Gwe ki kyokola singa mukwano gwo akwesirikirira?
Ebiseera bitambula, ezaali enaku zifuuka esande, ezaali esande zifuuka emyezi, tutwo myaka! Nina okusigala nga nkola byenina okukola, naye sisobola kulekayo kwebuuza nti ki ekyabaawo? Omuntu nga nze ataalina mikwano mingi, mukwano gwange okusalawo okunesirikirira!
Damali muwala mulungi nga mwagala okusinga nekyenyiinza okunyonyola. Ebintu byesinyumizangako muntu mulala, nga yekka yabimanyi__ mukwano gwange.
Wadde nali muyita mukwano gwange asingayo, essaawa eno nkiraba nti ku luuyi lwe saali mukwano gwe okutuuka ku kyenali nsuubira.
Nzijjukira ebiseera weyatandikira okukyuuka, nga bwemukubira essimu oba okumusindikira obubaka, essimu tagikwata ate nga n’obubaka tabuddamu. Okuleka nti enaku bwezayitangawo, ng’anziramu n’obubaka obumbuuzako katono. Nga bwengezaako okumubuuza ensonga emusirisa, awo ng’aleeta emboozi endala.
Olumu yansindikiranga obubaka obulaga nti mukyamufu era nga musanyufu, ate olulala ng’abeera muzibu nnyo okutegeera embeera gyalimu. Ebyaddala tekwali kumwesibako, naye nali njagala kutegeera mbeera ze… Nti oba alina weyetaaga okuyambibwa muyambe. Anti era y’ensonga lwaki tubeera n’emikwano.
Twatambulira mu mbeera bwetyo okumala akaseera, ate oluvvanyuma yalekerayo ddala okwogera nange. Nagezaako okumubuuza obuzibu webuli nga taddamu. Namukubira amassimu, naye talina mulundi n’ogumu gweyankwata. Omutima gwannuma, saalina muntu mulala gwenali nyiinza kunyumiza mbeera yonna. Mu byeyankolanga, ng’ate era ye gwenjagala mbinyumize.
Nagezaako okumusindikira obuyimba bwonna bwenali nsuubira nti buyinza okumuleetera okulowooza ku nkolagana yaffe, naye byonna tebyakola. Nalumwa, n’akaaba, nebuuza ebibuuzo ebiwera nga naye tewali anziramu.
Olumu nalowooza okusalako enviiri zange musindikire ekifaananyi, naye byonna nalaba nga bya bwerere. Nakola okusalawo mu mutima nga kyenina okukola, kya kwesonyiwa Damali muleke abeere mirembe. Nakimanya nti sirina kyentegeeza gyaali, nga n'omukwano gwetwalina nze eyali agulaba nti weguli.
Kyenayiga mu mbeera yonna, omukwano tebagukaka! Guteekeddwa kuvva ku njuyi zombi.
Kati emyezi giyise nga tetwogera naye musubwa buli lunaku olukya. Olumu mpita mu bubaka bwetwateranga okwewereza nga tukyaali bulungi, ate ne mpulira nga musubwa ebitagambika.
Olumu ngira nemunyigira, ate olulala nempulira nga nze alina omusango lwaki namwesibako nnyo!?
Ekisinga okunyiiza kwekuba nti yali ansingako emyaka egiwera, lwaki teyayimirira ku magulu ge nti Rita sikwetaaga tolina kyonyongerako mu bulamu. “Oli mubi nnyo Damali, okusirika bwotyo awatali nsonga yonna nti yino ku meeza.
Newankubadde sikyamannyi bimukwatako, Damali alisigala mukwano gwange mu mutima. Furendi wange nga bwenakuyitanga.
Mwagaliza kisinga mu bulamu!
Eyo yabadde mboozi ya Rita ng’alaga obulumi bweyayitamu, na butya bwawulira eri eyali mukwano gwe nfa nfe, eyasalawo okumwesirikirira awatali nsonga ya simbaalala.
Ekibuuzo:
Gwe ki kyokola singa mukwano gwo bwemumaze ebbanga, asalawo okukwesirikira awatali kuwa nsonga nti y’eno, omuleka bulesi oba osigala ogezaako kyonna ekisoboka okumubeera ku lusegere?
2 Comments
Ekisookera ddala ; Ritah mukwano weebale kubeera namukwano gwanamaddala eri mukwanogwo Damalie
Naye nze ndowooza nti omukwano ogwanamaddala gusobola okulinda,
Oba oli awo Alina ensonga ezitali zimu mubulamu nasalawo asooke asirikemu
Yandiba nga naye akulowozaako nga nawe bwomulowooza
Oba oli awo muliddamu okusisinkana nemusanyuka nga bwewateranga okusanyuka. Kiweemu akadde
Era tomujjanga kumutima nemubirowoozo byo….
Munange ebintu bikyuuka buli ssaawa, oba oli awo Ritah alisisinkana omulala namwerabiza Damalie. Ekituufu kyandibadde nti toteekeddwa kwesirikirira oyo gwoyita mukwano gwo okutuuka ku kya Damalie. Ebibuuzo bibeera bingi mu mutwe gwa Ritah.