• November 21, 2024

Ddala abantu babi oba neyisa yabwe yembi?

 Ddala abantu babi oba neyisa yabwe yembi?
Omukazi ng’ali mu birowozo.

Ebbanga lyonna tuze tuwulira abantu ab’enjawulo nga batuyigiriza ku migaso egiri mu kusonyiwa abo abatuyisa obubi. “Okusibira omuntu ekiruyi ku mutima, kibeera nga kumupangisa kifo kyabwerere mu mutwe gwo,” kino ky’ekintu kyenejukiza buli kasera nga wabaddewo omuntu ampisiza mu ngeri etali yabwenkanya.

Waliwo akatabo kenasomako naye sikajukira bulungi linnya lyako. Omuwandiisi alina weyagambira nti “buli muntu alina ekirungi ekimuliko,”era nga kikwetagisa okubeera omugumikiriza n’omuntu oyo. Nga nkyagezako okukiteeka mu mutwe gwange, waliwo abantu bensisinkanye mu bulamu nga bampadde akasera akazibu okukiriziganya n’ebigambo by’omuwandiisi w’akatabo kenjogerako. Ddala abantu abamu babi oba bikolwa byabwe bye bibi? Kakwate ki akali wakati w’omuntu akukoze ekibi n’omuntu nga mubi?

Ku myaka gyenina, nsisinkanye abantu ab’enjawulo abankoze ebintu ebisemberayo ddala obubi. Nga tukula twayigirizibwa okusonyiwa abo abatuyisa obubi era nga tusanidde okubagaliza ekisinga, mbu bwoba tosobola kusonyiwa oyo akuyisiza mu ngeri etali nungamu, era nga tosobola kumwagaliza kantu kalungi konna, obeera olina omutima omubi oguliko eko. Naye abaffe nebuuza, okubeera obulungi kw’omuntu ampisiza obubi lwaki kufuuka buvvunanyizibwa bwange okumusabira abeere bulungi??? Njogera ku muntu ampisiza obubi mu bugenderevvu. Ye lwaki tutekeddwa okugumikiriza abantu ng’abo okubasabira ebirungi, so ng’ate waliwo abatalina tabbu? Ndowoza kisinziira ne ku kufaayo kwetwalina jebali.

Ku nsi tekuli malaika. Sirimutumbavvu atamanyi nti nali neyisizako obubi mu bulamu bw’omuntu omulala. Nkoze ebikyamu. Era wandibeerayo omuntu andabira ddala “ng’ekisiraani,” [newankubadde nina okukiriza nti sibwekiri!]. Endowoza yange ku kino nambulukufu, naye nga yandiba enzibu okukiriza. Abantu si babi wabula tebafaayo nga gwe bwofaayo jebali; kino kyekizaala obukyaayi bwobalinako ku mutima.

Wano ku nsi buli muntu alina okusalawo okukwe. Okusalawo kuno kukolebwa wakati mu kwagala. Omuntu asalawo okukwagala oba obutakwagala. Omuntu gwoyagala obutakwagala eyo tetekeddwa kubeera nsobi yo. Kyandiwulikika nga ekiruma, naye kitwale nti omuntu oyo alina eddembe ly’okusalawo ku ki kyatekeddwa okukola. Kirowozeko bwoti; omuntu gwoyagala teyayenda, teyakusulawo, teyakuyisa bubi olwokuba nti “muntu mukyamu,” nedda. Yali tafaayo jooli kimala obutakulumya. Atekeddwa okuba nga yalina ebintu oba abantu bafaako okusinga gwe. Nga obulamu bwebuli, lumu oyinza okumusanga n’omuntu we newegamba muli, “n’oyo agya kumukyawa nga bweyankyawa,” nedda munange, kiyinza obutabeera nga bwolowoza.

Nzikiririza mu ntuuko, oluusi kino kituyamba okusonyiwa n’ogenda mu maaso n’obulamu bwo. Olwokuba nga gundi yakuyisa bubi, tekitegeza nti omupya gwafunye naye agenda kumuyisa bubi. Jukira kyenakugambye nti “okusalawo kukolebwa wakati mu kwagala.” Gundi wo yandiba afaayo ku muntu omupya gwafunye okusinga bweyali afaayo jooli. Nsubira kiri mu butonde bwaffe ng’abantu okufuna obujja ate nga bwetugumya. Tetwagala kukikiriza nti twafaayo nnyo okusinga bwebaali batufaako. Mu bantu twegumya naye nga mu bwongo tukiriza nti batuyisa bubi kubanga baali tebatwetaaga.

Amazima gali nti wafaayo nnyo okusinga bwebaali bafaayo jooli, era nga bakumenya omutima. Tewekubagiza olw’abantu abakuyisa obubi, kivveko otwale obulamu bwo mu maaso. Sikwagaliza kumala bisera byo bisigadde ku nsi nga olowoza ku bantu abakulumya… Naye era sikuwagira kusula mu kanisa nga osabira abo abakuyisa obubi bafune byebetaaga, obwo sibuvvunanyizibwa bwo. Besonyiwe, basonyiwe bakole ebyabwe nawe otyo. Tebasalawo kulumya kubanga baali bantu babi, basalawo okulumya kubanga baalina byebafaako okusinga gwe.

Maliriza ngamba nti wakati w’enkolagana yaffe n’abantu abalala [ey’obuzadde, omukwano, emirimo n’emikwano egya bulijjo], waberewo obutemalamu. Wandiyagala omuntu ebisembayo, ye natakwagala kimala. Kino tekimufuula mubi. Okutegeera kino kikusobozesa okukuuma emirembe wakati wo n’abantu abakuyisa obubi. Era nga kigyakuyamba okutegeera amaanyi agali mu kwesonyiwa, nti gatandika nakukiriza nga bwotaali kimala eri omuntu oyo atakufaako. Nkimanyi kyakulumya, naye kireke kyesonyiwe kigende.

Digiqole ad

Related post

7 Comments

  • Owaaye gyeebaleko

  • Interresting

  • Ekyamazima ebino bizibu…
    Eyakuyisa obubi osanga yo amuwaana nakugamba omuviire ku muntu we kubanga yamuyisa bulungi.
    Kale omutu bwaba takuyisiza bulungi tekikwetagisa muwalana..awo obeera welumiza mutwe kwabwerere..akyesinyiye nagenda mumaaso aba asinga.
    “Bayibuli egamba sonyiwanga” naye nze nina endowoza egamba nti Sonyiwa naye tewerabiranga muntu akoze obubi nekyo kyakukoze..kikuyamba okwenenya abantu nga tonaba bafuula mikwano jo.

    • Nze ngamba otekeddwa okusonyiwa oyo akuyisiza obubi ate newerabira n’ekyo kyakukoze… Oba si kyo, tomusonyiwa era tewerabira ‘ekyo kyakukoze.

  • Wewawo,obuwandiike obwo wagulu bwona bulimu ekinyusi, naye waliwo wotuuse nogamba nti. “Abantu si babi wabula tebafaayo nga gwe bwofaayo jebali” , ako nkakutte nyo, era nkagasse ku bimu ku bigambo eby’amagezi byengiberera.

    • Webale editor wange.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *