• November 21, 2024

Jayo empiki ozikube ku meeza wakiri bigaane.

 Jayo empiki ozikube ku meeza wakiri bigaane.

Ebintu by’omukwano nsonga za mutima, y’ensonga lwaki omutima bwegusalawo okwesiba ku muntu tegwagala kumanya biki byolina mu mutwe. Obwongo busobola okuba nga bukola bulungi naye omutima bwegusibira ku muntu, kizibuwalira nyinigwo okumala gagukyusa.

Abantu batera okugamba nti omukwano omutuufu gwego oguwulirwa ababiri, era mbu singa omu ku mwe aba talina kyawulira, ekyo kibeera kirala nga si mukwano. Mbu mu mukwano totekeddwa kwesiba ku muntu kubanga omukwano omutuufu temuba kulumwa.

Nze sisuubira nti omukwano gutekeddwa okumala gavvunulwa mu ngeri bwetyo, era sisuubira nti gulina langi entuufu omuntu mwasobola okugulabira. Kale katugeze singa gwali mu langi njeru oba nzirugavvu, wakati awo wandibaddewo ka langi ka kivvuvvu omukwano ogumu nga mwegwekwese. Ka langi kano era bangi twandibulidde mu ko.

Tetwabeerako ffembi naye nkulaba ng’ekintu eky’omuwendo ennyo mu bulamu bwange__ kubanga ekyo kyewali mu kaseera akamu. Emboozi, okusaaga, okukontana mu byetwali tulowooza, okuseka byonna nga njagala bibere byaluberera. Nakusubwa nnyo nebwewali tonangamba nti “weraba sikwagala”

Tetwabeerako ffembi naye nkyakugerageeranya ku buli gwendaba. Oba mutima gwe gwanimba, naye nkulabira ddala ng’omuntu gwesirizuula walala.

Tetwabeerako ffembi naye mu mutima gwange nga ninga eyali abaddeko naawe mu kisenge ekimu. Nga buli lwendaba erinnya lyo ku ssimu yange oba awantu wonna, omutima guddukira wuwo. Oba wangata myaka, oba ntegeera, kyonna kyekiri wagata nomala.

Tetwabeerako ffembi naye nkwogerako ng’omuntu gwemanyi endya n’ensula, omuntu asobola okuwanika emunyenye ku ggulu… Omanyi lwaki? Wakyusa endaba yange ey’ebintu n’entegeera yange erina eddaala kweri. Ekyamazima tetweyagala naye wali kintu kyenali nsinga okwagala mu kaseera akamu. Abantu abalala abaali banegomba mu kaseera wenakwagalira, bonna sasobola kubalaba kubanga gwe wekka gwenali maliddeko amaaso gange.

Oluvvanyuma lwokujayo empiki nenzikuba ku meeza buli kimu nekyogerebwako, waali tewakyali kya kukweka oba kwewunya_nga kiwedde. Esuubi lyaggwawo buli kimu nekisigala awo mu kasirise. Amazima si kyangu kwerabira muntu gwewayagala n’omutima gwo gwonna…. Naye otekeddwa wadde nga tomanyi bbanga lyekitwala.

Kisoboka okwerabira omuntu?

Mu kaseera ako buli kimu kyantama. Natandika okunoonya obubaka obwenjawulo ku mutimbagano nga noonya butya bwenyinza okwerabira omuntu oyo. Natonda emboozi nnyingi mu mutwe gwange, ezimu nga nziwandika ku mutimbagano endala mu bitabo byange eby’enjawulo__ nayiiya emboozi ez’enjawulo era mba kubeera n’omuntu afulumya obutabo mu kaseera ako, twali bakukola ssente.

Nazuula ekintu kimu mu mbeera yonna gyenayitamu, nti buli kwagala kulina sitole zakwo. Nawandiika naye sasobola kuwandiika mboozi ntuufu eyaddala etuukana n’embeera gyenalimu. Nalekawo akasenge akamu mu kintu kino kyonna nga tekakwatiddwako. Mu butuufu ne byenawandiika nagezako okwesigamya embeera yange ku bantu abalala bendaba..

Si gwe alonda gwoyagala nobeera mukakafu nti ono bija kukola, ate tosobola kumanya ddi wonakoma kwagala muntu oyo.

Mu mikwano egya ddala mubeeramu entandikwa n’enkomerero. Mubeeramu ebiseera omuntu watunulira emabega nalaba gyavvude. Mubeeramu obwagazi nga buli ku njuyi zombi eziri mu mukwano. Naye nga bwenakugambye nti omukwano nebwegwandibadde mu langi njeru oba nzirugavvu, waandibaddewo ka langi akalala akabuzabuza.

Bwoyagala omuntu nebigaana owunzika wenenyeza wekka nga wevvuma obusiru n’okwesalira omusango nti “lwaki nayagala nnyo?” Oluusi otunula emabega nojukira lwewayiwa empiki ku meeza noyanja ensonga zonna ezitavvamu kalungi, naye ogwo gwaali mukwano munange tebwali busiru. Singa tewabeera musiru kimala kuyiwa mpiki ku meeza, awo nandifunyemu okusabusa ku mukwano gwewalina eri omuntu oyo.

Okwagala libeera ssanyu nga n’obukyaayi bwebuleeta ennyiike.

Tetwabeerako ffembi naye sisobola kugerageranya bulumi bwenafuna ku muntu oyo. Natunulira obulamu bwange nga busobeddwa nga nange sikyetegeera. Sisobola kunyonyola bulumi bwenayitamu. Ekisinga okuluma nti yali mukambwe nnyo okuvvira ddala mu ntandikwa nga naye nze nyongera kumwagala.

Tolabanga kuyita mu bulumi obwenkanidde awo naye nga tolina gwosobola kubinyumiza, okuleka okuwandiikako ebitonotono ebingi n’obyesigaliza. Mu bantu nalina okutambula ng’atalina kintawanya. Nalina okusigala nga neyisa mu mbeera za bulijjo nga jobeera nti omutima teguli mu bibajjo. Esaawa 24 tezaali nyangu kumalako nga birowoozo byerere.

Ekisinga obuzibu singa omutima gwo gumenyebwa mukwano gwo kwekuba ng’oyagala kusigala ng’oli mugumu, ate oleme kufiirwa muntu oyo naye nga buli kimu kyakola oyongera kunafuwa. Ekitundu ekimu ku gwe kyagala okumugamba nti ‘netaagamu obudde nsobole okukwesonyiwa‘ naye ate bwogira nokirowoozako nga kiba kyakwewusa kubanga ayinza obutakitegeera.

Toyagala kumufiirwa nga mukwano gwo naye n’okumubeera okumpi nakyo kiruma. Kiruma okumulaba ng’ayagala omuntu omulala naye ng’olina okweyisa nga gwekitaluma. Kiruma okweyisa nga mukwano gwe atafaayo so nga ate munda ofaayo ebituuka ku mwezi.

Kubanga amazima gali mwekyo kyebakuyigiriza okuvva wansi ku bikwata ku mukwano. Mbu bwoyagala omuntu obeera otekeddwa okumwagaliza essanyu wadde nga si gwe ntandikwa ya ssanyu lye.

Okuyiwa empiki ku meeza nkirese nga kwogera kyolinawo oba kyowulira eri omuntu gwoyagala.

Digiqole ad

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *