Dad David [David Ssenyonga.] owa DMS records.
David Ssenyonga ye nanyini DMS records esangibwa e Makindye Lukuli Nanganda. David Ssenyonga abangi bamumanyi nga Dad David. Mu kisaawe ky’okuyimba wano e Uganda, ataddeko etofaali ddene. Namukyaliddeko ku studio ye nanzitotolera akawonvu nakaga ku gyenvudde we.
Obuto bwa David Ssenyonga
David Ssenyonga yazalibwa 1984 musaza ly’egomba, ng’azalibwa omukyala kati omugenzi Fausta Nabunya n’omwami gwatasobola kumanya mannya ge era nga tamanyi oba gyali mulamu. Maama yali muna Uganda nga Taata mu Botswana. Yalina nnyina omuto nga kati naye mugenzi Nanfuka Rose, eyamunyumiza engeri maama gyeyasisinkanamu Taata we. Mbu maama we yali mukyala mutalaazi w’amawanga nga eyo gyeyasisinkanira omusajja eyamuzaalamu omwana. Ebyembi Maama yafa mangu nyo nga David alina emyaka enna gyoka. Agamba nti tajjukira Taata wadde okumanya amanya ge.
Oluvvanyuma lwa maama okufa, kojja we mwami Kawooya nga muganda w’omuyimbi Sseleste Kasule ye yamutwala e bukomansimbi gyeyatandikira okusoma kwe. Kojja we ono yamuwerera okutuusa ng’amaze eky’omusanvu. Oluvvanyuma kojja we ow’ekampala mwami Kasule yamugya mu kyaalo namuleeta ku kibuga gyeyamalira siniya ey’okunna. Erinnya lya Ssenyonga eritumibwa ab’enyonyi balimuwa buwi, anti Taata we yali mu Botswana gebatasobola kumanya bimukwatako.
Ayingira ddi ensi y’okuyimba oba ey’ebiddongo?
Davida agamba nti ng’amaze siniya ey’okunna mu mwaka gwa 2000, kojja we (Mw. Kasule) yamutwala musomero ly’okuyimba. Nsambya police barracks music school eyo gyeyasomera okumala emyaka ebiri. Ng’amaze okusoma yasalawo okwongera okunonyereza ku byeyali asomyeko. Yasobola okusoma nga eno bwakuba engoma ziyite jazz mu band ez’enjawulo anti kojja we naye yali muddongo.
Yegata ku Savannah band eyali ekulirwa Mw. ,nga baali basangibwa ku pool joint okumpi ne bbaala ya Suzana e Nakulabye, nga eyo gyeyakugukira obulungi mu ngoma. Savannah bandi yalimu abayimbi nga; Abdu mulaasi ng’alina oluyimba lwa charging, Amiri Ssengendo ng’alina oluyimba lwa Toofa, Ssanyu ng’ayimba z’abayimbi b’ebweru, Nakawooya Aidah ng’alina oluyimba lwa giraasi etangaala, Gerald Kiweewa ng’alina oluyimba lw’abateesi ba lo, n’abalala bangi abaali mu band eyo. Eno nayo yamalayo emyaka nga ebiri.
Mu 2002 yegata ku perfect band eyali ekulirwa Rashidah Mukasa K. Band eno teyalina kifo kyankalakalira, omuziki bagukubiranga mu bbaala ez’enjawulo. Mwalimu abayimbi nga Emily ayimba enyimba z’olunyankole, Lasta Charles & Sister Charity, Lasta Mutebi ono nga yali asinga kuyimba nyimba za Lucky Dube. Yamalamu kaseera katono navvamu.
2003, yegata ku Millenium band eyali ekulirwa Rukutana kati minister, nga baali babeera ku millenium hotel e zana. Muno mwalimu abayimbi abawerako. Okugeza Gloria Nambi eyakuyimbira ekyombo kya nuwa newankubadde nga kyali kijjama, Prossy Mukisa nga yali ayimba z’ebweru, Offa Kayiira nga ayimba za Lucky Dube, Lasta mutebi naye yalimu nga akuba n’ebivvuga. Muno teyawezamu mwaka navvamu.
Mu 2004 yegata ku Kago’s production nga yali bwaise. Agamba nti eno balina abayimbi abalungi nga balina enyimba ennungi. Nakawooya yeyali emunyeenye yabwe n’akayimba giraasi etangaala. Mwalimu abayimbi abalala nga Harriet Kisakye ng’alina enyimba nga Kandaha, Ssentala, n’endala ezamutunda ennyo, Prossy Nanfuka ng’alina oluyimba jjangu eno, Brenda Namatovvu n’oluyimba lwe olijja ddi gyensula, mwalimu Moses Kwagala, ne Stecia Mayanja ono nga okuyimba okwaddala yakutandikira eno.
Mu kago’s nayo tebalwayo, nebaddukayo nebatandikawo band eyabwe. okusasika kwa Kago’s production kwekwali okusituka kwa Riders production nga ekulirwa Harriet Kisakye kati omugenzi. David agamba nti yabeera mu Riders production ng’abakubira engoma okutuusa Harriet lweyanyuka obulamu bw’ensi eno.
Atandika ddi olugendo lw’okufulumya enyimba?
David agamba nti wadde yali akuba engoma mu band ez’enjawulo, wakati wa 2002 ne 2003 yatandika okuyiga ebintu by’okufulumya enyimba mu sityudiyo. Green grass big for real studio eyali esangibwa e Najjanankumbi, eno gyeyatandikira era gyeyayigira ebintu ebisooka mu mulimu gw’okufulumya ennyimba.
Bweyavva ku Green grass studio, yafuna omugaga nebatandika Hope studio e kawaala. Kuzimu enyimba zeyakolera mu hope studio, kwaliko “mpulira njagala nfune otulo olw’omugenzi Moses Radio. David agamba yakola enyimba nyingi ng’ali mu hope studio. Bwekiba kisa kye olwa Wilson Bugembe, nkuwembejja album eya Grace Morgan, tunakuwa ki ffe oluyimba lwa Betty Muwanguzi, Omusajja omukodo yankeeta yantama olwa Nantabaazi, No creature aleeta Hilderman bamukolera Mazongoto eyafuka ensonga mu gwanga.
Mesach Ssemakula bweyawuliriza oluyimba mazongoto, yayita David namuwa omulimu ku studio ye eya Khan records ku Calendar hotel e Makindye. Agamba nti eno yakolerayo enyimba nyingi ez’abayimbi abaatikirivvu. Ezimu ku album z’enyimba zeyakolera mu khan records kwaliko; Majangwa album eya Mariam Ndagire, Mulamu album eya Stecia Mayanja, Omukozi alidde wa album eya Charles Ssekyewa, Abakozi ba safali album eya Moreen Nantume, Tezibirwa kubo album eya Mesach Ssemakula, nga kuno kwaliko enyimba nga; Nyimbire omutanda, Wasa mukwano gwo, Abawagizi bange nendala nga zonna zaali z’amanyi. Kwatakwata olwa Dj Micheal ne Nyumirwa nnyo gyempita olwa Jemima Namatovvu, nazo yeyazikolera mu Khan records. Bayimbi bangi nga nabamu takyabajukira beyakolera ennyimba mu khan records.
DMS yatandika ddi?
David bweyali akyakolera ku Khan records eya Mesach, yakizuula nga abayimbi bangi abato tebawebwa mukisa kubanga tebalinanga ssente. Yakiraba nti yalina okubako kyakolawo okusobola okuyamba abayimbi bano abato.
Yakwata akasente akatono keyalinawo nagula ebyuma. Ku kye busabaala e masajja weyafuna enyumba mizigo ebiri napanga ebintu bye. No Creature ye muyimbi gweyasooka okukolera oluyimba Guli mu ddiiro. DMS nga bwenkugambye ekigendererwa kyayo, kwali kuyamba bayimbi bato. Yafuna abayimbi bangi beyakolera olw’okuba yali tagoba ate nga abawa obudde obumala. Agamba nti n’okutuusa olwaleero, DSM ewa omukisa eri oyo yenna abeera ayagala okuyimba. Wetwogerera DMS yakulakulana era ng’ekoledde abayimbi bangi.
David akoze enyimba nyingi mu DMS records era nga ezimu zezino wamanga.
- Hilderman ______ Muna U.
- Baby Rich _________ __ Enyimba ze kumpi zonna.
- John Hill Kyobe ______ Tugenda mu lubiri.
- Nantume Moreen ____ Champion.
- Stabua Natooro ______ Enyimba ze zonna; Tujanjawaze, bajja kukakasa, o’womukisa, kuba kweraga,….
- Stella Kayaga _________ Mwali luddawa.
- Chriss Evans __________ Ndikusasula ki, mulungi, omuzadde ow’ekisa, nendala.
- Haruna Mubiru _______ Walahi, Kanya mpisa nendala.
- Ronald Mayinja _______ Sente y’ekibi
- Vicent Ssegawa _______ Amefuga mu bufunbo, basajja kubula.
- Mathias Walukaga ____ Bakoowu, Amannya ga kabaka.
- Willy Mukabya ne Fred Ssebbaale ____ embaga y’omulasi
- Fred Sseremba _______ Neyanziza
- Hajjat Madina ________ Bibuuza
- Martin Angume ______ Switch
- Benna Namisinga _____ Ekibaati
- Nabbi Omukazi _______ akagato.
- Eddy Kenzo ___________ biwobe
- Enyimba za Kazibwe kappo ezisinga obungi yazikoze. Okugeza; ndiira butafa, si gwa jjajja wo, amalala, etaka nendala nga sorry nalwo yeyalukola.
- Enyimba nyingi zakoze era nga tasobola kuzimenya zonna.
Enyimba David zakoze naye nazewulira.
David agamba nti buli luyimba lwakola aluwa obuude obumala era nafuba okulaba nga luvvayo bulungi mu matu gawuliriza. Ku nyimba zakoze enyingi alinako enyimbaezamukwata omugamba. Oluyimba Switch olwa Martin Angume kati omugenzi, ekibaati olwa Bettina Namisinga, n’amannya ga kabaka olwa Walukaga, ezo enyimba naye yewunya sayansi gweyazitekamu.
Birungi ki David byafunye mu mulimu guno?
David agamba nti afunye ebirungi bingi era mumativvu olw’ebyo byasobodde okwekolera, gamba nga okuba n’amaka agage ku kampala kuno. Agatako nagamba nti musanyufu nnyo olw’okuba asobodde okukola ekyo kyeyali yegomba okukola oba okubeera. Okubeera omumanyifu nakyo akyenyumirizamu nnyo. Nga n’ekisinga obukulu, ekisaawe ky’enyimba wano e Uganda akigaseko etofaali ensi lyetalibuusa maaso.
David Ssenyonga akola biki ebirala ng’ovudde ku kufulumya enyimba?
David Ssenyonga mubulizi wa njiri eyamazima. Era nga guno omulimu agukolera buli wabeera afunidde akakisa gamba nga ku studio, ku sosomediya, ku kanisa, mu kubo nabuli wantu. David musajja mu seventhday nga kanisa ye eri Najjanankumbi.
Mu myaka etaano yeraba wa?
Agamba nti eddimu eddene lyalina kwekufuba okulaba ng’atendeka abantu basobola okwesiga nga nebwaliba taliwo, DMS erisagala egenda mu maaso. Kino asubira nti mu myaka etaano agya kuba amaze okukikola. Ekirala kyayagala okukola kwekulinyisa studio eno ebeere ng’erina abayimbi abaayo abalina endagaano mu mannya ga DMS records.
Okusomooza kwasisinkanye.
Agamba nti ebisomooza nga bwebitabula mu mirimu gyonna, naye asisinkanye ebizibu bingi mu nsi y’okuyimba. Ekisooka, mu kuyimba temuli mikwano gyankalakalira. Omuntu abeera mukwano gwo ng’alina kyayagala okumuyambako era nga bwekigwa, obeera tokyalina makulu gyali. Yayongeddeko nagamba nti abayimbi balinga bakazi, oba mune ng’alina kyakwagalako.
Kizibu okubeera n’amaka agatebenkedde ng’oli muddongo. Abantu tebalina bwesigwa bumala mu bantu bebagala. Buli lwovva awaka omtu wo ab’alowoza nti ogenze mu bwenzi. Ekintu David kyawakanya. Wenjogerera bino si mufumbo naye alina abaana.
Agatako nagamba nti abayimbi abato nabo sibangu bakukolera. Bagala ekisinga ate nga tebalina ssente. Obuzibu nti nebwobakolera mu bwavvu bwabwe, tebajjukira nga bamaze okutuuka. So nga ate okuyimirizawo studio si kyangu, amasanyalaze goka kizibu buzibu. Mbu ate n’abayimbi abanene abamu beyisiza ddala bubi. Yampadde eky’okulabirako Eddy Kenzo, yamukolera oluyimba biwoobe natasasula wadde wadde omunwe gwe nusu. Mbu bweyagezako okumubanja yamulaga nti ye munene nnyo nga talina kyasobola ku mukola.
Ki ekifuula David okuba ow’enjawulo ku ba pulodyusa abalala?
Okuba nga mukubi wa bivvuga ku stage, kiretera enyimba ze okuba ez’enjawulo. Agamba nti ye bwaba akuba enyimba ze, takulembeza bwagazi bwe. Akozesa bukugu bweyasoma n’obumanyirivvu bwafunye mu myaka amakumi abiri.
Buli muyimbi amuwa obudde obumala nakola ekyo ekisinga, kino kimufuula ow’enjawulo. Ba pulodyusa abasinga bafaayo kitono ku bayimbi abato nga tebabawa budde bumala. Bakulembeza nnyo abayimbi abanene neberabira nabo basooka tebalina abamanyi.
Ebyuma byakozesa mu studio ye byebino ebiriko. Kyovva olaba nga enyimba ze zibera zizitowa nga teziwewera. Kino kyeyolekera mu ngeeri nti tewali muyimbi gyalitwala luyimba lwa David nga luwedde nebalugoba.
David musajja wa katonda, akulembeza amazima mu buli kyakola. Abayimbi bamwesiga olw’okubakolera ekyo ekibeera kimusubirwamu. Tafera, talimba, tasubiza, kyatasobola, mu bufunze tosobola kwejjusa nga okoze naye oluyimba.
Okuwumbawumba ebikwata ku David.
David agamba nti omulimu gw’obwa pulodyusa mulungi naye ate gulina ebizibu byagwo nga emirimu emirala gyonna. Agufunyemu ebirungi bingi era nga tatoma. Yebaza katonda amukumye nga mulamu namutaliza ebikemo ebifundikidde mu mulimu guno.
5 Comments
Webale okuwandiika n’okunyumya ku Mw. Ssenyonga. Obyokuyiga biingi.
Wewawo Mwaami Katamba.
Yebale kukola..
Okulemerako kukutuusa kubyoyagala nebilungi bingi byobade tosuubira.
Kugezako munange.
Era munange