• November 21, 2024

Ddala abagalana bateekeddwa okuwuliziganya buli lunaku?

 Ddala abagalana bateekeddwa okuwuliziganya buli lunaku?

John ne Sarah baali mu mukwano omunyuvvu ddala bwebaali bakyakolera mu kitongole ekimu. Ekiseera kyatuuka John nafuna omulima omusavva mu kitongole ekimu, eri mu bitundu bye Mbarara.

Sarah yasigala ku mulimu kwebaali. Balabagananga wakiri omulundi gumu buli wiiki. Sarah yakubanga essimu emirundi egitakka wansi w’etaano buli lunaku. John yesanga mu mbeera ng’amassimu ga Sarah gamumazeko emirembe.

John yagezako okwogerezeganya ne Sarah ku ky’okukendeeza amassimu, naye tekyayamba. John yali tafaayo ku kya kumusindikira bubaka obuwandiike kabubeere 100 buli lunaku, naye okumukubira essimu eza buli sawa!

Sarah buli lweyakubanga essimu John natagikwata, ng’asindika obubaka obukolima n’okumwogerera ebikankana nga bweyafuna dda abawala abalungi okumusinga. Mbu Saraha yalinga atebereza John okubeera n’abawala abalala nga y’ensonga emugaana okukwata amassimu.

John yakyaawa Sarah mu mutima ne mu birowoozo, omukwano gwayiika.

Ekibuuzo:

Essimu eza buli kadde wakati mu bagalana, zisobola okuba emanduso mu kusatulula omukwano gwaabwe?

Kozesa akabangirizi akali wansi (comment setion) otuwe endowooza yo.

Webale!

Digiqole ad

Related post

8 Comments

  • Owe bubba bwatyo, nze mba natemye dda. Sikulwa nga apangisa bakijjambiya okuntema.

    • Hahaha…. Ne John byamusukako natema.

      • Nsubira okubeera nga John yali tayagala mwana wattu Sarah.
        Omuntu Ali mu mukwano era nga ddala mwana munno omuwulira kumutima, nsubira buli kakisa kofuna oba oyaayana okumanya kyagamba okwo kwosa no kuwulira eddoboozi lyee nga bweriteetera mu mattu go.

        • Naye David twogere amazima, munno nebwoba omwagala okukamala, muyinza okukuuma omuliro kwemutandikira?
          Kyengamba, omukwano omupya gulina engeri gyebugumiriza omuntu… Naye temusobola kukuuma mbeera eyo okumala emyaka egiwera 10. Bwemuba musobola, mbeera mbesiimisa ebyaddala.

          • Olaba owomukwano Praxy. Singa ddala muba nokwagalana okwa namaddala ebikolwa newebikendeera naye emitima gyo gyeyongera Ku siima Hana mpozi nga omu Ku bagalana yali oba nga yafunayo amusingira omwana wattu. Kituufu ebisinga bikyuuka naye era empuliziganya yo terina kuvaawo.
            Era bweviira wo n’omukwano guba olwo gufuuse gwa ku kuba biraka.

          • Oli mutuufu David nti empuliziganya bwevvaawo wakati w’abagalana, omukwano gubeera guli mu matiga. Mu mukwano olumu kyetaagisa okujjukiza munno nga bwomwagala okukamala, era nga tekyandibadde kya kugamba nti “kasita amanyi nga bwemwagala, nebwesimujjukiza.”
            Naye ate jjukira “katono katono bby nga kansonga….” Omuyimbi omu wano yeyayimba. Buli kintu kyonna bwekissukka kitama. Kati lowooza ku John gwebakubiranga amassimu aga liti liti buli kadde n’awatali nsonga nti y’eno!!

  • Olaba owomukwano Praxy. Singa ddala muba nokwagalana okwa namaddala ebikolwa newebikendeera naye emitima gyo gyeyongera Ku siima Hana mpozi nga omu Ku bagalana yali oba nga yafunayo amusingira omwana wattu. Kituufu ebisinga bikyuuka naye era empuliziganya yo terina kuvaawo.
    Era bweviira wo n’omukwano guba olwo gufuuse gwa ku kuba biraka.

  • Tekitekeddwa kuba teeka.
    Essimu gikube nga waliwo ensonga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *