• November 21, 2024

Ebika by’abasajja byoteekeddwa okwegendereza ng’oli mukazi.

 Ebika by’abasajja byoteekeddwa okwegendereza ng’oli mukazi.

Abasajja bonna tebafaanagana era balina ebintu bingi ebibaawula. Kino kisabulula enjogera y’abakazi egamba nti “abasajja bonna bafaanagana.”

Abakazi naffe tulina byetwagala ku basajja nga byanjawulo. Abakazi abamu bagala abasajja abalina emibiri egirabika obulungi. Abakazi abalala bagala bano ba tumbuto nga jobeera enkya agenda mu leeba. Obadde okimanyi nti waliwo abakazi abagala okulambikibwa abasajja mu buli kyebatuusaako engalo? So ate waliyo ne bano abakyaala nga bebagala okukulembeera buli kimu ewaka, omusajja nga tateekeddwa kulamula kintu na kimu ewaka.

Naye newankubadde nti abakazi twagala ebintu bya njawulo mu basajja, tulina ebitugatta awamu. Okugeza buli mukazi yandyetaaze okubeera n’omuntu gwawuliriramu emirembe, nga amusanyusa, nga afaayo eri amaka, era nga amanyi bulungi obuvvunanyizibwa bwe ng’omusajja.

Wegendereze ebika by’abasajja bano.

  • Omusajja nga tatya wadde okufaayo ku bulamu bwe.

Abasajja ab’ekika kino batera okwagalibwa kumpi buli mukazi gwebasisinkana. Tebatera kufaayo ku bulamu bwabwe. Wadde kufa oba kusibibwa, bbo balimba bulumbi. Batera okuba n’omukwano ogwa ddala eri abo bebagala. Naye nga bwengambye nti tebatya kufa wadde okusibibwa, sisuubira nti waliwo omukazi eyandyagadde okulaba bbaawe ng’afa mu bintu eby’ekisiru oba okumala obulamu bwe bwonna mu komera olw’ensonga zasobola okwewala. Era sisuubira nti waliyo omukyaala eyandyagadde okuwulira bbaawe ng’amusuubiza nti essawa yonna ngenda kutta omuntu bansibe.

Newankubadde kirabika ng’ekinyuma okubeera n’omuntu asobola okwewaayo ku lulwo oba olw’abalala, naye amazima abaana tebakuzika ng’oli Namwandu oba nga omwami wo yasibibwa. Okufa kyateeka era kya butonde, naye omuntu tateekeddwa kwetega butaala bwa walumbe.

  • Abasajja abefaako ennyo ku mubiri.

Ku mulembe kwetuli ennaku zino, byaddiba omusajja bwasalawo okumala gambala byasanze nga teyefaako. Naye, singa omusajja atandika okulowooza ku by’okunyirira okusinga ku kyalina okuyingiza mu nsawo, kiriza oba gaana ttabbu wabeerawo obuzibu. Omusajja nga buli wabeera akalabirwamu tekamuvva mu ngalo, oyo munange oba otomedde. Abasajja ekika kino tebatera kuwangaala n’abakyala, olw’ensonga nti buli bbanga lyemumala agenda okulaba nga tokyamusaana okuliridde. Abakazi abamu bamanyi okusaako emibiri nga bamaze okuzaala, kino tekitera kunyumira basajja kino.

Ng’omukyaala sisuubira nti wandyagadde okuwangaala n’omusajja amala ebiseera bye ebisinga obungi mu ndabirwamu. Era sisuubira nti wandyagadde okubeera n’omusajja nga wakiri musula enjala awatali kyakulya, ye nafuna ka mekako asobole okwezigula.

  • Abasajja abeyita “mutabani wa maama.”

Omusajja okwagala nnyo maama we tekirimu sitaani yenna. Amazima omusajja afaayo eri maama we akuwa esuubi okulowooza nti nawe onabeera wa muwendo mu bulamu bwe ng’omukyaala. Naye singa otandika okulaba embeera ezitali za bulijjo ku kyobadde osuubira, tolemwa kwekengera. Embeera okugeza; nga buli lwemufuna obutakanya ng’abagalana, addukira wa maama kuloopa. Nga buli kimu awoza kamale kubuuza ku maama. Nga buli lwemufunawo ku ssente enyingiko, awoza kanzitwalire maama azitereke. Nga buli kulwala agenda waka wa maama amujjanjabe gyobeera gwe toliiwo. Engoye zayambala, nga maama yazigula. N’ebirala bingi nga maama yabimala, munange awo obeera toyinawo maka. Teebereza nti singa maama oyo akeera namugamba okuwasa muwala wa mukwano gwe, tasobola kugaana yadde eddakiika emu bweti.

  • Abasajja abatalina kirubirirwa mu bulamu.

Wadde ng’azaalwa mu maka ga bamufuna sente, omusajja yenna ateekeddwa okubeera n’omulamwa oba ekigendererwa mu bulamu. Teri mukazi nga ategeera bulungi eyandyagadde okumala obulamu bwe n’omusajja atayagala kukola. Abasjja ekika kino bagala nnyo okubeera awaka nga bazanya obuzannyo ku kompyuta, okulya, soso mediya n’okwebaka. Mazima ddala ye nabeera ewaka ng’ogugwe ewaka ng’omusajja kukuzaalamu baana!

Omusajja ekika kino tasobola kubako kyakuyamba. Sigamba nti omukazi oliwo kuwebwa oba kulabirirwa, naye amaka gatandikibwa musajja, na bwegutyo alina okubaako kyakugattako. Omusajja atasobola kulabirira maka, lwaki agatandika?

  • Abasajja abeyisa nga abaana abato.

Abasajja abanyiiganyiiga buli kadde nabo si bangu bakubeera nabo. Kirowozeko ng’omusajja buli lwobaako ensonga gy’omubuuza, ogenda okulaba ng’akaaba. Abasajja bwebatyo ojja kumusanga nga ne waka talina nnyo mulamwa, nga ye aliwo kutibula butibuzi. Omusajja oyo atuuka nakutama, n’otandika okwesalira omusango nti ye nali mpapa ki? Kati bwoba okyalina omukisa ogumwekuba nga temugenda wala, bambi kikole. Oleme kuwoza “ntudde lw’abaana.

Abasajja abeyisa ng’abaana abato buli kadde, tebakula mu birowoozo. Buli kintu bakitwala batyo batyo awatali buvvunanyizibwa.

  • Abasajja abenzi ennyo ate nga bajoozi.

Tewali mukazi ayagala kulaba bba we nga ayendeguza ng’omuloge. Ntera okuwulira abantu nga bawolereza ebitalimu magezi mbu “teri musajja atayenda” Kinyiiza banange okulaba omuntu gwoyagala nga ye tayisa sikaati. Ng’ovudde ne kwekyo, omusajja omwenzi ateeka obulamu bwamwe mu katyabaga ak’okufuna ebirwadde ebitaliko ddagala. Bwovva ku kye ndwadde, omusajja omwenzi alumya omutima. Omusajja bwatyo talitambulako nawe kubanga abeera alina abakazi kumpi buli kabuga na buli luguddo. Akuletera okuwebuuka mu bantu anti buli woyita babeera bamumanyi endya ne nsula.

Abakazi abamu ate mulina ebbuba eritalina alina. Abamu mutuuka okukola ebikyaamu mbu lwa mukwano gwemulina omungi eri abaami ba mwe. Mulumba abakazi bemuteebereza okwagala ba bba mwe. Nzeno ngamba nti okwewala ebyo byonna, bwobera okyalina akakisa akewala omusajja omwenzi , bambi vva mu by’okuwoza nti simanyanga “mugagga alina ssente” ojja kutukira bwerere omutima bakuziike oba okusibibwa amayisa lwakuyiira mukazi muno asidi.

  • Omusajja ow’okusindikiriza mu buli kimu.

Owaaye, abakazi abamu banyumirwa amaka nga be bagakulembera. Naye ate kankubulire kino, amaka agakulemberwa omusajja ganyuma nnyo. Sigamba nti omukazi olina kufugibwa bufugibwa, naye buli omu nga akola ekyo ekimusubirwamu. Waliwo amaka mangi ng’omukazi akwata n’omugo okukuba omusajja kubanga teyakoze kyeyabadde alina okukola. Ehh, amaka ago sigalabamu ssanyu yadde. Kati bwomala okumukuba, otyo!!? _____

  • Omusajja atakuwa mwaganya kukola byoyagala.

Ku lunaku lw’embaga, buli omu alayira okubeera ne mune okutuusa okufa lwe kulibawukanya. Kino tekirina wekikwataganira na kulunda muno ng’ente. Buli omu yalina mikwano gye nga temunalabagana, emikwano egyo tegyavvawo. Kitegeza buli omu akyalina omukisa ogunyumya n’emikwano gye. Naye omusajja singa atandika okukulemerako nga buli kadde akulingiza, bibeera bya kukutama nga bukyali. Omusajja nga buli muntu gwoyogera naye ayagala amumanye, nebwofuluma okugenda okwetawuluzako ayagala akugoberere, ng’akeebera obubaka bwo ku ssimu, nga takukiriza kukola ayagala obeere wakulabira, oyo tabeera muntu mutuufu eri obulamu bwo. Omukwano mpewo bwekufuuwa ogamba tekye. Watya ng’omukwano ogwokubugumiriza guweddewo? olaba bwotandika ate simanyanga twawukane ontamye lwa bbuba!

  • Abasajja abasirika gyobeera tebategeera bulungi.

Waliwo abasajja abalinga ebitabo ebibikkeko. Tolimanya ki kyalowooza. Tolimanya ki kimusumbuwa. Tebalitandika mboozi. Nebwoligezaako okuyiiya nti osaage naye taliseka wadde okukuddamu. Tolimubuuza nti akuddemu. iyii, obeera oli na muntu kika ki? Jjukira nti omusajja oyo mulayidde kutuusa kufa! Omuntu gwolina okumala naye obulamu obusigadde, ateekeddwa okuba ng’asobola okubulira ku biki ebimusanyusa, ebimunyiiza, ebimusumbuwa, n’ebimweralikiriza; mu butuufu alina kuba mukwano gwo. Kati bwabeera kyesikidde buli ssaawa, tolema kulowoza bingi nti oba olyaawo si gwe gwateekeddwa okuba naye.

  • Omusajja omunywi.

Omwenge tegubangako mubi eri abagunywa, obuzibu bagunywedde batya? Waliwo omusajja anywa omwenge nawe newesikamu. Tetufuddeyo oba mugaga oba ali bwatyo, naye bwolaba ng’omusajja anywa omwenge ogususe ate nga akyali mu myaka emito, omusajja oyo ayinza okufuukira ekizibu mu dda. Fenna tumanyi ebizibu by’omwenge ogususe. Kati lwaki weteeka mu matiga?

Nze nkuwaddeko ebyo, naye manyi nti nawe olina ebirala byogamba nti bwaba ali kino, “sisobola kumumalirako budde bwange.”

Digiqole ad

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *