• July 3, 2025

Engeri 10 kwotegeerera nti omusajja akwagala.

 Engeri 10 kwotegeerera nti omusajja akwagala.

1. Ekitiibwa kikulu okusinga omukwano wakati w’abagalana.

Wali olabyeko abagalana nga balwana, omusajja nanyiiga nnyo okutuuka okuyita mukyaala we amannya agamutyoboola?__ Malaaya gwe! Ekisiru kino! Nyiinza n’okukituga leero!

Bwoba oyagala omusajja atasobola kufuga busungu bwe ng’asobola okuvvumira mu bantu; bwakuyita malaaya n’amannya amalala agakutyobola, manya nti omukwano gwe guliko akabuuza. Omukwano gwafuuka ddi obutabeeramu kuwa kitiibwa wadde onyiize nnyo?

Omukwano n’ekitiibwa biyita bibiri.

Ganyana Praxy.

Mu nkolagana entuufu wakati w’abagalana, ekitiibwa kikulu okusinga omukwano. Amazima gali nti bwewabaawo ekitiibwa, buli kimu kyevvuga kyokka. Olumu kinsesa bwempulira abagamba mbu abagalana betaaga mukwano gwokka okusobola okumalako olugendo lwaabwe, banange ekitiibwa kintu kikulu ekiteekeddwa okusooka okulowoozebwako. Tosobola kuwangaala na muntu gwotawa kitiibwa. Tewali kitiibwa, tewali mukwano.

Omusajja akwagala takoma kuwa gwe kitiibwa wekka, n’omukwano gwamwe aguwa ekitiibwa. Abeera akimanyi bulungi nti omukwano ky’ekintu ekyetaaga okukwata n’obwegendereza. Ekintu ekikwatibwa mu bwegendereza kibeera kya kitiibwa.

Kuumira kino mu bwongo: Omusajja bwaba akwagala, abakazi abalala tebabeera na makulu gyaali kuba aba mwesigwa gyooli. Ate tabeera na kitiibwa kikyo kyokka, naye akyeewa ate n’ebigambo bye abiwa ekitiibwa.

Ekituufu kiri nti, olumu tutomera butomezi bantu ne tugwa mu mukwano nabo, naye tusobola okusalawo ku ani gwetusobola okuwa ekitiibwa. Omukwano tegufugika mu mutima, naye okuwa omuntu ekitiibwa ky’ekintu kyetulinako obuyinza nga kitubeera mu ngalo buli kadde.

2. ‘Nange nkwagala’ tamala gakifulumya kamwa ke.

Tebereza okusanga omusajja mu Taxi ku makya ng’ogenda ku mulimu nakusaba enamba y’essimu, ku ssaawa musanvu nakukubira ng’akutegeeza nga bwaali mu mukwano nawe! Atya? Nga lwaki omusajja alimu ku mpeke amala gakozesa ekigambo (ndi mu mukwano nawe) ku muntu gwasisinkanye obusisinkanyi mu kubo? Mwana wa maama wegendereze omusajja akufubutikira ng’akutegeeza nga bwagudde mu mukwano nawe omulundi gwasoose okukulaba. Ebyaddala tali mu mukwano nawe, ayagala bwagazi kukulyako bibyo amale aniguuke buniguusi ng’embuzi eyasiza entamu. Omusajja bwaatyo, asobola okukola ekisoboka okulaba nti akulinyisa ekitanda.

Kuumira kino mu bwongo: Tobuzabuzibwa kufaayo kwa musajja ng’oguyita omukwano ogwa ddala. Akulimba talina mukwano gwo!

Omusajja akwagala tagenda kukugamba nti “nange nkwagala nnyo” olw’okuba gwe okimugambye, era ayinza obutakikugamba ng’alinda akaseera akatuufu. Tomukaka kikugamba kubanga era bwaliba akwagala, gwe alisooka okukimanya. Nkukakasa nti olunaku lwalikyogera, olibeera musanyufu kubanga aliba akigye ku mutima.

Ayinza n’okugamba nti “nange nkwagala nnyo” nga takozeseza bigambo byenyini; ebikolwa byeyogerera.

3. Aleka ebikolwa bye nebyeyogerera.

Ndabye abakazi bangi abazibiriza ku bikolwa by’abasajja, nebateeka amatu ku bigambo ebifuluma mu mimwa gyaabwe. Agamba nti akufaako naye ng’ebikolwa bye bigamba kirala nnyo. Akugamba nga bwajja okukubeererawo, naye bwofuna obuzibu tabeerawo. Akutegeeza nga bwolina okukiriza mu byakugamba, enkeera naye aba takyajjukira byeyakugamba.

Ng’abakazi, tuteekeddwa okufaayo ennyo ku bikolwa by’omusajja okusinga ebigambo bye.

Nze ngenda n’omusajja aleka ebikolwa bye nebimweyimirira mu bigambo. Omusajja bwaba akwagala, ayinza obutakikugamba naye nakikulaga mu bikolwa. Tasuubiza kyatasobola kutuukiriza. Bwakugamba nti ku ssaawa 8:00 p.m agenda kutuuka awo ewuwo, ku ssaawa 07:58 p.m ojja kumuwulira ng’akonkoona ku luggi lwo.

Okukuuma obudde nakyo kimu ku bikolwa ebiraga nti omusajja ono akwagala era akussaamu ekitiibwa.

4. Akutongoza nti oli wuwe.

Mwana wa maama, mwana wa taata, omusajja bwakugamba nti ‘katulabe wa gyetulaga,’ bambi dduka. Aganyabo temulina gyemulaga!

Katulabe wa gyetugenda = sagala kundabisa mu kaseera kano, nkyalina abalala bendaba.

Omusajja ajja kugamba nti akwagala nnyo era anyumirwa engeri gyemukutemu ebintu nga bya kyaama, naye jjukira nti singa akwagala, teyandikulese bbali nga takutongoza wadde okukwanjulira abamufaako. Omusajja oyo ayagala bwagazi ttu lyomuwa nga talina kirala kyakwetaaza. Tayagala kumulemesa minyago mirala gyanyaga.

Kuumira kino mu bwongo: Omusajja wadde akugamba nti akwagala nnyo, bwaba akukozesa emirimu egirina okukolebwa mukyaala we nga naye tayagala kukwanjula nga mukyaala we, fumuuka bufumuusi be fyu!

Ebyaddala omusajja bwaba akwagala, takuleka kubeera mu mbeera yakubuusabuusa nga nawe tomanyi wogwa. Bwaba akwagala, kijja kweraga bwerazi awatali kusumbukana na birowoozo ng’otebereza.

5. Omusajja akwagala abeera ayagala okuwuliza buli kadde (kukubira ssimu oba kuwereza bubaka).

Omusajja atayagala kumanya nga bwooli, enaku nezitambula wadde obubaka bwonna, oyo aba takwagala. Wano ndi ku bagalana abatabeera wamu. Ewiiki nekongoka wali nga takukubidde wadde okusindika ekigambo kimu mu bubaka, nga ddala akwagala!? Wewawo nkitegeera nti olumu omuntu yetaaga obudde obubwe nga ye, naye era wiiki eba nenne. Okuleka ng’alowooza ku ngeri gyemugenda kwawukanamu!

Kuumira kino mu bwongo: Bwemufuna obutakanya ng’abagalana nakwesirikirira okumala wiiki emu, baabo mu yokubiri, nga wadde oli otya enaku zino? Maama wange, oli mu kwesiba ku bantu.

Wadde tuli mu nsi edduka emisinde ng’ebyokukola bingi, naye era wakiri ka sula bulungi tekandimulemye. Kubanga gwe muntu gw’alowoozako nga tanebaka.

Bwemumala wiiki namba nga takunyega olw’okuba mwafunyemu obutakanya ng’ababiri, oyo mwesooke omusuule nga tanakusuula. Era oli wa ddembe okuddayo ku katale wetimbe mu banoonya. Hehe!

6. Ajja kukuuma nga Nabakyaala w’obwakabaka bwe.

Ninna mukwano gwange gwemanyi nga yatagala n’abasajja okumala ekiseera ekiwanvu, naye nga tafunangamu amuyisa nga mumbejja. Oba olyawo teyalina mukisa ogwo, naye yali akimanyi bulungi nti mu nsi abasajja ng’abo abagala abakazi mu ngeri ematiza mwebali.

Bweyafuna omusajja gwalina kati, bambi yamulaga amakulu g’ekigambo ‘kwagala.’ Yajjukira ebiseera byeyamala n’abayaaye ng’abesibako, nategeera nti yafiirwa bingi.

Waliwo obuntu obutono naye nga bukola amakulu ku luuyi lw’omulala. Okugeza, bwakugamba nti ajja kukubira ku ssaawa mwenda ez’olwegulo, ddala ajjukira oba akwerabirira ddala? Akuggulira oluggi lw’emotoka oba buli omu afaafagana n’olulwe? Atuula omaze kutuula oba buli omu yamanyi, naddala ku lunaku olusooka nga musisinkanye? Akuwa jaketi ye ng’enkuba ettonya, oba gwe amanya lwaki tewayise n’eyiyo? Akufaako ng’olina ekikutawanya? Awuliriza byoyogera singa obeerako kyoteesa, oba asigala ku ssimu ye mu kifo ky’okugiteeka wansi mwogere? Ebikolwa ng’ebyo bimala okukufuula Nabakyaala w’obulamu bwe, singa byonna bibeera ‘iyee.’

Kuumira kino mu bwongo: Nga sikwegulumiza, asobola n’okukuyambako ku mirimu gy’ewaka singa ab’akwagala.

Atakwagala talina nsonga emukozesa ebyo byonna wagulu.

7. Agaba awatali kusuubira.

Kale eeda waliwo ebiseera ng’abasajja bakola kyonna ekyetaagisa okusobola okuyimirirako n’omuwala ng’amwogereza bagalane. Ensaangi zino, abasajja bagala bya mangu. Ayita omuwala ku ky’emisana mu kifo wamanyidde ddala nti waliwo ebisulo…. Olumala okulya ab’ayagala kumulinyisa buliri na kumukolako ffujjo lyonna; ate talidde eky’emisana kye!

Omusajja akwagala, akutwala mu kifo kyonna nemulya oba okunywa nga takusuubira kumusasuza na kwambulamu ngoye. Wabula kyabeera afaako okusinga, kukuzza waka mirembe nga tofunye buzibu bwonna okuvva ku ye.

Mpozzi n’ekirala kyolina okukuumira mu bwongo: Faayo ku ngeri gyayisamu abantu abalala basisinkanye nga tabamanyi. Okugeza, abawala/ abalenzi abawereza mu birabo by’emere, abakuumi, oba abantu abamwetaagako obuyambi nga talina bwabayita. Muntu mulamu oba yeyisiza ddala bubi ku bantu nga bano?

Omusajja wadde gwe akuwa, naye mu balala ali atya? abatalina mugaso gyaali abayisa bulungi? Oba nawe akuyisa bulungi lwakuba alina byakusuubiramu?

8. Si kizibu kyo wekka. Kyaffe ffembi.

Tolimanya ani akwagala nga tonafuna buzibu. Mpulidde ebiboozi bingi ebyenyamiza omusajja ng’agamba nga bwayagala omuwala, naye ate namusuulawo ng’afunye obuzibu.

Mu kino sitegeeza nti omusajja yalina okusasula buli kyetaago kya mukazi. Era sitegeeza nti muwala gwe olye amabanja, olw’okuba David gyaali ajjakusasula! Naye njogera wano ng’ofunye ekizibu. Ddala akuzaamu amaanyi? Akubeererawo? Asobola okuvvuga emotoka ku ssaawa munaana ogw’ekiro ng’olwadde, singa mubeera n’emotoka? Asobola okukwatirirako singa obeera okyalemeddwa okufuna olubuto?

Omusajja akwagala, ebizibu byo bibeera bibye. Asobola okumanya singa tobeera musanyufu kubanga obeera kitundutundu ku bulamu bwe. Mu buli kimu anyumirwa mukolere wamu ng’omukulembeze w’ekibiina bwafuba okulaba nti ekibiina kye kibeera bulungi. Tasobola kutuula butuuzi wali ng’akulaba oyita mu muliro ogwookya, wakiri okuguyitamu ababiri. Mu kino abeera akusuubira nti singa lulikya nga yali mu muliro, togenda kuleka gumwokye yekka.

9. Afuba okulaba nti akufuula omuntu ow’omulembe, oba okukuyambako otuukirize ebirooto byo.

Bulijjo kinyuma okubeera n’abantu abakwagaliza. Abantu abagala ofuuke ekyo kyolubirira okubeera. Mukwano gwange omu yabeera mu mukwano n’omusajja, naye ng’omusajja amukwatirwa obugya buli lweyamulabanga n’ekintu ekirungi mu bulamu. Lumu omuwala bamulinyisa eddaala ku mulimu, nebamuwa n’emotoka, naye omusajja yamugamba nti ye tayagala kumulaba mu motoka eyo. Era omuwala bamaliriza omukwano guyiise olw’okuba omusajja yali tayagala muwala kumusinga mu bya nfuna.

Naye omuwala bweyafuna bba we gwalina kati, buli kyayongera kukyuuka ku luyi lw’omuwala. Omulimu akola mulungi ddala, omusajja yamwongeramu amaanyi agaddayo okusoma, kati bali bulungi ddala. Era omuwala olumu bwaba akunyumiza ensonga ze ne Denis, olabira ddala ng’omusajja yali tayagaliza muwala.

Kuumira kino mu bwongo: Obulamu bwo bufuuka bwa mulembe, singa obeera n’omusajja akwagaliza okukulakulana. Omusajja akukwatira obugya, oyo mwetegule.

10. Okumanya omusajja akwagala, kikuwa eddembe mu mutima.

Omukwano omutuufu guleeta ddembe eri abo abagulimu. Omusajja bwaba akwagala ebituufu, tojja kulwala ndwadde za kweralikirira kubanga tewali kigenda kukweralikiriza.

Omusajja ali mu mukwano nawe, tagenda kutawanya mirembe gyo. Ajja kufuba okulaba nti omukwano gwamwe guzimbibwa ku mazima na kuwangana kitiibwa. Ojja kumutegeera mu buli mbeera; ng’ayogera, asirise, nemubutabeerawo bwe.

Kuumira kino mu bwongo: Eddembe ly’omutima kikulu nnyo mu bagalana. Omusajja bwaba talikuwa, simanyi lwaki obeera okyamwesibako?

Wano wenkanyukidde, era kansubire nti onayambibwa mu kusalawo ani gw’ogenda naye.

Nkwagaliza omusajja omutuufu anakwagala nga bwooli.

Digiqole ad

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *