinga obungi awulira emirembe nga bbaawe amusiibula nti “jalaga agenda kumalayo enaku eziwera?
Ayongerako nti obutabeerawo bw’omwami we bumuletera emirembe mu mutima. Oluusi amanyi n’okusabirira nti singa omwami afunayo olugendo atere amuleke awaka yekka.
Wano wembuliza ekibuuzo, kiki ekivvaako embeera bweti? Ye abaffe, osobola okukiririza mu Tasha nti ayagala nnyo bbaawe?
Kozesa akabangirizi akali wansi (comment setion,) tuyambe Tasha okutegeera kyayita ekizibu kwekivva. Nasanyuka ng’ekibuuzo ekyo wagulu mukinzizeemu.
Webale!
