Ddala gwoyita omwagalwa ate kikwetaaisa okumuloga nti akwagale nnyo?

Ntandise na kibuuzo nga nkiwereza gyooli!
Bulijjo nkoma kubiraba mu butambi bwa zi sinema nga simanyi nti luliba olwo nembiwaako obujjulizi, ngamba bino ebintu by’okweraguza mu mukwano ng’abantu banoonya obuganzi.
Kansooke nkulamuseko nti oliyo otya nno omusomi waffe omulungi? Nkomyewo n’emboozi endala, nga bwendi ow’olugambo nagambye nti kano akaboozi kankatwalireko bannange nabo bakakubaganyeko ebirowoozo. Nabadde eyo ku muzigo gwange, laba ku mulirwano bwewabalukawo olutalo wakati w’abagalana omwami n’omukyala, leenya nno nga ava ku ki? Mwami kufuna lugambo nti omukyala amuluunga, mbu era ayagala kumulekamu kasala kkubo.
Olwo nno omwami ng’olugambo alugya wa? Mikwano gy’abakazi gino, mukwano gw’omukazi mwenyini nanyini kumulagirira musawo wa kinnansi, laba ate y’omu era eyategeezeza omusajja ku kyaama mukyala we kyeyakusika.
Omwami yayombye ne mukyala we nga bwamulumiriza obulogo, nga n’omukyala bwamubuuza obujjulizi, ko omwami nti ndaba mukwano gwo maama Naka mwenyini eyakutwala ku muganga yeyabingambye.
Omwami yayongeddeko nti “yandagiridde n’eddagala gyeriri omusawo gyeyakugamba okuliteeka”
Mu kwekaza kw’abakazi nga bwebaba, omukazi yekangabiriza nga bwabuuza omusajja nti “liri luddawa ssebo tugende olindage, omanyi Taata Sseki nze wantamyako kuwuliriza ngambo za kisiru.”
Omwami nno naye yabadde amazeeko nga mere ya muwogo, era ndowooza ng’ayagala ensonga zimalirizibwe! Yakutte mukyala we ku mukono ng’amuyingiza nyumba, twagenze okuddamu okubalaba ebweeru, ng’omwami akasuka bintu bya mukazi wabweru, nga bwamulangira obulogo nti era ye amukooye, akwatte ebibye amuviire. Akasukke bintu byoka nno, nebyawongo omukyala byeyajja kumuganga, omusajja yabikasuse wabweru enduulu neraya mu bantu ababadde bakungaanye okwerabira ogubadde. Omusajja yasabye mukyala we okugenda aloge ku bewabwe nti ye talogwa.
Nze nagenze okulaba ng’abantu baweredde ddala, ko nze ntayi, sirina gwakwatibwa bifaananyi ate nesaange mu mawulire! Nemuludde mpola nga nzira mu muzigo gwange nti kasita ebisinga obungi mbiwuliridde, ebirala nga bananyumiza.
Wabula ebyaddiridde tebyabadde birungi ku luuyi lwa maama Sseki kubanga mbu ekyaddiridde Taata Sseki enyumba yagitaddeko kufulu mpya nga omukyala akyaali kuwoza kino na kiri. Nze munda mu nju yange mwenabadde ate mwenawuliridde amaloboozi nga gava mubantu abamu, nga bagusalira omukazi, ate abalala nga bamuwolereza nti omusajja bwotamuloga tokwasaamu yadde akatono bwekati.
Olw’okuba abasomi baffe sagala kubayisaako buli kempyulidde, kwekuwandiika akaboozi kano nga mbuuza;
Ddala kituufu omwagalwa wo oteekeddwa ku muloga bulozi okusobola okumusigaza, oba bulogo bw’abakazi mu bwongo bwabwe obuanafu?
Bambi wereza endowooza yo wammanga mu kabangirizi akalekeddwawo (comment section)
Webale nnyo!
